1 Thessalonians 2 (BOLCB)
1 Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ng’okujja kwaffe gye muli tekwafa busa. 2 Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, n’okuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi. 3 Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa, 4 naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe. 5 Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi, 6 newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, 7 tulyoke tulabike ng’abatume ba Kristo ab’amaanyi. Naye twefuula ng’abaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina w’abaana bwe yandyagadde abaana be, 8 bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe. 9 Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda. 10 Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe, 11 nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be, 12 nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye. 13 Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza. 14 Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya. 15 Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna, 16 era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko. 17 Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako. 18 Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi n’emirundi, naye Setaani n’atuziyiza. 19 Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe? 20 Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.
In Other Versions
1 Thessalonians 2 in the ANGEFD
1 Thessalonians 2 in the ANTPNG2D
1 Thessalonians 2 in the BBPNG
1 Thessalonians 2 in the BBT1E
1 Thessalonians 2 in the BNTABOOT
1 Thessalonians 2 in the BNTLV
1 Thessalonians 2 in the BOATCB
1 Thessalonians 2 in the BOATCB2
1 Thessalonians 2 in the BOBCV
1 Thessalonians 2 in the BOCNT
1 Thessalonians 2 in the BOECS
1 Thessalonians 2 in the BOGWICC
1 Thessalonians 2 in the BOHCB
1 Thessalonians 2 in the BOHCV
1 Thessalonians 2 in the BOHLNT
1 Thessalonians 2 in the BOHNTLTAL
1 Thessalonians 2 in the BOICB
1 Thessalonians 2 in the BOILNTAP
1 Thessalonians 2 in the BOITCV
1 Thessalonians 2 in the BOKCV
1 Thessalonians 2 in the BOKCV2
1 Thessalonians 2 in the BOKHWOG
1 Thessalonians 2 in the BOKSSV
1 Thessalonians 2 in the BOLCB2
1 Thessalonians 2 in the BOMCV
1 Thessalonians 2 in the BONAV
1 Thessalonians 2 in the BONCB
1 Thessalonians 2 in the BONLT
1 Thessalonians 2 in the BONUT2
1 Thessalonians 2 in the BOPLNT
1 Thessalonians 2 in the BOSCB
1 Thessalonians 2 in the BOSNC
1 Thessalonians 2 in the BOTLNT
1 Thessalonians 2 in the BOVCB
1 Thessalonians 2 in the BOYCB
1 Thessalonians 2 in the DGDNT
1 Thessalonians 2 in the GGMNT
1 Thessalonians 2 in the IRVM2
1 Thessalonians 2 in the IRVT2
1 Thessalonians 2 in the KBT1ETNIK
1 Thessalonians 2 in the MKNFD
1 Thessalonians 2 in the MRS1T
1 Thessalonians 2 in the NBVTP
1 Thessalonians 2 in the NIV11
1 Thessalonians 2 in the PDDPT
1 Thessalonians 2 in the SBIAS
1 Thessalonians 2 in the SBIBS
1 Thessalonians 2 in the SBIBS2
1 Thessalonians 2 in the SBICS
1 Thessalonians 2 in the SBIDS
1 Thessalonians 2 in the SBIGS
1 Thessalonians 2 in the SBIHS
1 Thessalonians 2 in the SBIIS
1 Thessalonians 2 in the SBIIS2
1 Thessalonians 2 in the SBIIS3
1 Thessalonians 2 in the SBIKS
1 Thessalonians 2 in the SBIKS2
1 Thessalonians 2 in the SBIMS
1 Thessalonians 2 in the SBIOS
1 Thessalonians 2 in the SBIPS
1 Thessalonians 2 in the SBISS
1 Thessalonians 2 in the SBITS
1 Thessalonians 2 in the SBITS2
1 Thessalonians 2 in the SBITS3
1 Thessalonians 2 in the SBITS4
1 Thessalonians 2 in the SBIUS
1 Thessalonians 2 in the SBIVS
1 Thessalonians 2 in the SBT1E
1 Thessalonians 2 in the SUSU2
1 Thessalonians 2 in the TBIAOTANT
1 Thessalonians 2 in the TBT1E
1 Thessalonians 2 in the TBT1E2
1 Thessalonians 2 in the TFTIP
1 Thessalonians 2 in the TGNTATF3T
1 Thessalonians 2 in the TNTIK
1 Thessalonians 2 in the TNTIL
1 Thessalonians 2 in the TNTIN
1 Thessalonians 2 in the TNTIP
1 Thessalonians 2 in the TNTIZ
1 Thessalonians 2 in the TTENT