1 Samuel 11 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka Nakkasi Omwamoni n’ayambuka n’azingiza Yabesugireyaadi. Abasajja bonna ab’e Yabesi ne bamugamba nti, “Kola naffe endagaano, tunaakuweerezanga.” 2 Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.” 3 Abakulu ba Yabesi ne bamugamba nti, “Tuweeyo ebbanga lya nnaku musanvu, tusindike ababaka mu nsi yonna eya Isirayiri. Bwe wataabeewo n’omu anajja okutubeera, kale tuneewaayo gy’oli.” 4 Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe. 5 Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese. 6 Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. 7 N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya MUKAMA n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu. 8 Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu. 9 Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe. 10 Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.” 11 Enkeera Sawulo yakeera mu matulutulu n’ayawulamu abasajja be ebibinja bisatu; ne balumba olusiisira lw’Abamoni ne babatta okutuusa mu ssaawa ez’omu ttuntu. Abaaluwona ne basaasaana, ne wataba n’omu asigala na munne. 12 Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.” 13 Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero MUKAMA alokodde Isirayiri.” 14 Awo Samwiri n’agamba abantu nti, “Mujje, tugende e Girugaali tukakase obwakabaka.” 15 Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga MUKAMA ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga MUKAMA, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.
In Other Versions
1 Samuel 11 in the ANGEFD
1 Samuel 11 in the ANTPNG2D
1 Samuel 11 in the AS21
1 Samuel 11 in the BAGH
1 Samuel 11 in the BBPNG
1 Samuel 11 in the BBT1E
1 Samuel 11 in the BDS
1 Samuel 11 in the BEV
1 Samuel 11 in the BHAD
1 Samuel 11 in the BIB
1 Samuel 11 in the BLPT
1 Samuel 11 in the BNT
1 Samuel 11 in the BNTABOOT
1 Samuel 11 in the BNTLV
1 Samuel 11 in the BOATCB
1 Samuel 11 in the BOATCB2
1 Samuel 11 in the BOBCV
1 Samuel 11 in the BOCNT
1 Samuel 11 in the BOECS
1 Samuel 11 in the BOGWICC
1 Samuel 11 in the BOHCB
1 Samuel 11 in the BOHCV
1 Samuel 11 in the BOHLNT
1 Samuel 11 in the BOHNTLTAL
1 Samuel 11 in the BOICB
1 Samuel 11 in the BOILNTAP
1 Samuel 11 in the BOITCV
1 Samuel 11 in the BOKCV
1 Samuel 11 in the BOKCV2
1 Samuel 11 in the BOKHWOG
1 Samuel 11 in the BOKSSV
1 Samuel 11 in the BOLCB2
1 Samuel 11 in the BOMCV
1 Samuel 11 in the BONAV
1 Samuel 11 in the BONCB
1 Samuel 11 in the BONLT
1 Samuel 11 in the BONUT2
1 Samuel 11 in the BOPLNT
1 Samuel 11 in the BOSCB
1 Samuel 11 in the BOSNC
1 Samuel 11 in the BOTLNT
1 Samuel 11 in the BOVCB
1 Samuel 11 in the BOYCB
1 Samuel 11 in the BPBB
1 Samuel 11 in the BPH
1 Samuel 11 in the BSB
1 Samuel 11 in the CCB
1 Samuel 11 in the CUV
1 Samuel 11 in the CUVS
1 Samuel 11 in the DBT
1 Samuel 11 in the DGDNT
1 Samuel 11 in the DHNT
1 Samuel 11 in the DNT
1 Samuel 11 in the ELBE
1 Samuel 11 in the EMTV
1 Samuel 11 in the ESV
1 Samuel 11 in the FBV
1 Samuel 11 in the FEB
1 Samuel 11 in the GGMNT
1 Samuel 11 in the GNT
1 Samuel 11 in the HARY
1 Samuel 11 in the HNT
1 Samuel 11 in the IRVA
1 Samuel 11 in the IRVB
1 Samuel 11 in the IRVG
1 Samuel 11 in the IRVH
1 Samuel 11 in the IRVK
1 Samuel 11 in the IRVM
1 Samuel 11 in the IRVM2
1 Samuel 11 in the IRVO
1 Samuel 11 in the IRVP
1 Samuel 11 in the IRVT
1 Samuel 11 in the IRVT2
1 Samuel 11 in the IRVU
1 Samuel 11 in the ISVN
1 Samuel 11 in the JSNT
1 Samuel 11 in the KAPI
1 Samuel 11 in the KBT1ETNIK
1 Samuel 11 in the KBV
1 Samuel 11 in the KJV
1 Samuel 11 in the KNFD
1 Samuel 11 in the LBA
1 Samuel 11 in the LBLA
1 Samuel 11 in the LNT
1 Samuel 11 in the LSV
1 Samuel 11 in the MAAL
1 Samuel 11 in the MBV
1 Samuel 11 in the MBV2
1 Samuel 11 in the MHNT
1 Samuel 11 in the MKNFD
1 Samuel 11 in the MNG
1 Samuel 11 in the MNT
1 Samuel 11 in the MNT2
1 Samuel 11 in the MRS1T
1 Samuel 11 in the NAA
1 Samuel 11 in the NASB
1 Samuel 11 in the NBLA
1 Samuel 11 in the NBS
1 Samuel 11 in the NBVTP
1 Samuel 11 in the NET2
1 Samuel 11 in the NIV11
1 Samuel 11 in the NNT
1 Samuel 11 in the NNT2
1 Samuel 11 in the NNT3
1 Samuel 11 in the PDDPT
1 Samuel 11 in the PFNT
1 Samuel 11 in the RMNT
1 Samuel 11 in the SBIAS
1 Samuel 11 in the SBIBS
1 Samuel 11 in the SBIBS2
1 Samuel 11 in the SBICS
1 Samuel 11 in the SBIDS
1 Samuel 11 in the SBIGS
1 Samuel 11 in the SBIHS
1 Samuel 11 in the SBIIS
1 Samuel 11 in the SBIIS2
1 Samuel 11 in the SBIIS3
1 Samuel 11 in the SBIKS
1 Samuel 11 in the SBIKS2
1 Samuel 11 in the SBIMS
1 Samuel 11 in the SBIOS
1 Samuel 11 in the SBIPS
1 Samuel 11 in the SBISS
1 Samuel 11 in the SBITS
1 Samuel 11 in the SBITS2
1 Samuel 11 in the SBITS3
1 Samuel 11 in the SBITS4
1 Samuel 11 in the SBIUS
1 Samuel 11 in the SBIVS
1 Samuel 11 in the SBT
1 Samuel 11 in the SBT1E
1 Samuel 11 in the SCHL
1 Samuel 11 in the SNT
1 Samuel 11 in the SUSU
1 Samuel 11 in the SUSU2
1 Samuel 11 in the SYNO
1 Samuel 11 in the TBIAOTANT
1 Samuel 11 in the TBT1E
1 Samuel 11 in the TBT1E2
1 Samuel 11 in the TFTIP
1 Samuel 11 in the TFTU
1 Samuel 11 in the TGNTATF3T
1 Samuel 11 in the THAI
1 Samuel 11 in the TNFD
1 Samuel 11 in the TNT
1 Samuel 11 in the TNTIK
1 Samuel 11 in the TNTIL
1 Samuel 11 in the TNTIN
1 Samuel 11 in the TNTIP
1 Samuel 11 in the TNTIZ
1 Samuel 11 in the TOMA
1 Samuel 11 in the TTENT
1 Samuel 11 in the UBG
1 Samuel 11 in the UGV
1 Samuel 11 in the UGV2
1 Samuel 11 in the UGV3
1 Samuel 11 in the VBL
1 Samuel 11 in the VDCC
1 Samuel 11 in the YALU
1 Samuel 11 in the YAPE
1 Samuel 11 in the YBVTP
1 Samuel 11 in the ZBP