1 Kings 19 (BOLCB)
1 Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala. 2 Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.” 3 Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. 4 Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, MUKAMA, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.” 5 N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.” 6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira. 7 Malayika wa MUKAMA n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.” 8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda. 9 Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya MUKAMA ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 10 N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza MUKAMA Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.” 11 MUKAMA n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga MUKAMA, kubanga MUKAMA ali kumpi kuyitawo.”Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye MUKAMA nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era MUKAMA nga taliimu. 12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era MUKAMA teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 Eriya bwe yaliwulira, n’abikka amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.Awo MUKAMA n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?” 14 N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza MUKAMA Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.” 15 MUKAMA n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 16 ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 17 Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku. 18 Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.” 19 Awo Eriya n’ava eyo n’asisinkana Erisa mutabani wa Safati ng’alima n’emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alimisa ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe. 20 Erisa n’aleka ente ze, n’adduka ng’agoberera Eriya. N’amugamba nti, “Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe.”Eriya n’amugamba nti, “Ddayo, nkukoze ki?” 21 Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.
In Other Versions
1 Kings 19 in the ANGEFD
1 Kings 19 in the ANTPNG2D
1 Kings 19 in the AS21
1 Kings 19 in the BAGH
1 Kings 19 in the BBPNG
1 Kings 19 in the BBT1E
1 Kings 19 in the BDS
1 Kings 19 in the BEV
1 Kings 19 in the BHAD
1 Kings 19 in the BIB
1 Kings 19 in the BLPT
1 Kings 19 in the BNT
1 Kings 19 in the BNTABOOT
1 Kings 19 in the BNTLV
1 Kings 19 in the BOATCB
1 Kings 19 in the BOATCB2
1 Kings 19 in the BOBCV
1 Kings 19 in the BOCNT
1 Kings 19 in the BOECS
1 Kings 19 in the BOGWICC
1 Kings 19 in the BOHCB
1 Kings 19 in the BOHCV
1 Kings 19 in the BOHLNT
1 Kings 19 in the BOHNTLTAL
1 Kings 19 in the BOICB
1 Kings 19 in the BOILNTAP
1 Kings 19 in the BOITCV
1 Kings 19 in the BOKCV
1 Kings 19 in the BOKCV2
1 Kings 19 in the BOKHWOG
1 Kings 19 in the BOKSSV
1 Kings 19 in the BOLCB2
1 Kings 19 in the BOMCV
1 Kings 19 in the BONAV
1 Kings 19 in the BONCB
1 Kings 19 in the BONLT
1 Kings 19 in the BONUT2
1 Kings 19 in the BOPLNT
1 Kings 19 in the BOSCB
1 Kings 19 in the BOSNC
1 Kings 19 in the BOTLNT
1 Kings 19 in the BOVCB
1 Kings 19 in the BOYCB
1 Kings 19 in the BPBB
1 Kings 19 in the BPH
1 Kings 19 in the BSB
1 Kings 19 in the CCB
1 Kings 19 in the CUV
1 Kings 19 in the CUVS
1 Kings 19 in the DBT
1 Kings 19 in the DGDNT
1 Kings 19 in the DHNT
1 Kings 19 in the DNT
1 Kings 19 in the ELBE
1 Kings 19 in the EMTV
1 Kings 19 in the ESV
1 Kings 19 in the FBV
1 Kings 19 in the FEB
1 Kings 19 in the GGMNT
1 Kings 19 in the GNT
1 Kings 19 in the HARY
1 Kings 19 in the HNT
1 Kings 19 in the IRVA
1 Kings 19 in the IRVB
1 Kings 19 in the IRVG
1 Kings 19 in the IRVH
1 Kings 19 in the IRVK
1 Kings 19 in the IRVM
1 Kings 19 in the IRVM2
1 Kings 19 in the IRVO
1 Kings 19 in the IRVP
1 Kings 19 in the IRVT
1 Kings 19 in the IRVT2
1 Kings 19 in the IRVU
1 Kings 19 in the ISVN
1 Kings 19 in the JSNT
1 Kings 19 in the KAPI
1 Kings 19 in the KBT1ETNIK
1 Kings 19 in the KBV
1 Kings 19 in the KJV
1 Kings 19 in the KNFD
1 Kings 19 in the LBA
1 Kings 19 in the LBLA
1 Kings 19 in the LNT
1 Kings 19 in the LSV
1 Kings 19 in the MAAL
1 Kings 19 in the MBV
1 Kings 19 in the MBV2
1 Kings 19 in the MHNT
1 Kings 19 in the MKNFD
1 Kings 19 in the MNG
1 Kings 19 in the MNT
1 Kings 19 in the MNT2
1 Kings 19 in the MRS1T
1 Kings 19 in the NAA
1 Kings 19 in the NASB
1 Kings 19 in the NBLA
1 Kings 19 in the NBS
1 Kings 19 in the NBVTP
1 Kings 19 in the NET2
1 Kings 19 in the NIV11
1 Kings 19 in the NNT
1 Kings 19 in the NNT2
1 Kings 19 in the NNT3
1 Kings 19 in the PDDPT
1 Kings 19 in the PFNT
1 Kings 19 in the RMNT
1 Kings 19 in the SBIAS
1 Kings 19 in the SBIBS
1 Kings 19 in the SBIBS2
1 Kings 19 in the SBICS
1 Kings 19 in the SBIDS
1 Kings 19 in the SBIGS
1 Kings 19 in the SBIHS
1 Kings 19 in the SBIIS
1 Kings 19 in the SBIIS2
1 Kings 19 in the SBIIS3
1 Kings 19 in the SBIKS
1 Kings 19 in the SBIKS2
1 Kings 19 in the SBIMS
1 Kings 19 in the SBIOS
1 Kings 19 in the SBIPS
1 Kings 19 in the SBISS
1 Kings 19 in the SBITS
1 Kings 19 in the SBITS2
1 Kings 19 in the SBITS3
1 Kings 19 in the SBITS4
1 Kings 19 in the SBIUS
1 Kings 19 in the SBIVS
1 Kings 19 in the SBT
1 Kings 19 in the SBT1E
1 Kings 19 in the SCHL
1 Kings 19 in the SNT
1 Kings 19 in the SUSU
1 Kings 19 in the SUSU2
1 Kings 19 in the SYNO
1 Kings 19 in the TBIAOTANT
1 Kings 19 in the TBT1E
1 Kings 19 in the TBT1E2
1 Kings 19 in the TFTIP
1 Kings 19 in the TFTU
1 Kings 19 in the TGNTATF3T
1 Kings 19 in the THAI
1 Kings 19 in the TNFD
1 Kings 19 in the TNT
1 Kings 19 in the TNTIK
1 Kings 19 in the TNTIL
1 Kings 19 in the TNTIN
1 Kings 19 in the TNTIP
1 Kings 19 in the TNTIZ
1 Kings 19 in the TOMA
1 Kings 19 in the TTENT
1 Kings 19 in the UBG
1 Kings 19 in the UGV
1 Kings 19 in the UGV2
1 Kings 19 in the UGV3
1 Kings 19 in the VBL
1 Kings 19 in the VDCC
1 Kings 19 in the YALU
1 Kings 19 in the YAPE
1 Kings 19 in the YBVTP
1 Kings 19 in the ZBP