2 Corinthians 11 (BOLCB)
1 Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 2 Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 3 kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 4 Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5 Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 6 Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna. 7 Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 8 Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 9 era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 15 Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri. 16 Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 17 Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 18 Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 19 Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20 Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 21 Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange. 30 Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 32 Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 33 naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.
In Other Versions
2 Corinthians 11 in the ANGEFD
2 Corinthians 11 in the ANTPNG2D
2 Corinthians 11 in the BNTABOOT
2 Corinthians 11 in the BOATCB
2 Corinthians 11 in the BOATCB2
2 Corinthians 11 in the BOGWICC
2 Corinthians 11 in the BOHLNT
2 Corinthians 11 in the BOHNTLTAL
2 Corinthians 11 in the BOILNTAP
2 Corinthians 11 in the BOITCV
2 Corinthians 11 in the BOKCV2
2 Corinthians 11 in the BOKHWOG
2 Corinthians 11 in the BOKSSV
2 Corinthians 11 in the BOLCB2
2 Corinthians 11 in the BONUT2
2 Corinthians 11 in the BOPLNT
2 Corinthians 11 in the BOTLNT
2 Corinthians 11 in the KBT1ETNIK
2 Corinthians 11 in the SBIBS2
2 Corinthians 11 in the SBIIS2
2 Corinthians 11 in the SBIIS3
2 Corinthians 11 in the SBIKS2
2 Corinthians 11 in the SBITS2
2 Corinthians 11 in the SBITS3
2 Corinthians 11 in the SBITS4
2 Corinthians 11 in the TBIAOTANT
2 Corinthians 11 in the TBT1E2