1 Samuel 22 (BOLCB)
1 Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. 2 N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye. 3 Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” 4 N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo. 5 Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi. 6 Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. 7 Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? 8 Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.” 9 Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 10 Akimereki yamubuuliza eri MUKAMA, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.” 11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.” 13 Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?” 14 Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.” 16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.” 17 Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba MUKAMA, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba MUKAMA. 18 Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona. 20 Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. 21 Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba MUKAMA. 22 Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. 23 Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”
In Other Versions
1 Samuel 22 in the ANGEFD
1 Samuel 22 in the ANTPNG2D
1 Samuel 22 in the AS21
1 Samuel 22 in the BAGH
1 Samuel 22 in the BBPNG
1 Samuel 22 in the BBT1E
1 Samuel 22 in the BDS
1 Samuel 22 in the BEV
1 Samuel 22 in the BHAD
1 Samuel 22 in the BIB
1 Samuel 22 in the BLPT
1 Samuel 22 in the BNT
1 Samuel 22 in the BNTABOOT
1 Samuel 22 in the BNTLV
1 Samuel 22 in the BOATCB
1 Samuel 22 in the BOATCB2
1 Samuel 22 in the BOBCV
1 Samuel 22 in the BOCNT
1 Samuel 22 in the BOECS
1 Samuel 22 in the BOGWICC
1 Samuel 22 in the BOHCB
1 Samuel 22 in the BOHCV
1 Samuel 22 in the BOHLNT
1 Samuel 22 in the BOHNTLTAL
1 Samuel 22 in the BOICB
1 Samuel 22 in the BOILNTAP
1 Samuel 22 in the BOITCV
1 Samuel 22 in the BOKCV
1 Samuel 22 in the BOKCV2
1 Samuel 22 in the BOKHWOG
1 Samuel 22 in the BOKSSV
1 Samuel 22 in the BOLCB2
1 Samuel 22 in the BOMCV
1 Samuel 22 in the BONAV
1 Samuel 22 in the BONCB
1 Samuel 22 in the BONLT
1 Samuel 22 in the BONUT2
1 Samuel 22 in the BOPLNT
1 Samuel 22 in the BOSCB
1 Samuel 22 in the BOSNC
1 Samuel 22 in the BOTLNT
1 Samuel 22 in the BOVCB
1 Samuel 22 in the BOYCB
1 Samuel 22 in the BPBB
1 Samuel 22 in the BPH
1 Samuel 22 in the BSB
1 Samuel 22 in the CCB
1 Samuel 22 in the CUV
1 Samuel 22 in the CUVS
1 Samuel 22 in the DBT
1 Samuel 22 in the DGDNT
1 Samuel 22 in the DHNT
1 Samuel 22 in the DNT
1 Samuel 22 in the ELBE
1 Samuel 22 in the EMTV
1 Samuel 22 in the ESV
1 Samuel 22 in the FBV
1 Samuel 22 in the FEB
1 Samuel 22 in the GGMNT
1 Samuel 22 in the GNT
1 Samuel 22 in the HARY
1 Samuel 22 in the HNT
1 Samuel 22 in the IRVA
1 Samuel 22 in the IRVB
1 Samuel 22 in the IRVG
1 Samuel 22 in the IRVH
1 Samuel 22 in the IRVK
1 Samuel 22 in the IRVM
1 Samuel 22 in the IRVM2
1 Samuel 22 in the IRVO
1 Samuel 22 in the IRVP
1 Samuel 22 in the IRVT
1 Samuel 22 in the IRVT2
1 Samuel 22 in the IRVU
1 Samuel 22 in the ISVN
1 Samuel 22 in the JSNT
1 Samuel 22 in the KAPI
1 Samuel 22 in the KBT1ETNIK
1 Samuel 22 in the KBV
1 Samuel 22 in the KJV
1 Samuel 22 in the KNFD
1 Samuel 22 in the LBA
1 Samuel 22 in the LBLA
1 Samuel 22 in the LNT
1 Samuel 22 in the LSV
1 Samuel 22 in the MAAL
1 Samuel 22 in the MBV
1 Samuel 22 in the MBV2
1 Samuel 22 in the MHNT
1 Samuel 22 in the MKNFD
1 Samuel 22 in the MNG
1 Samuel 22 in the MNT
1 Samuel 22 in the MNT2
1 Samuel 22 in the MRS1T
1 Samuel 22 in the NAA
1 Samuel 22 in the NASB
1 Samuel 22 in the NBLA
1 Samuel 22 in the NBS
1 Samuel 22 in the NBVTP
1 Samuel 22 in the NET2
1 Samuel 22 in the NIV11
1 Samuel 22 in the NNT
1 Samuel 22 in the NNT2
1 Samuel 22 in the NNT3
1 Samuel 22 in the PDDPT
1 Samuel 22 in the PFNT
1 Samuel 22 in the RMNT
1 Samuel 22 in the SBIAS
1 Samuel 22 in the SBIBS
1 Samuel 22 in the SBIBS2
1 Samuel 22 in the SBICS
1 Samuel 22 in the SBIDS
1 Samuel 22 in the SBIGS
1 Samuel 22 in the SBIHS
1 Samuel 22 in the SBIIS
1 Samuel 22 in the SBIIS2
1 Samuel 22 in the SBIIS3
1 Samuel 22 in the SBIKS
1 Samuel 22 in the SBIKS2
1 Samuel 22 in the SBIMS
1 Samuel 22 in the SBIOS
1 Samuel 22 in the SBIPS
1 Samuel 22 in the SBISS
1 Samuel 22 in the SBITS
1 Samuel 22 in the SBITS2
1 Samuel 22 in the SBITS3
1 Samuel 22 in the SBITS4
1 Samuel 22 in the SBIUS
1 Samuel 22 in the SBIVS
1 Samuel 22 in the SBT
1 Samuel 22 in the SBT1E
1 Samuel 22 in the SCHL
1 Samuel 22 in the SNT
1 Samuel 22 in the SUSU
1 Samuel 22 in the SUSU2
1 Samuel 22 in the SYNO
1 Samuel 22 in the TBIAOTANT
1 Samuel 22 in the TBT1E
1 Samuel 22 in the TBT1E2
1 Samuel 22 in the TFTIP
1 Samuel 22 in the TFTU
1 Samuel 22 in the TGNTATF3T
1 Samuel 22 in the THAI
1 Samuel 22 in the TNFD
1 Samuel 22 in the TNT
1 Samuel 22 in the TNTIK
1 Samuel 22 in the TNTIL
1 Samuel 22 in the TNTIN
1 Samuel 22 in the TNTIP
1 Samuel 22 in the TNTIZ
1 Samuel 22 in the TOMA
1 Samuel 22 in the TTENT
1 Samuel 22 in the UBG
1 Samuel 22 in the UGV
1 Samuel 22 in the UGV2
1 Samuel 22 in the UGV3
1 Samuel 22 in the VBL
1 Samuel 22 in the VDCC
1 Samuel 22 in the YALU
1 Samuel 22 in the YAPE
1 Samuel 22 in the YBVTP
1 Samuel 22 in the ZBP