2 Chronicles 12 (BOLCB)

1 Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga MUKAMA. 2 Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri MUKAMA. 3 N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri. 4 N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi. 5 Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ” 6 Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “MUKAMA asala bulungi emisango.” 7 Awo MUKAMA bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki. 8 Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.” 9 Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya MUKAMA, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 10 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka. 11 Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya MUKAMA, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi. 12 Lekobowaamu bwe yeetoowaza, MUKAMA n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe. 13 Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga MUKAMA kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. 14 Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya MUKAMA mu mutima gwe. 15 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 16 Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira.

In Other Versions

2 Chronicles 12 in the ANGEFD

2 Chronicles 12 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 12 in the AS21

2 Chronicles 12 in the BAGH

2 Chronicles 12 in the BBPNG

2 Chronicles 12 in the BBT1E

2 Chronicles 12 in the BDS

2 Chronicles 12 in the BEV

2 Chronicles 12 in the BHAD

2 Chronicles 12 in the BIB

2 Chronicles 12 in the BLPT

2 Chronicles 12 in the BNT

2 Chronicles 12 in the BNTABOOT

2 Chronicles 12 in the BNTLV

2 Chronicles 12 in the BOATCB

2 Chronicles 12 in the BOATCB2

2 Chronicles 12 in the BOBCV

2 Chronicles 12 in the BOCNT

2 Chronicles 12 in the BOECS

2 Chronicles 12 in the BOGWICC

2 Chronicles 12 in the BOHCB

2 Chronicles 12 in the BOHCV

2 Chronicles 12 in the BOHLNT

2 Chronicles 12 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 12 in the BOICB

2 Chronicles 12 in the BOILNTAP

2 Chronicles 12 in the BOITCV

2 Chronicles 12 in the BOKCV

2 Chronicles 12 in the BOKCV2

2 Chronicles 12 in the BOKHWOG

2 Chronicles 12 in the BOKSSV

2 Chronicles 12 in the BOLCB2

2 Chronicles 12 in the BOMCV

2 Chronicles 12 in the BONAV

2 Chronicles 12 in the BONCB

2 Chronicles 12 in the BONLT

2 Chronicles 12 in the BONUT2

2 Chronicles 12 in the BOPLNT

2 Chronicles 12 in the BOSCB

2 Chronicles 12 in the BOSNC

2 Chronicles 12 in the BOTLNT

2 Chronicles 12 in the BOVCB

2 Chronicles 12 in the BOYCB

2 Chronicles 12 in the BPBB

2 Chronicles 12 in the BPH

2 Chronicles 12 in the BSB

2 Chronicles 12 in the CCB

2 Chronicles 12 in the CUV

2 Chronicles 12 in the CUVS

2 Chronicles 12 in the DBT

2 Chronicles 12 in the DGDNT

2 Chronicles 12 in the DHNT

2 Chronicles 12 in the DNT

2 Chronicles 12 in the ELBE

2 Chronicles 12 in the EMTV

2 Chronicles 12 in the ESV

2 Chronicles 12 in the FBV

2 Chronicles 12 in the FEB

2 Chronicles 12 in the GGMNT

2 Chronicles 12 in the GNT

2 Chronicles 12 in the HARY

2 Chronicles 12 in the HNT

2 Chronicles 12 in the IRVA

2 Chronicles 12 in the IRVB

2 Chronicles 12 in the IRVG

2 Chronicles 12 in the IRVH

2 Chronicles 12 in the IRVK

2 Chronicles 12 in the IRVM

2 Chronicles 12 in the IRVM2

2 Chronicles 12 in the IRVO

2 Chronicles 12 in the IRVP

2 Chronicles 12 in the IRVT

2 Chronicles 12 in the IRVT2

2 Chronicles 12 in the IRVU

2 Chronicles 12 in the ISVN

2 Chronicles 12 in the JSNT

2 Chronicles 12 in the KAPI

2 Chronicles 12 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 12 in the KBV

2 Chronicles 12 in the KJV

2 Chronicles 12 in the KNFD

2 Chronicles 12 in the LBA

2 Chronicles 12 in the LBLA

2 Chronicles 12 in the LNT

2 Chronicles 12 in the LSV

2 Chronicles 12 in the MAAL

2 Chronicles 12 in the MBV

2 Chronicles 12 in the MBV2

2 Chronicles 12 in the MHNT

2 Chronicles 12 in the MKNFD

2 Chronicles 12 in the MNG

2 Chronicles 12 in the MNT

2 Chronicles 12 in the MNT2

2 Chronicles 12 in the MRS1T

2 Chronicles 12 in the NAA

2 Chronicles 12 in the NASB

2 Chronicles 12 in the NBLA

2 Chronicles 12 in the NBS

2 Chronicles 12 in the NBVTP

2 Chronicles 12 in the NET2

2 Chronicles 12 in the NIV11

2 Chronicles 12 in the NNT

2 Chronicles 12 in the NNT2

2 Chronicles 12 in the NNT3

2 Chronicles 12 in the PDDPT

2 Chronicles 12 in the PFNT

2 Chronicles 12 in the RMNT

2 Chronicles 12 in the SBIAS

2 Chronicles 12 in the SBIBS

2 Chronicles 12 in the SBIBS2

2 Chronicles 12 in the SBICS

2 Chronicles 12 in the SBIDS

2 Chronicles 12 in the SBIGS

2 Chronicles 12 in the SBIHS

2 Chronicles 12 in the SBIIS

2 Chronicles 12 in the SBIIS2

2 Chronicles 12 in the SBIIS3

2 Chronicles 12 in the SBIKS

2 Chronicles 12 in the SBIKS2

2 Chronicles 12 in the SBIMS

2 Chronicles 12 in the SBIOS

2 Chronicles 12 in the SBIPS

2 Chronicles 12 in the SBISS

2 Chronicles 12 in the SBITS

2 Chronicles 12 in the SBITS2

2 Chronicles 12 in the SBITS3

2 Chronicles 12 in the SBITS4

2 Chronicles 12 in the SBIUS

2 Chronicles 12 in the SBIVS

2 Chronicles 12 in the SBT

2 Chronicles 12 in the SBT1E

2 Chronicles 12 in the SCHL

2 Chronicles 12 in the SNT

2 Chronicles 12 in the SUSU

2 Chronicles 12 in the SUSU2

2 Chronicles 12 in the SYNO

2 Chronicles 12 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 12 in the TBT1E

2 Chronicles 12 in the TBT1E2

2 Chronicles 12 in the TFTIP

2 Chronicles 12 in the TFTU

2 Chronicles 12 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 12 in the THAI

2 Chronicles 12 in the TNFD

2 Chronicles 12 in the TNT

2 Chronicles 12 in the TNTIK

2 Chronicles 12 in the TNTIL

2 Chronicles 12 in the TNTIN

2 Chronicles 12 in the TNTIP

2 Chronicles 12 in the TNTIZ

2 Chronicles 12 in the TOMA

2 Chronicles 12 in the TTENT

2 Chronicles 12 in the UBG

2 Chronicles 12 in the UGV

2 Chronicles 12 in the UGV2

2 Chronicles 12 in the UGV3

2 Chronicles 12 in the VBL

2 Chronicles 12 in the VDCC

2 Chronicles 12 in the YALU

2 Chronicles 12 in the YAPE

2 Chronicles 12 in the YBVTP

2 Chronicles 12 in the ZBP