1 Kings 22 (BOLCB)

1 Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu. 2 Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n’aserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri. 3 Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?” 4 Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?”Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.” 5 Naye Yekosafaati n’ayongerako nti, “Sooka weebuuze ku MUKAMA.” 6 Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ng’ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.” 7 Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa MUKAMA gwe tuyinza kwebuuzaako?” 8 Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri MUKAMA erinnya lye ye Mikaaya mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.” 9 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.” 10 Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali; 11 Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ” 12 Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga MUKAMA ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.” 13 Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.” 14 Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga MUKAMA bw’ali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka MUKAMA ky’anaŋŋamba.” 15 Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga MUKAMA anakigabula mu mukono gwa kabaka.” 16 Kabaka n’amubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya MUKAMA?” 17 Nnabbi n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ng’esaasaanye ku nsozi, ng’endiga ezitalina musumba.” MUKAMA n’ayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.” 18 Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi ky’andagulako wabula ekibi?” 19 Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya MUKAMA nti: Nalaba MUKAMA ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono. 20 MUKAMA n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala. 21 Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga MUKAMA ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’ 22 “MUKAMA n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ MUKAMA n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’ 23 “Kale nno, MUKAMA atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era MUKAMA amaliridde okukusaanyaawo.” 24 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa MUKAMA yampiseeko atya okwogera nawe?” 25 Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.” 26 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka, 27 era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’ ” 28 Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, MUKAMA nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.” 29 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 30 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo. 31 Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.” 32 Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu, 33 abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba. 34 Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.” 35 Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa. 36 Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!” 37 Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo. 38 Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyayogerwa. 39 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira. 41 Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri. 42 Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki. 43 N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane. 44 Yekosafaati n’atabagana ne kabaka wa Isirayiri. 45 Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 46 N’aggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lw’omulembe gwa kitaawe Asa. 47 Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka n’afuga. 48 Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba. 49 Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala. 50 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira. 51 Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri. 52 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga. 53 Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza MUKAMA Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.

In Other Versions

1 Kings 22 in the ANGEFD

1 Kings 22 in the ANTPNG2D

1 Kings 22 in the AS21

1 Kings 22 in the BAGH

1 Kings 22 in the BBPNG

1 Kings 22 in the BBT1E

1 Kings 22 in the BDS

1 Kings 22 in the BEV

1 Kings 22 in the BHAD

1 Kings 22 in the BIB

1 Kings 22 in the BLPT

1 Kings 22 in the BNT

1 Kings 22 in the BNTABOOT

1 Kings 22 in the BNTLV

1 Kings 22 in the BOATCB

1 Kings 22 in the BOATCB2

1 Kings 22 in the BOBCV

1 Kings 22 in the BOCNT

1 Kings 22 in the BOECS

1 Kings 22 in the BOGWICC

1 Kings 22 in the BOHCB

1 Kings 22 in the BOHCV

1 Kings 22 in the BOHLNT

1 Kings 22 in the BOHNTLTAL

1 Kings 22 in the BOICB

1 Kings 22 in the BOILNTAP

1 Kings 22 in the BOITCV

1 Kings 22 in the BOKCV

1 Kings 22 in the BOKCV2

1 Kings 22 in the BOKHWOG

1 Kings 22 in the BOKSSV

1 Kings 22 in the BOLCB2

1 Kings 22 in the BOMCV

1 Kings 22 in the BONAV

1 Kings 22 in the BONCB

1 Kings 22 in the BONLT

1 Kings 22 in the BONUT2

1 Kings 22 in the BOPLNT

1 Kings 22 in the BOSCB

1 Kings 22 in the BOSNC

1 Kings 22 in the BOTLNT

1 Kings 22 in the BOVCB

1 Kings 22 in the BOYCB

1 Kings 22 in the BPBB

1 Kings 22 in the BPH

1 Kings 22 in the BSB

1 Kings 22 in the CCB

1 Kings 22 in the CUV

1 Kings 22 in the CUVS

1 Kings 22 in the DBT

1 Kings 22 in the DGDNT

1 Kings 22 in the DHNT

1 Kings 22 in the DNT

1 Kings 22 in the ELBE

1 Kings 22 in the EMTV

1 Kings 22 in the ESV

1 Kings 22 in the FBV

1 Kings 22 in the FEB

1 Kings 22 in the GGMNT

1 Kings 22 in the GNT

1 Kings 22 in the HARY

1 Kings 22 in the HNT

1 Kings 22 in the IRVA

1 Kings 22 in the IRVB

1 Kings 22 in the IRVG

1 Kings 22 in the IRVH

1 Kings 22 in the IRVK

1 Kings 22 in the IRVM

1 Kings 22 in the IRVM2

1 Kings 22 in the IRVO

1 Kings 22 in the IRVP

1 Kings 22 in the IRVT

1 Kings 22 in the IRVT2

1 Kings 22 in the IRVU

1 Kings 22 in the ISVN

1 Kings 22 in the JSNT

1 Kings 22 in the KAPI

1 Kings 22 in the KBT1ETNIK

1 Kings 22 in the KBV

1 Kings 22 in the KJV

1 Kings 22 in the KNFD

1 Kings 22 in the LBA

1 Kings 22 in the LBLA

1 Kings 22 in the LNT

1 Kings 22 in the LSV

1 Kings 22 in the MAAL

1 Kings 22 in the MBV

1 Kings 22 in the MBV2

1 Kings 22 in the MHNT

1 Kings 22 in the MKNFD

1 Kings 22 in the MNG

1 Kings 22 in the MNT

1 Kings 22 in the MNT2

1 Kings 22 in the MRS1T

1 Kings 22 in the NAA

1 Kings 22 in the NASB

1 Kings 22 in the NBLA

1 Kings 22 in the NBS

1 Kings 22 in the NBVTP

1 Kings 22 in the NET2

1 Kings 22 in the NIV11

1 Kings 22 in the NNT

1 Kings 22 in the NNT2

1 Kings 22 in the NNT3

1 Kings 22 in the PDDPT

1 Kings 22 in the PFNT

1 Kings 22 in the RMNT

1 Kings 22 in the SBIAS

1 Kings 22 in the SBIBS

1 Kings 22 in the SBIBS2

1 Kings 22 in the SBICS

1 Kings 22 in the SBIDS

1 Kings 22 in the SBIGS

1 Kings 22 in the SBIHS

1 Kings 22 in the SBIIS

1 Kings 22 in the SBIIS2

1 Kings 22 in the SBIIS3

1 Kings 22 in the SBIKS

1 Kings 22 in the SBIKS2

1 Kings 22 in the SBIMS

1 Kings 22 in the SBIOS

1 Kings 22 in the SBIPS

1 Kings 22 in the SBISS

1 Kings 22 in the SBITS

1 Kings 22 in the SBITS2

1 Kings 22 in the SBITS3

1 Kings 22 in the SBITS4

1 Kings 22 in the SBIUS

1 Kings 22 in the SBIVS

1 Kings 22 in the SBT

1 Kings 22 in the SBT1E

1 Kings 22 in the SCHL

1 Kings 22 in the SNT

1 Kings 22 in the SUSU

1 Kings 22 in the SUSU2

1 Kings 22 in the SYNO

1 Kings 22 in the TBIAOTANT

1 Kings 22 in the TBT1E

1 Kings 22 in the TBT1E2

1 Kings 22 in the TFTIP

1 Kings 22 in the TFTU

1 Kings 22 in the TGNTATF3T

1 Kings 22 in the THAI

1 Kings 22 in the TNFD

1 Kings 22 in the TNT

1 Kings 22 in the TNTIK

1 Kings 22 in the TNTIL

1 Kings 22 in the TNTIN

1 Kings 22 in the TNTIP

1 Kings 22 in the TNTIZ

1 Kings 22 in the TOMA

1 Kings 22 in the TTENT

1 Kings 22 in the UBG

1 Kings 22 in the UGV

1 Kings 22 in the UGV2

1 Kings 22 in the UGV3

1 Kings 22 in the VBL

1 Kings 22 in the VDCC

1 Kings 22 in the YALU

1 Kings 22 in the YAPE

1 Kings 22 in the YBVTP

1 Kings 22 in the ZBP