2 Kings 12 (BOLCB)
1 Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi. 2 Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga MUKAMA, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga. 3 Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo. 4 Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya MUKAMA, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya MUKAMA, 5 n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.” 6 Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu. 7 Awo kabaka Yekoyaasi n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.” 8 Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu. 9 Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya MUKAMA. 10 Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya MUKAMA ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka. 11 N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA. 12 Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, n’amayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA n’olwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo. 13 Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya MUKAMA; 14 kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu. 15 Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa. 16 Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo eby’okulumiriza n’ebiweebwayo olw’ekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya MUKAMA, zaabanga za bakabona. 17 Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi. 18 Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya MUKAMA n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi. 19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro. 21 Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.
In Other Versions
2 Kings 12 in the ANGEFD
2 Kings 12 in the ANTPNG2D
2 Kings 12 in the AS21
2 Kings 12 in the BAGH
2 Kings 12 in the BBPNG
2 Kings 12 in the BBT1E
2 Kings 12 in the BDS
2 Kings 12 in the BEV
2 Kings 12 in the BHAD
2 Kings 12 in the BIB
2 Kings 12 in the BLPT
2 Kings 12 in the BNT
2 Kings 12 in the BNTABOOT
2 Kings 12 in the BNTLV
2 Kings 12 in the BOATCB
2 Kings 12 in the BOATCB2
2 Kings 12 in the BOBCV
2 Kings 12 in the BOCNT
2 Kings 12 in the BOECS
2 Kings 12 in the BOGWICC
2 Kings 12 in the BOHCB
2 Kings 12 in the BOHCV
2 Kings 12 in the BOHLNT
2 Kings 12 in the BOHNTLTAL
2 Kings 12 in the BOICB
2 Kings 12 in the BOILNTAP
2 Kings 12 in the BOITCV
2 Kings 12 in the BOKCV
2 Kings 12 in the BOKCV2
2 Kings 12 in the BOKHWOG
2 Kings 12 in the BOKSSV
2 Kings 12 in the BOLCB2
2 Kings 12 in the BOMCV
2 Kings 12 in the BONAV
2 Kings 12 in the BONCB
2 Kings 12 in the BONLT
2 Kings 12 in the BONUT2
2 Kings 12 in the BOPLNT
2 Kings 12 in the BOSCB
2 Kings 12 in the BOSNC
2 Kings 12 in the BOTLNT
2 Kings 12 in the BOVCB
2 Kings 12 in the BOYCB
2 Kings 12 in the BPBB
2 Kings 12 in the BPH
2 Kings 12 in the BSB
2 Kings 12 in the CCB
2 Kings 12 in the CUV
2 Kings 12 in the CUVS
2 Kings 12 in the DBT
2 Kings 12 in the DGDNT
2 Kings 12 in the DHNT
2 Kings 12 in the DNT
2 Kings 12 in the ELBE
2 Kings 12 in the EMTV
2 Kings 12 in the ESV
2 Kings 12 in the FBV
2 Kings 12 in the FEB
2 Kings 12 in the GGMNT
2 Kings 12 in the GNT
2 Kings 12 in the HARY
2 Kings 12 in the HNT
2 Kings 12 in the IRVA
2 Kings 12 in the IRVB
2 Kings 12 in the IRVG
2 Kings 12 in the IRVH
2 Kings 12 in the IRVK
2 Kings 12 in the IRVM
2 Kings 12 in the IRVM2
2 Kings 12 in the IRVO
2 Kings 12 in the IRVP
2 Kings 12 in the IRVT
2 Kings 12 in the IRVT2
2 Kings 12 in the IRVU
2 Kings 12 in the ISVN
2 Kings 12 in the JSNT
2 Kings 12 in the KAPI
2 Kings 12 in the KBT1ETNIK
2 Kings 12 in the KBV
2 Kings 12 in the KJV
2 Kings 12 in the KNFD
2 Kings 12 in the LBA
2 Kings 12 in the LBLA
2 Kings 12 in the LNT
2 Kings 12 in the LSV
2 Kings 12 in the MAAL
2 Kings 12 in the MBV
2 Kings 12 in the MBV2
2 Kings 12 in the MHNT
2 Kings 12 in the MKNFD
2 Kings 12 in the MNG
2 Kings 12 in the MNT
2 Kings 12 in the MNT2
2 Kings 12 in the MRS1T
2 Kings 12 in the NAA
2 Kings 12 in the NASB
2 Kings 12 in the NBLA
2 Kings 12 in the NBS
2 Kings 12 in the NBVTP
2 Kings 12 in the NET2
2 Kings 12 in the NIV11
2 Kings 12 in the NNT
2 Kings 12 in the NNT2
2 Kings 12 in the NNT3
2 Kings 12 in the PDDPT
2 Kings 12 in the PFNT
2 Kings 12 in the RMNT
2 Kings 12 in the SBIAS
2 Kings 12 in the SBIBS
2 Kings 12 in the SBIBS2
2 Kings 12 in the SBICS
2 Kings 12 in the SBIDS
2 Kings 12 in the SBIGS
2 Kings 12 in the SBIHS
2 Kings 12 in the SBIIS
2 Kings 12 in the SBIIS2
2 Kings 12 in the SBIIS3
2 Kings 12 in the SBIKS
2 Kings 12 in the SBIKS2
2 Kings 12 in the SBIMS
2 Kings 12 in the SBIOS
2 Kings 12 in the SBIPS
2 Kings 12 in the SBISS
2 Kings 12 in the SBITS
2 Kings 12 in the SBITS2
2 Kings 12 in the SBITS3
2 Kings 12 in the SBITS4
2 Kings 12 in the SBIUS
2 Kings 12 in the SBIVS
2 Kings 12 in the SBT
2 Kings 12 in the SBT1E
2 Kings 12 in the SCHL
2 Kings 12 in the SNT
2 Kings 12 in the SUSU
2 Kings 12 in the SUSU2
2 Kings 12 in the SYNO
2 Kings 12 in the TBIAOTANT
2 Kings 12 in the TBT1E
2 Kings 12 in the TBT1E2
2 Kings 12 in the TFTIP
2 Kings 12 in the TFTU
2 Kings 12 in the TGNTATF3T
2 Kings 12 in the THAI
2 Kings 12 in the TNFD
2 Kings 12 in the TNT
2 Kings 12 in the TNTIK
2 Kings 12 in the TNTIL
2 Kings 12 in the TNTIN
2 Kings 12 in the TNTIP
2 Kings 12 in the TNTIZ
2 Kings 12 in the TOMA
2 Kings 12 in the TTENT
2 Kings 12 in the UBG
2 Kings 12 in the UGV
2 Kings 12 in the UGV2
2 Kings 12 in the UGV3
2 Kings 12 in the VBL
2 Kings 12 in the VDCC
2 Kings 12 in the YALU
2 Kings 12 in the YAPE
2 Kings 12 in the YBVTP
2 Kings 12 in the ZBP