1 Samuel 8 (BOLCB)
1 Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. 2 Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. 3 Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya. 4 Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, 5 ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.” 6 Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri MUKAMA. 7 Awo MUKAMA n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. 8 Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. 9 Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.” 10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna MUKAMA bye yamugamba. 11 N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. 12 Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. 13 Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. 14 Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. 15 Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. 16 Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. 17 Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. 18 Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye MUKAMA talibafaako ku lunaku olwo.” 19 Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, 20 naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.” 21 Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu MUKAMA. 22 MUKAMA n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.”Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”
In Other Versions
1 Samuel 8 in the ANGEFD
1 Samuel 8 in the ANTPNG2D
1 Samuel 8 in the AS21
1 Samuel 8 in the BAGH
1 Samuel 8 in the BBPNG
1 Samuel 8 in the BBT1E
1 Samuel 8 in the BDS
1 Samuel 8 in the BEV
1 Samuel 8 in the BHAD
1 Samuel 8 in the BIB
1 Samuel 8 in the BLPT
1 Samuel 8 in the BNT
1 Samuel 8 in the BNTABOOT
1 Samuel 8 in the BNTLV
1 Samuel 8 in the BOATCB
1 Samuel 8 in the BOATCB2
1 Samuel 8 in the BOBCV
1 Samuel 8 in the BOCNT
1 Samuel 8 in the BOECS
1 Samuel 8 in the BOGWICC
1 Samuel 8 in the BOHCB
1 Samuel 8 in the BOHCV
1 Samuel 8 in the BOHLNT
1 Samuel 8 in the BOHNTLTAL
1 Samuel 8 in the BOICB
1 Samuel 8 in the BOILNTAP
1 Samuel 8 in the BOITCV
1 Samuel 8 in the BOKCV
1 Samuel 8 in the BOKCV2
1 Samuel 8 in the BOKHWOG
1 Samuel 8 in the BOKSSV
1 Samuel 8 in the BOLCB2
1 Samuel 8 in the BOMCV
1 Samuel 8 in the BONAV
1 Samuel 8 in the BONCB
1 Samuel 8 in the BONLT
1 Samuel 8 in the BONUT2
1 Samuel 8 in the BOPLNT
1 Samuel 8 in the BOSCB
1 Samuel 8 in the BOSNC
1 Samuel 8 in the BOTLNT
1 Samuel 8 in the BOVCB
1 Samuel 8 in the BOYCB
1 Samuel 8 in the BPBB
1 Samuel 8 in the BPH
1 Samuel 8 in the BSB
1 Samuel 8 in the CCB
1 Samuel 8 in the CUV
1 Samuel 8 in the CUVS
1 Samuel 8 in the DBT
1 Samuel 8 in the DGDNT
1 Samuel 8 in the DHNT
1 Samuel 8 in the DNT
1 Samuel 8 in the ELBE
1 Samuel 8 in the EMTV
1 Samuel 8 in the ESV
1 Samuel 8 in the FBV
1 Samuel 8 in the FEB
1 Samuel 8 in the GGMNT
1 Samuel 8 in the GNT
1 Samuel 8 in the HARY
1 Samuel 8 in the HNT
1 Samuel 8 in the IRVA
1 Samuel 8 in the IRVB
1 Samuel 8 in the IRVG
1 Samuel 8 in the IRVH
1 Samuel 8 in the IRVK
1 Samuel 8 in the IRVM
1 Samuel 8 in the IRVM2
1 Samuel 8 in the IRVO
1 Samuel 8 in the IRVP
1 Samuel 8 in the IRVT
1 Samuel 8 in the IRVT2
1 Samuel 8 in the IRVU
1 Samuel 8 in the ISVN
1 Samuel 8 in the JSNT
1 Samuel 8 in the KAPI
1 Samuel 8 in the KBT1ETNIK
1 Samuel 8 in the KBV
1 Samuel 8 in the KJV
1 Samuel 8 in the KNFD
1 Samuel 8 in the LBA
1 Samuel 8 in the LBLA
1 Samuel 8 in the LNT
1 Samuel 8 in the LSV
1 Samuel 8 in the MAAL
1 Samuel 8 in the MBV
1 Samuel 8 in the MBV2
1 Samuel 8 in the MHNT
1 Samuel 8 in the MKNFD
1 Samuel 8 in the MNG
1 Samuel 8 in the MNT
1 Samuel 8 in the MNT2
1 Samuel 8 in the MRS1T
1 Samuel 8 in the NAA
1 Samuel 8 in the NASB
1 Samuel 8 in the NBLA
1 Samuel 8 in the NBS
1 Samuel 8 in the NBVTP
1 Samuel 8 in the NET2
1 Samuel 8 in the NIV11
1 Samuel 8 in the NNT
1 Samuel 8 in the NNT2
1 Samuel 8 in the NNT3
1 Samuel 8 in the PDDPT
1 Samuel 8 in the PFNT
1 Samuel 8 in the RMNT
1 Samuel 8 in the SBIAS
1 Samuel 8 in the SBIBS
1 Samuel 8 in the SBIBS2
1 Samuel 8 in the SBICS
1 Samuel 8 in the SBIDS
1 Samuel 8 in the SBIGS
1 Samuel 8 in the SBIHS
1 Samuel 8 in the SBIIS
1 Samuel 8 in the SBIIS2
1 Samuel 8 in the SBIIS3
1 Samuel 8 in the SBIKS
1 Samuel 8 in the SBIKS2
1 Samuel 8 in the SBIMS
1 Samuel 8 in the SBIOS
1 Samuel 8 in the SBIPS
1 Samuel 8 in the SBISS
1 Samuel 8 in the SBITS
1 Samuel 8 in the SBITS2
1 Samuel 8 in the SBITS3
1 Samuel 8 in the SBITS4
1 Samuel 8 in the SBIUS
1 Samuel 8 in the SBIVS
1 Samuel 8 in the SBT
1 Samuel 8 in the SBT1E
1 Samuel 8 in the SCHL
1 Samuel 8 in the SNT
1 Samuel 8 in the SUSU
1 Samuel 8 in the SUSU2
1 Samuel 8 in the SYNO
1 Samuel 8 in the TBIAOTANT
1 Samuel 8 in the TBT1E
1 Samuel 8 in the TBT1E2
1 Samuel 8 in the TFTIP
1 Samuel 8 in the TFTU
1 Samuel 8 in the TGNTATF3T
1 Samuel 8 in the THAI
1 Samuel 8 in the TNFD
1 Samuel 8 in the TNT
1 Samuel 8 in the TNTIK
1 Samuel 8 in the TNTIL
1 Samuel 8 in the TNTIN
1 Samuel 8 in the TNTIP
1 Samuel 8 in the TNTIZ
1 Samuel 8 in the TOMA
1 Samuel 8 in the TTENT
1 Samuel 8 in the UBG
1 Samuel 8 in the UGV
1 Samuel 8 in the UGV2
1 Samuel 8 in the UGV3
1 Samuel 8 in the VBL
1 Samuel 8 in the VDCC
1 Samuel 8 in the YALU
1 Samuel 8 in the YAPE
1 Samuel 8 in the YBVTP
1 Samuel 8 in the ZBP