1 Samuel 6 (BOLCB)
1 Awo essanduuko ya MUKAMA bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi y’Abafirisuuti, 2 Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya MUKAMA? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.” 3 Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa kyeyavudde ababonereza.” 4 Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olw’omusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu bitaano n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bitaano, ng’omuwendo gwa bakulembeze b’Abafirisuuti bwe guli.“Mwabonerezebwa mu ngeri y’emu ng’abakulembeze bammwe n’ensi yammwe. 5 Noolwekyo mukole ebibumbe eby’ebizimba n’eby’emmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe n’ensi yammwe. 6 Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ng’Abamisiri ne Falaawo bwe baakola? Bwe yabamala amaanyi, tebakkiriza Bayisirayiri kugenda era ne bagenda? 7 “Kale nno, muteeketeeke ekigaali ekipya, n’ente bbiri ezaakazaala, ezitateekebwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye ennyana zaazo muziziggyeeko. 8 Muddire essanduuko ya MUKAMA mugiteeke ku kigaali, ate muddire n’ekisanduuko mwe munaateeka ebintu ebya zaabu olw’ekiweebwayo olw’ekibi, mukiteeke ku mabbali g’essanduuko ya MUKAMA. Mugisindike, egende yokka. 9 Naye mugitunuulire; bw’eneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga MUKAMA ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ng’omukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.” 10 Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali. 11 Ne bateeka essanduuko ya MUKAMA ku kigaali n’ekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu n’ebibumbe eby’ebizimba okugiriraana. 12 Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi. 13 Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba. 14 Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi ne kiyimirira omwo okumpi n’awali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ez’ekigaali, ente ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri MUKAMA. 15 Abaleevi ne batwala essanduuko ya MUKAMA, n’ekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu b’e Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri MUKAMA. 16 Abakulembeze abataano ab’Abafirisuuti olwalaba ebyo, ne baddayo mu Ekuloni ku lunaku olwo. 17 Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri MUKAMA byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni; 18 era n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bwe byali, ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti ebyali eby’Abakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera n’ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya MUKAMA mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi, ne libeera kijjukizo n’okutuusa leero. 19 Naye nsanvu ku basajja ab’e Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya MUKAMA. Abantu ne banakuwala nnyo olw’ekibonerezo ekinene MUKAMA kye yabawa, 20 era abantu b’e Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga MUKAMA, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya MUKAMA tugiweereze ani?” 21 Ne batuma ababaka eri abatuuze b’e Kiriyasuyalimu n’obubaka nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya MUKAMA. Muserengete, mujje mugiddukire mugitwale ewammwe.”
In Other Versions
1 Samuel 6 in the ANGEFD
1 Samuel 6 in the ANTPNG2D
1 Samuel 6 in the AS21
1 Samuel 6 in the BAGH
1 Samuel 6 in the BBPNG
1 Samuel 6 in the BBT1E
1 Samuel 6 in the BDS
1 Samuel 6 in the BEV
1 Samuel 6 in the BHAD
1 Samuel 6 in the BIB
1 Samuel 6 in the BLPT
1 Samuel 6 in the BNT
1 Samuel 6 in the BNTABOOT
1 Samuel 6 in the BNTLV
1 Samuel 6 in the BOATCB
1 Samuel 6 in the BOATCB2
1 Samuel 6 in the BOBCV
1 Samuel 6 in the BOCNT
1 Samuel 6 in the BOECS
1 Samuel 6 in the BOGWICC
1 Samuel 6 in the BOHCB
1 Samuel 6 in the BOHCV
1 Samuel 6 in the BOHLNT
1 Samuel 6 in the BOHNTLTAL
1 Samuel 6 in the BOICB
1 Samuel 6 in the BOILNTAP
1 Samuel 6 in the BOITCV
1 Samuel 6 in the BOKCV
1 Samuel 6 in the BOKCV2
1 Samuel 6 in the BOKHWOG
1 Samuel 6 in the BOKSSV
1 Samuel 6 in the BOLCB2
1 Samuel 6 in the BOMCV
1 Samuel 6 in the BONAV
1 Samuel 6 in the BONCB
1 Samuel 6 in the BONLT
1 Samuel 6 in the BONUT2
1 Samuel 6 in the BOPLNT
1 Samuel 6 in the BOSCB
1 Samuel 6 in the BOSNC
1 Samuel 6 in the BOTLNT
1 Samuel 6 in the BOVCB
1 Samuel 6 in the BOYCB
1 Samuel 6 in the BPBB
1 Samuel 6 in the BPH
1 Samuel 6 in the BSB
1 Samuel 6 in the CCB
1 Samuel 6 in the CUV
1 Samuel 6 in the CUVS
1 Samuel 6 in the DBT
1 Samuel 6 in the DGDNT
1 Samuel 6 in the DHNT
1 Samuel 6 in the DNT
1 Samuel 6 in the ELBE
1 Samuel 6 in the EMTV
1 Samuel 6 in the ESV
1 Samuel 6 in the FBV
1 Samuel 6 in the FEB
1 Samuel 6 in the GGMNT
1 Samuel 6 in the GNT
1 Samuel 6 in the HARY
1 Samuel 6 in the HNT
1 Samuel 6 in the IRVA
1 Samuel 6 in the IRVB
1 Samuel 6 in the IRVG
1 Samuel 6 in the IRVH
1 Samuel 6 in the IRVK
1 Samuel 6 in the IRVM
1 Samuel 6 in the IRVM2
1 Samuel 6 in the IRVO
1 Samuel 6 in the IRVP
1 Samuel 6 in the IRVT
1 Samuel 6 in the IRVT2
1 Samuel 6 in the IRVU
1 Samuel 6 in the ISVN
1 Samuel 6 in the JSNT
1 Samuel 6 in the KAPI
1 Samuel 6 in the KBT1ETNIK
1 Samuel 6 in the KBV
1 Samuel 6 in the KJV
1 Samuel 6 in the KNFD
1 Samuel 6 in the LBA
1 Samuel 6 in the LBLA
1 Samuel 6 in the LNT
1 Samuel 6 in the LSV
1 Samuel 6 in the MAAL
1 Samuel 6 in the MBV
1 Samuel 6 in the MBV2
1 Samuel 6 in the MHNT
1 Samuel 6 in the MKNFD
1 Samuel 6 in the MNG
1 Samuel 6 in the MNT
1 Samuel 6 in the MNT2
1 Samuel 6 in the MRS1T
1 Samuel 6 in the NAA
1 Samuel 6 in the NASB
1 Samuel 6 in the NBLA
1 Samuel 6 in the NBS
1 Samuel 6 in the NBVTP
1 Samuel 6 in the NET2
1 Samuel 6 in the NIV11
1 Samuel 6 in the NNT
1 Samuel 6 in the NNT2
1 Samuel 6 in the NNT3
1 Samuel 6 in the PDDPT
1 Samuel 6 in the PFNT
1 Samuel 6 in the RMNT
1 Samuel 6 in the SBIAS
1 Samuel 6 in the SBIBS
1 Samuel 6 in the SBIBS2
1 Samuel 6 in the SBICS
1 Samuel 6 in the SBIDS
1 Samuel 6 in the SBIGS
1 Samuel 6 in the SBIHS
1 Samuel 6 in the SBIIS
1 Samuel 6 in the SBIIS2
1 Samuel 6 in the SBIIS3
1 Samuel 6 in the SBIKS
1 Samuel 6 in the SBIKS2
1 Samuel 6 in the SBIMS
1 Samuel 6 in the SBIOS
1 Samuel 6 in the SBIPS
1 Samuel 6 in the SBISS
1 Samuel 6 in the SBITS
1 Samuel 6 in the SBITS2
1 Samuel 6 in the SBITS3
1 Samuel 6 in the SBITS4
1 Samuel 6 in the SBIUS
1 Samuel 6 in the SBIVS
1 Samuel 6 in the SBT
1 Samuel 6 in the SBT1E
1 Samuel 6 in the SCHL
1 Samuel 6 in the SNT
1 Samuel 6 in the SUSU
1 Samuel 6 in the SUSU2
1 Samuel 6 in the SYNO
1 Samuel 6 in the TBIAOTANT
1 Samuel 6 in the TBT1E
1 Samuel 6 in the TBT1E2
1 Samuel 6 in the TFTIP
1 Samuel 6 in the TFTU
1 Samuel 6 in the TGNTATF3T
1 Samuel 6 in the THAI
1 Samuel 6 in the TNFD
1 Samuel 6 in the TNT
1 Samuel 6 in the TNTIK
1 Samuel 6 in the TNTIL
1 Samuel 6 in the TNTIN
1 Samuel 6 in the TNTIP
1 Samuel 6 in the TNTIZ
1 Samuel 6 in the TOMA
1 Samuel 6 in the TTENT
1 Samuel 6 in the UBG
1 Samuel 6 in the UGV
1 Samuel 6 in the UGV2
1 Samuel 6 in the UGV3
1 Samuel 6 in the VBL
1 Samuel 6 in the VDCC
1 Samuel 6 in the YALU
1 Samuel 6 in the YAPE
1 Samuel 6 in the YBVTP
1 Samuel 6 in the ZBP