2 Kings 10 (BOLCB)

1 Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti, 2 “Amangwago ng’ebbaluwa eno ebatuuseeko, ng’abaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali n’embalaasi, era n’ekibuga kiriko enkomera n’ebyokulwanyisa, 3 mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.” 4 Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?” 5 Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.” 6 Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.”Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo. 7 Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri. 8 Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.” 9 Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna? 10 Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya MUKAMA, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga MUKAMA akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.” 11 Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu. 12 Awo Yeeku n’asitula n’ayolekera Samaliya. N’asisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi n’ennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya, 13 n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.” 14 N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu. 15 Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali. 16 Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri MUKAMA.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye. 17 Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya MUKAMA kye yayogera eri Eriya bwe kyali. 18 Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo. 19 Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali. 20 Yeeku n’alagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira. 21 Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali, ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala. 22 Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo. 23 Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa MUKAMA, wabula abasinza Baali bokka.” 24 Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.” 25 Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali. 26 Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. 27 Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero. 28 Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri. 29 Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani. 30 MUKAMA n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.” 31 Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga MUKAMA Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri. 32 Mu biro ebyo MUKAMA n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira 33 ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi ey’e Gireyaadi mu bitundu eby’Abagaadi, n’Abalewubeeni, n’Abamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni n’okuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani. 34 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, n’ebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri? 35 Yeeku n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we n’amusikira. 36 Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.

In Other Versions

2 Kings 10 in the ANGEFD

2 Kings 10 in the ANTPNG2D

2 Kings 10 in the AS21

2 Kings 10 in the BAGH

2 Kings 10 in the BBPNG

2 Kings 10 in the BBT1E

2 Kings 10 in the BDS

2 Kings 10 in the BEV

2 Kings 10 in the BHAD

2 Kings 10 in the BIB

2 Kings 10 in the BLPT

2 Kings 10 in the BNT

2 Kings 10 in the BNTABOOT

2 Kings 10 in the BNTLV

2 Kings 10 in the BOATCB

2 Kings 10 in the BOATCB2

2 Kings 10 in the BOBCV

2 Kings 10 in the BOCNT

2 Kings 10 in the BOECS

2 Kings 10 in the BOGWICC

2 Kings 10 in the BOHCB

2 Kings 10 in the BOHCV

2 Kings 10 in the BOHLNT

2 Kings 10 in the BOHNTLTAL

2 Kings 10 in the BOICB

2 Kings 10 in the BOILNTAP

2 Kings 10 in the BOITCV

2 Kings 10 in the BOKCV

2 Kings 10 in the BOKCV2

2 Kings 10 in the BOKHWOG

2 Kings 10 in the BOKSSV

2 Kings 10 in the BOLCB2

2 Kings 10 in the BOMCV

2 Kings 10 in the BONAV

2 Kings 10 in the BONCB

2 Kings 10 in the BONLT

2 Kings 10 in the BONUT2

2 Kings 10 in the BOPLNT

2 Kings 10 in the BOSCB

2 Kings 10 in the BOSNC

2 Kings 10 in the BOTLNT

2 Kings 10 in the BOVCB

2 Kings 10 in the BOYCB

2 Kings 10 in the BPBB

2 Kings 10 in the BPH

2 Kings 10 in the BSB

2 Kings 10 in the CCB

2 Kings 10 in the CUV

2 Kings 10 in the CUVS

2 Kings 10 in the DBT

2 Kings 10 in the DGDNT

2 Kings 10 in the DHNT

2 Kings 10 in the DNT

2 Kings 10 in the ELBE

2 Kings 10 in the EMTV

2 Kings 10 in the ESV

2 Kings 10 in the FBV

2 Kings 10 in the FEB

2 Kings 10 in the GGMNT

2 Kings 10 in the GNT

2 Kings 10 in the HARY

2 Kings 10 in the HNT

2 Kings 10 in the IRVA

2 Kings 10 in the IRVB

2 Kings 10 in the IRVG

2 Kings 10 in the IRVH

2 Kings 10 in the IRVK

2 Kings 10 in the IRVM

2 Kings 10 in the IRVM2

2 Kings 10 in the IRVO

2 Kings 10 in the IRVP

2 Kings 10 in the IRVT

2 Kings 10 in the IRVT2

2 Kings 10 in the IRVU

2 Kings 10 in the ISVN

2 Kings 10 in the JSNT

2 Kings 10 in the KAPI

2 Kings 10 in the KBT1ETNIK

2 Kings 10 in the KBV

2 Kings 10 in the KJV

2 Kings 10 in the KNFD

2 Kings 10 in the LBA

2 Kings 10 in the LBLA

2 Kings 10 in the LNT

2 Kings 10 in the LSV

2 Kings 10 in the MAAL

2 Kings 10 in the MBV

2 Kings 10 in the MBV2

2 Kings 10 in the MHNT

2 Kings 10 in the MKNFD

2 Kings 10 in the MNG

2 Kings 10 in the MNT

2 Kings 10 in the MNT2

2 Kings 10 in the MRS1T

2 Kings 10 in the NAA

2 Kings 10 in the NASB

2 Kings 10 in the NBLA

2 Kings 10 in the NBS

2 Kings 10 in the NBVTP

2 Kings 10 in the NET2

2 Kings 10 in the NIV11

2 Kings 10 in the NNT

2 Kings 10 in the NNT2

2 Kings 10 in the NNT3

2 Kings 10 in the PDDPT

2 Kings 10 in the PFNT

2 Kings 10 in the RMNT

2 Kings 10 in the SBIAS

2 Kings 10 in the SBIBS

2 Kings 10 in the SBIBS2

2 Kings 10 in the SBICS

2 Kings 10 in the SBIDS

2 Kings 10 in the SBIGS

2 Kings 10 in the SBIHS

2 Kings 10 in the SBIIS

2 Kings 10 in the SBIIS2

2 Kings 10 in the SBIIS3

2 Kings 10 in the SBIKS

2 Kings 10 in the SBIKS2

2 Kings 10 in the SBIMS

2 Kings 10 in the SBIOS

2 Kings 10 in the SBIPS

2 Kings 10 in the SBISS

2 Kings 10 in the SBITS

2 Kings 10 in the SBITS2

2 Kings 10 in the SBITS3

2 Kings 10 in the SBITS4

2 Kings 10 in the SBIUS

2 Kings 10 in the SBIVS

2 Kings 10 in the SBT

2 Kings 10 in the SBT1E

2 Kings 10 in the SCHL

2 Kings 10 in the SNT

2 Kings 10 in the SUSU

2 Kings 10 in the SUSU2

2 Kings 10 in the SYNO

2 Kings 10 in the TBIAOTANT

2 Kings 10 in the TBT1E

2 Kings 10 in the TBT1E2

2 Kings 10 in the TFTIP

2 Kings 10 in the TFTU

2 Kings 10 in the TGNTATF3T

2 Kings 10 in the THAI

2 Kings 10 in the TNFD

2 Kings 10 in the TNT

2 Kings 10 in the TNTIK

2 Kings 10 in the TNTIL

2 Kings 10 in the TNTIN

2 Kings 10 in the TNTIP

2 Kings 10 in the TNTIZ

2 Kings 10 in the TOMA

2 Kings 10 in the TTENT

2 Kings 10 in the UBG

2 Kings 10 in the UGV

2 Kings 10 in the UGV2

2 Kings 10 in the UGV3

2 Kings 10 in the VBL

2 Kings 10 in the VDCC

2 Kings 10 in the YALU

2 Kings 10 in the YAPE

2 Kings 10 in the YBVTP

2 Kings 10 in the ZBP