1 Kings 21 (BOLCB)

1 Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya. 2 Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.” 3 Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.” 4 Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya. 5 Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?” 6 N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ” 7 Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.” 8 Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi. 9 Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti,“Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera, 10 era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.” 11 Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira. 12 Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu. 13 Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta. 14 Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.” 15 Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.” 16 Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu. 17 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 18 “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala. 19 Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ” 20 Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga MUKAMA. 21 MUKAMA agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. 22 Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’ 23 “Ate era n’eri Yezeberi MUKAMA bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri. 24 Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ” 25 Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga MUKAMA ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi. 26 Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga. 27 Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese. 28 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 29 “Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”

In Other Versions

1 Kings 21 in the ANGEFD

1 Kings 21 in the ANTPNG2D

1 Kings 21 in the AS21

1 Kings 21 in the BAGH

1 Kings 21 in the BBPNG

1 Kings 21 in the BBT1E

1 Kings 21 in the BDS

1 Kings 21 in the BEV

1 Kings 21 in the BHAD

1 Kings 21 in the BIB

1 Kings 21 in the BLPT

1 Kings 21 in the BNT

1 Kings 21 in the BNTABOOT

1 Kings 21 in the BNTLV

1 Kings 21 in the BOATCB

1 Kings 21 in the BOATCB2

1 Kings 21 in the BOBCV

1 Kings 21 in the BOCNT

1 Kings 21 in the BOECS

1 Kings 21 in the BOGWICC

1 Kings 21 in the BOHCB

1 Kings 21 in the BOHCV

1 Kings 21 in the BOHLNT

1 Kings 21 in the BOHNTLTAL

1 Kings 21 in the BOICB

1 Kings 21 in the BOILNTAP

1 Kings 21 in the BOITCV

1 Kings 21 in the BOKCV

1 Kings 21 in the BOKCV2

1 Kings 21 in the BOKHWOG

1 Kings 21 in the BOKSSV

1 Kings 21 in the BOLCB2

1 Kings 21 in the BOMCV

1 Kings 21 in the BONAV

1 Kings 21 in the BONCB

1 Kings 21 in the BONLT

1 Kings 21 in the BONUT2

1 Kings 21 in the BOPLNT

1 Kings 21 in the BOSCB

1 Kings 21 in the BOSNC

1 Kings 21 in the BOTLNT

1 Kings 21 in the BOVCB

1 Kings 21 in the BOYCB

1 Kings 21 in the BPBB

1 Kings 21 in the BPH

1 Kings 21 in the BSB

1 Kings 21 in the CCB

1 Kings 21 in the CUV

1 Kings 21 in the CUVS

1 Kings 21 in the DBT

1 Kings 21 in the DGDNT

1 Kings 21 in the DHNT

1 Kings 21 in the DNT

1 Kings 21 in the ELBE

1 Kings 21 in the EMTV

1 Kings 21 in the ESV

1 Kings 21 in the FBV

1 Kings 21 in the FEB

1 Kings 21 in the GGMNT

1 Kings 21 in the GNT

1 Kings 21 in the HARY

1 Kings 21 in the HNT

1 Kings 21 in the IRVA

1 Kings 21 in the IRVB

1 Kings 21 in the IRVG

1 Kings 21 in the IRVH

1 Kings 21 in the IRVK

1 Kings 21 in the IRVM

1 Kings 21 in the IRVM2

1 Kings 21 in the IRVO

1 Kings 21 in the IRVP

1 Kings 21 in the IRVT

1 Kings 21 in the IRVT2

1 Kings 21 in the IRVU

1 Kings 21 in the ISVN

1 Kings 21 in the JSNT

1 Kings 21 in the KAPI

1 Kings 21 in the KBT1ETNIK

1 Kings 21 in the KBV

1 Kings 21 in the KJV

1 Kings 21 in the KNFD

1 Kings 21 in the LBA

1 Kings 21 in the LBLA

1 Kings 21 in the LNT

1 Kings 21 in the LSV

1 Kings 21 in the MAAL

1 Kings 21 in the MBV

1 Kings 21 in the MBV2

1 Kings 21 in the MHNT

1 Kings 21 in the MKNFD

1 Kings 21 in the MNG

1 Kings 21 in the MNT

1 Kings 21 in the MNT2

1 Kings 21 in the MRS1T

1 Kings 21 in the NAA

1 Kings 21 in the NASB

1 Kings 21 in the NBLA

1 Kings 21 in the NBS

1 Kings 21 in the NBVTP

1 Kings 21 in the NET2

1 Kings 21 in the NIV11

1 Kings 21 in the NNT

1 Kings 21 in the NNT2

1 Kings 21 in the NNT3

1 Kings 21 in the PDDPT

1 Kings 21 in the PFNT

1 Kings 21 in the RMNT

1 Kings 21 in the SBIAS

1 Kings 21 in the SBIBS

1 Kings 21 in the SBIBS2

1 Kings 21 in the SBICS

1 Kings 21 in the SBIDS

1 Kings 21 in the SBIGS

1 Kings 21 in the SBIHS

1 Kings 21 in the SBIIS

1 Kings 21 in the SBIIS2

1 Kings 21 in the SBIIS3

1 Kings 21 in the SBIKS

1 Kings 21 in the SBIKS2

1 Kings 21 in the SBIMS

1 Kings 21 in the SBIOS

1 Kings 21 in the SBIPS

1 Kings 21 in the SBISS

1 Kings 21 in the SBITS

1 Kings 21 in the SBITS2

1 Kings 21 in the SBITS3

1 Kings 21 in the SBITS4

1 Kings 21 in the SBIUS

1 Kings 21 in the SBIVS

1 Kings 21 in the SBT

1 Kings 21 in the SBT1E

1 Kings 21 in the SCHL

1 Kings 21 in the SNT

1 Kings 21 in the SUSU

1 Kings 21 in the SUSU2

1 Kings 21 in the SYNO

1 Kings 21 in the TBIAOTANT

1 Kings 21 in the TBT1E

1 Kings 21 in the TBT1E2

1 Kings 21 in the TFTIP

1 Kings 21 in the TFTU

1 Kings 21 in the TGNTATF3T

1 Kings 21 in the THAI

1 Kings 21 in the TNFD

1 Kings 21 in the TNT

1 Kings 21 in the TNTIK

1 Kings 21 in the TNTIL

1 Kings 21 in the TNTIN

1 Kings 21 in the TNTIP

1 Kings 21 in the TNTIZ

1 Kings 21 in the TOMA

1 Kings 21 in the TTENT

1 Kings 21 in the UBG

1 Kings 21 in the UGV

1 Kings 21 in the UGV2

1 Kings 21 in the UGV3

1 Kings 21 in the VBL

1 Kings 21 in the VDCC

1 Kings 21 in the YALU

1 Kings 21 in the YAPE

1 Kings 21 in the YBVTP

1 Kings 21 in the ZBP