1 Samuel 30 (BOLCB)

1 Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro. 2 Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala. 3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa. 4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba. 5 Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte. 6 Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri MUKAMA Katonda we. 7 Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera. 8 Dawudi ne yeebuuza ku MUKAMA nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.” 9 Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, 10 kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye. 11 Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya, 12 ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi. 13 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano. 14 Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi, n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.” 15 Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.” 16 N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda. 17 Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18 Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa. 19 Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu. 20 N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.” 21 Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa. 22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.” 23 Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, MUKAMA by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye. 24 Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.” 25 Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero. 26 Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba MUKAMA.” 27 Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri, 28 ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa; 29 n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni; 30 n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki; 31 n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.

In Other Versions

1 Samuel 30 in the ANGEFD

1 Samuel 30 in the ANTPNG2D

1 Samuel 30 in the AS21

1 Samuel 30 in the BAGH

1 Samuel 30 in the BBPNG

1 Samuel 30 in the BBT1E

1 Samuel 30 in the BDS

1 Samuel 30 in the BEV

1 Samuel 30 in the BHAD

1 Samuel 30 in the BIB

1 Samuel 30 in the BLPT

1 Samuel 30 in the BNT

1 Samuel 30 in the BNTABOOT

1 Samuel 30 in the BNTLV

1 Samuel 30 in the BOATCB

1 Samuel 30 in the BOATCB2

1 Samuel 30 in the BOBCV

1 Samuel 30 in the BOCNT

1 Samuel 30 in the BOECS

1 Samuel 30 in the BOGWICC

1 Samuel 30 in the BOHCB

1 Samuel 30 in the BOHCV

1 Samuel 30 in the BOHLNT

1 Samuel 30 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 30 in the BOICB

1 Samuel 30 in the BOILNTAP

1 Samuel 30 in the BOITCV

1 Samuel 30 in the BOKCV

1 Samuel 30 in the BOKCV2

1 Samuel 30 in the BOKHWOG

1 Samuel 30 in the BOKSSV

1 Samuel 30 in the BOLCB2

1 Samuel 30 in the BOMCV

1 Samuel 30 in the BONAV

1 Samuel 30 in the BONCB

1 Samuel 30 in the BONLT

1 Samuel 30 in the BONUT2

1 Samuel 30 in the BOPLNT

1 Samuel 30 in the BOSCB

1 Samuel 30 in the BOSNC

1 Samuel 30 in the BOTLNT

1 Samuel 30 in the BOVCB

1 Samuel 30 in the BOYCB

1 Samuel 30 in the BPBB

1 Samuel 30 in the BPH

1 Samuel 30 in the BSB

1 Samuel 30 in the CCB

1 Samuel 30 in the CUV

1 Samuel 30 in the CUVS

1 Samuel 30 in the DBT

1 Samuel 30 in the DGDNT

1 Samuel 30 in the DHNT

1 Samuel 30 in the DNT

1 Samuel 30 in the ELBE

1 Samuel 30 in the EMTV

1 Samuel 30 in the ESV

1 Samuel 30 in the FBV

1 Samuel 30 in the FEB

1 Samuel 30 in the GGMNT

1 Samuel 30 in the GNT

1 Samuel 30 in the HARY

1 Samuel 30 in the HNT

1 Samuel 30 in the IRVA

1 Samuel 30 in the IRVB

1 Samuel 30 in the IRVG

1 Samuel 30 in the IRVH

1 Samuel 30 in the IRVK

1 Samuel 30 in the IRVM

1 Samuel 30 in the IRVM2

1 Samuel 30 in the IRVO

1 Samuel 30 in the IRVP

1 Samuel 30 in the IRVT

1 Samuel 30 in the IRVT2

1 Samuel 30 in the IRVU

1 Samuel 30 in the ISVN

1 Samuel 30 in the JSNT

1 Samuel 30 in the KAPI

1 Samuel 30 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 30 in the KBV

1 Samuel 30 in the KJV

1 Samuel 30 in the KNFD

1 Samuel 30 in the LBA

1 Samuel 30 in the LBLA

1 Samuel 30 in the LNT

1 Samuel 30 in the LSV

1 Samuel 30 in the MAAL

1 Samuel 30 in the MBV

1 Samuel 30 in the MBV2

1 Samuel 30 in the MHNT

1 Samuel 30 in the MKNFD

1 Samuel 30 in the MNG

1 Samuel 30 in the MNT

1 Samuel 30 in the MNT2

1 Samuel 30 in the MRS1T

1 Samuel 30 in the NAA

1 Samuel 30 in the NASB

1 Samuel 30 in the NBLA

1 Samuel 30 in the NBS

1 Samuel 30 in the NBVTP

1 Samuel 30 in the NET2

1 Samuel 30 in the NIV11

1 Samuel 30 in the NNT

1 Samuel 30 in the NNT2

1 Samuel 30 in the NNT3

1 Samuel 30 in the PDDPT

1 Samuel 30 in the PFNT

1 Samuel 30 in the RMNT

1 Samuel 30 in the SBIAS

1 Samuel 30 in the SBIBS

1 Samuel 30 in the SBIBS2

1 Samuel 30 in the SBICS

1 Samuel 30 in the SBIDS

1 Samuel 30 in the SBIGS

1 Samuel 30 in the SBIHS

1 Samuel 30 in the SBIIS

1 Samuel 30 in the SBIIS2

1 Samuel 30 in the SBIIS3

1 Samuel 30 in the SBIKS

1 Samuel 30 in the SBIKS2

1 Samuel 30 in the SBIMS

1 Samuel 30 in the SBIOS

1 Samuel 30 in the SBIPS

1 Samuel 30 in the SBISS

1 Samuel 30 in the SBITS

1 Samuel 30 in the SBITS2

1 Samuel 30 in the SBITS3

1 Samuel 30 in the SBITS4

1 Samuel 30 in the SBIUS

1 Samuel 30 in the SBIVS

1 Samuel 30 in the SBT

1 Samuel 30 in the SBT1E

1 Samuel 30 in the SCHL

1 Samuel 30 in the SNT

1 Samuel 30 in the SUSU

1 Samuel 30 in the SUSU2

1 Samuel 30 in the SYNO

1 Samuel 30 in the TBIAOTANT

1 Samuel 30 in the TBT1E

1 Samuel 30 in the TBT1E2

1 Samuel 30 in the TFTIP

1 Samuel 30 in the TFTU

1 Samuel 30 in the TGNTATF3T

1 Samuel 30 in the THAI

1 Samuel 30 in the TNFD

1 Samuel 30 in the TNT

1 Samuel 30 in the TNTIK

1 Samuel 30 in the TNTIL

1 Samuel 30 in the TNTIN

1 Samuel 30 in the TNTIP

1 Samuel 30 in the TNTIZ

1 Samuel 30 in the TOMA

1 Samuel 30 in the TTENT

1 Samuel 30 in the UBG

1 Samuel 30 in the UGV

1 Samuel 30 in the UGV2

1 Samuel 30 in the UGV3

1 Samuel 30 in the VBL

1 Samuel 30 in the VDCC

1 Samuel 30 in the YALU

1 Samuel 30 in the YAPE

1 Samuel 30 in the YBVTP

1 Samuel 30 in the ZBP