2 Chronicles 32 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira. 2 Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi, 3 n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola. 4 Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?” 5 N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi. 6 N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti, 7 “Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. 8 Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina MUKAMA Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera. 9 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti, 10 “Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa? 11 Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “MUKAMA Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta? 12 Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”? 13 “ ‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange? 14 Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange? 15 Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ” 16 Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku MUKAMA Katonda ne ku muddu we Keezeekiya. 17 Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma MUKAMA Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.” 18 Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga. 19 Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu. 20 Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. 21 MUKAMA n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala. 22 Awo MUKAMA n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna. 23 Bangi ne baleetera MUKAMA ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna. 24 Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba MUKAMA amuwonye, n’amuddamu n’akabonero. 25 Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa MUKAMA kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. 26 Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya MUKAMA ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya. 27 Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo. 28 N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga. 29 Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini. 30 Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga. 31 Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe. 32 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 33 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.

In Other Versions

2 Chronicles 32 in the ANGEFD

2 Chronicles 32 in the ANTPNG2D

2 Chronicles 32 in the AS21

2 Chronicles 32 in the BAGH

2 Chronicles 32 in the BBPNG

2 Chronicles 32 in the BBT1E

2 Chronicles 32 in the BDS

2 Chronicles 32 in the BEV

2 Chronicles 32 in the BHAD

2 Chronicles 32 in the BIB

2 Chronicles 32 in the BLPT

2 Chronicles 32 in the BNT

2 Chronicles 32 in the BNTABOOT

2 Chronicles 32 in the BNTLV

2 Chronicles 32 in the BOATCB

2 Chronicles 32 in the BOATCB2

2 Chronicles 32 in the BOBCV

2 Chronicles 32 in the BOCNT

2 Chronicles 32 in the BOECS

2 Chronicles 32 in the BOGWICC

2 Chronicles 32 in the BOHCB

2 Chronicles 32 in the BOHCV

2 Chronicles 32 in the BOHLNT

2 Chronicles 32 in the BOHNTLTAL

2 Chronicles 32 in the BOICB

2 Chronicles 32 in the BOILNTAP

2 Chronicles 32 in the BOITCV

2 Chronicles 32 in the BOKCV

2 Chronicles 32 in the BOKCV2

2 Chronicles 32 in the BOKHWOG

2 Chronicles 32 in the BOKSSV

2 Chronicles 32 in the BOLCB2

2 Chronicles 32 in the BOMCV

2 Chronicles 32 in the BONAV

2 Chronicles 32 in the BONCB

2 Chronicles 32 in the BONLT

2 Chronicles 32 in the BONUT2

2 Chronicles 32 in the BOPLNT

2 Chronicles 32 in the BOSCB

2 Chronicles 32 in the BOSNC

2 Chronicles 32 in the BOTLNT

2 Chronicles 32 in the BOVCB

2 Chronicles 32 in the BOYCB

2 Chronicles 32 in the BPBB

2 Chronicles 32 in the BPH

2 Chronicles 32 in the BSB

2 Chronicles 32 in the CCB

2 Chronicles 32 in the CUV

2 Chronicles 32 in the CUVS

2 Chronicles 32 in the DBT

2 Chronicles 32 in the DGDNT

2 Chronicles 32 in the DHNT

2 Chronicles 32 in the DNT

2 Chronicles 32 in the ELBE

2 Chronicles 32 in the EMTV

2 Chronicles 32 in the ESV

2 Chronicles 32 in the FBV

2 Chronicles 32 in the FEB

2 Chronicles 32 in the GGMNT

2 Chronicles 32 in the GNT

2 Chronicles 32 in the HARY

2 Chronicles 32 in the HNT

2 Chronicles 32 in the IRVA

2 Chronicles 32 in the IRVB

2 Chronicles 32 in the IRVG

2 Chronicles 32 in the IRVH

2 Chronicles 32 in the IRVK

2 Chronicles 32 in the IRVM

2 Chronicles 32 in the IRVM2

2 Chronicles 32 in the IRVO

2 Chronicles 32 in the IRVP

2 Chronicles 32 in the IRVT

2 Chronicles 32 in the IRVT2

2 Chronicles 32 in the IRVU

2 Chronicles 32 in the ISVN

2 Chronicles 32 in the JSNT

2 Chronicles 32 in the KAPI

2 Chronicles 32 in the KBT1ETNIK

2 Chronicles 32 in the KBV

2 Chronicles 32 in the KJV

2 Chronicles 32 in the KNFD

2 Chronicles 32 in the LBA

2 Chronicles 32 in the LBLA

2 Chronicles 32 in the LNT

2 Chronicles 32 in the LSV

2 Chronicles 32 in the MAAL

2 Chronicles 32 in the MBV

2 Chronicles 32 in the MBV2

2 Chronicles 32 in the MHNT

2 Chronicles 32 in the MKNFD

2 Chronicles 32 in the MNG

2 Chronicles 32 in the MNT

2 Chronicles 32 in the MNT2

2 Chronicles 32 in the MRS1T

2 Chronicles 32 in the NAA

2 Chronicles 32 in the NASB

2 Chronicles 32 in the NBLA

2 Chronicles 32 in the NBS

2 Chronicles 32 in the NBVTP

2 Chronicles 32 in the NET2

2 Chronicles 32 in the NIV11

2 Chronicles 32 in the NNT

2 Chronicles 32 in the NNT2

2 Chronicles 32 in the NNT3

2 Chronicles 32 in the PDDPT

2 Chronicles 32 in the PFNT

2 Chronicles 32 in the RMNT

2 Chronicles 32 in the SBIAS

2 Chronicles 32 in the SBIBS

2 Chronicles 32 in the SBIBS2

2 Chronicles 32 in the SBICS

2 Chronicles 32 in the SBIDS

2 Chronicles 32 in the SBIGS

2 Chronicles 32 in the SBIHS

2 Chronicles 32 in the SBIIS

2 Chronicles 32 in the SBIIS2

2 Chronicles 32 in the SBIIS3

2 Chronicles 32 in the SBIKS

2 Chronicles 32 in the SBIKS2

2 Chronicles 32 in the SBIMS

2 Chronicles 32 in the SBIOS

2 Chronicles 32 in the SBIPS

2 Chronicles 32 in the SBISS

2 Chronicles 32 in the SBITS

2 Chronicles 32 in the SBITS2

2 Chronicles 32 in the SBITS3

2 Chronicles 32 in the SBITS4

2 Chronicles 32 in the SBIUS

2 Chronicles 32 in the SBIVS

2 Chronicles 32 in the SBT

2 Chronicles 32 in the SBT1E

2 Chronicles 32 in the SCHL

2 Chronicles 32 in the SNT

2 Chronicles 32 in the SUSU

2 Chronicles 32 in the SUSU2

2 Chronicles 32 in the SYNO

2 Chronicles 32 in the TBIAOTANT

2 Chronicles 32 in the TBT1E

2 Chronicles 32 in the TBT1E2

2 Chronicles 32 in the TFTIP

2 Chronicles 32 in the TFTU

2 Chronicles 32 in the TGNTATF3T

2 Chronicles 32 in the THAI

2 Chronicles 32 in the TNFD

2 Chronicles 32 in the TNT

2 Chronicles 32 in the TNTIK

2 Chronicles 32 in the TNTIL

2 Chronicles 32 in the TNTIN

2 Chronicles 32 in the TNTIP

2 Chronicles 32 in the TNTIZ

2 Chronicles 32 in the TOMA

2 Chronicles 32 in the TTENT

2 Chronicles 32 in the UBG

2 Chronicles 32 in the UGV

2 Chronicles 32 in the UGV2

2 Chronicles 32 in the UGV3

2 Chronicles 32 in the VBL

2 Chronicles 32 in the VDCC

2 Chronicles 32 in the YALU

2 Chronicles 32 in the YAPE

2 Chronicles 32 in the YBVTP

2 Chronicles 32 in the ZBP