2 Chronicles 14 (BOLCB)

1 Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi. 2 Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga MUKAMA Katonda we. 3 N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema. 4 N’alagira Yuda okunoonya MUKAMA Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye. 5 Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe. 6 N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga MUKAMA yamuwa okuwummula ku njuyi zonna. 7 N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza MUKAMA Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala. 8 Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira. 9 Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa. 10 Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa. 11 Awo Asa n’akoowoola MUKAMA Katonda we ng’agamba nti, “MUKAMA, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi MUKAMA Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi MUKAMA, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.” 12 Awo MUKAMA n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka. 13 Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya MUKAMA lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi. 14 Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya MUKAMA yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi. 15 Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.

In Other Versions

2 Chronicles 14 in the ANGEFD

2 Chronicles 14 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 14 in the AS21

2 Chronicles 14 in the BAGH

2 Chronicles 14 in the BBPNG

2 Chronicles 14 in the BBT1E

2 Chronicles 14 in the BDS

2 Chronicles 14 in the BEV

2 Chronicles 14 in the BHAD

2 Chronicles 14 in the BIB

2 Chronicles 14 in the BLPT

2 Chronicles 14 in the BNT

2 Chronicles 14 in the BNTABOOT

2 Chronicles 14 in the BNTLV

2 Chronicles 14 in the BOATCB

2 Chronicles 14 in the BOATCB2

2 Chronicles 14 in the BOBCV

2 Chronicles 14 in the BOCNT

2 Chronicles 14 in the BOECS

2 Chronicles 14 in the BOGWICC

2 Chronicles 14 in the BOHCB

2 Chronicles 14 in the BOHCV

2 Chronicles 14 in the BOHLNT

2 Chronicles 14 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 14 in the BOICB

2 Chronicles 14 in the BOILNTAP

2 Chronicles 14 in the BOITCV

2 Chronicles 14 in the BOKCV

2 Chronicles 14 in the BOKCV2

2 Chronicles 14 in the BOKHWOG

2 Chronicles 14 in the BOKSSV

2 Chronicles 14 in the BOLCB2

2 Chronicles 14 in the BOMCV

2 Chronicles 14 in the BONAV

2 Chronicles 14 in the BONCB

2 Chronicles 14 in the BONLT

2 Chronicles 14 in the BONUT2

2 Chronicles 14 in the BOPLNT

2 Chronicles 14 in the BOSCB

2 Chronicles 14 in the BOSNC

2 Chronicles 14 in the BOTLNT

2 Chronicles 14 in the BOVCB

2 Chronicles 14 in the BOYCB

2 Chronicles 14 in the BPBB

2 Chronicles 14 in the BPH

2 Chronicles 14 in the BSB

2 Chronicles 14 in the CCB

2 Chronicles 14 in the CUV

2 Chronicles 14 in the CUVS

2 Chronicles 14 in the DBT

2 Chronicles 14 in the DGDNT

2 Chronicles 14 in the DHNT

2 Chronicles 14 in the DNT

2 Chronicles 14 in the ELBE

2 Chronicles 14 in the EMTV

2 Chronicles 14 in the ESV

2 Chronicles 14 in the FBV

2 Chronicles 14 in the FEB

2 Chronicles 14 in the GGMNT

2 Chronicles 14 in the GNT

2 Chronicles 14 in the HARY

2 Chronicles 14 in the HNT

2 Chronicles 14 in the IRVA

2 Chronicles 14 in the IRVB

2 Chronicles 14 in the IRVG

2 Chronicles 14 in the IRVH

2 Chronicles 14 in the IRVK

2 Chronicles 14 in the IRVM

2 Chronicles 14 in the IRVM2

2 Chronicles 14 in the IRVO

2 Chronicles 14 in the IRVP

2 Chronicles 14 in the IRVT

2 Chronicles 14 in the IRVT2

2 Chronicles 14 in the IRVU

2 Chronicles 14 in the ISVN

2 Chronicles 14 in the JSNT

2 Chronicles 14 in the KAPI

2 Chronicles 14 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 14 in the KBV

2 Chronicles 14 in the KJV

2 Chronicles 14 in the KNFD

2 Chronicles 14 in the LBA

2 Chronicles 14 in the LBLA

2 Chronicles 14 in the LNT

2 Chronicles 14 in the LSV

2 Chronicles 14 in the MAAL

2 Chronicles 14 in the MBV

2 Chronicles 14 in the MBV2

2 Chronicles 14 in the MHNT

2 Chronicles 14 in the MKNFD

2 Chronicles 14 in the MNG

2 Chronicles 14 in the MNT

2 Chronicles 14 in the MNT2

2 Chronicles 14 in the MRS1T

2 Chronicles 14 in the NAA

2 Chronicles 14 in the NASB

2 Chronicles 14 in the NBLA

2 Chronicles 14 in the NBS

2 Chronicles 14 in the NBVTP

2 Chronicles 14 in the NET2

2 Chronicles 14 in the NIV11

2 Chronicles 14 in the NNT

2 Chronicles 14 in the NNT2

2 Chronicles 14 in the NNT3

2 Chronicles 14 in the PDDPT

2 Chronicles 14 in the PFNT

2 Chronicles 14 in the RMNT

2 Chronicles 14 in the SBIAS

2 Chronicles 14 in the SBIBS

2 Chronicles 14 in the SBIBS2

2 Chronicles 14 in the SBICS

2 Chronicles 14 in the SBIDS

2 Chronicles 14 in the SBIGS

2 Chronicles 14 in the SBIHS

2 Chronicles 14 in the SBIIS

2 Chronicles 14 in the SBIIS2

2 Chronicles 14 in the SBIIS3

2 Chronicles 14 in the SBIKS

2 Chronicles 14 in the SBIKS2

2 Chronicles 14 in the SBIMS

2 Chronicles 14 in the SBIOS

2 Chronicles 14 in the SBIPS

2 Chronicles 14 in the SBISS

2 Chronicles 14 in the SBITS

2 Chronicles 14 in the SBITS2

2 Chronicles 14 in the SBITS3

2 Chronicles 14 in the SBITS4

2 Chronicles 14 in the SBIUS

2 Chronicles 14 in the SBIVS

2 Chronicles 14 in the SBT

2 Chronicles 14 in the SBT1E

2 Chronicles 14 in the SCHL

2 Chronicles 14 in the SNT

2 Chronicles 14 in the SUSU

2 Chronicles 14 in the SUSU2

2 Chronicles 14 in the SYNO

2 Chronicles 14 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 14 in the TBT1E

2 Chronicles 14 in the TBT1E2

2 Chronicles 14 in the TFTIP

2 Chronicles 14 in the TFTU

2 Chronicles 14 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 14 in the THAI

2 Chronicles 14 in the TNFD

2 Chronicles 14 in the TNT

2 Chronicles 14 in the TNTIK

2 Chronicles 14 in the TNTIL

2 Chronicles 14 in the TNTIN

2 Chronicles 14 in the TNTIP

2 Chronicles 14 in the TNTIZ

2 Chronicles 14 in the TOMA

2 Chronicles 14 in the TTENT

2 Chronicles 14 in the UBG

2 Chronicles 14 in the UGV

2 Chronicles 14 in the UGV2

2 Chronicles 14 in the UGV3

2 Chronicles 14 in the VBL

2 Chronicles 14 in the VDCC

2 Chronicles 14 in the YALU

2 Chronicles 14 in the YAPE

2 Chronicles 14 in the YBVTP

2 Chronicles 14 in the ZBP