2 Kings 23 (BOLCB)

1 Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 2 N’ayambuka mu yeekaalu ya MUKAMA ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya MUKAMA, nga bonna bawulira. 3 Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne MUKAMA, okutambuliranga mu kkubo lya MUKAMA, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya. 4 Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya MUKAMA ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri. 5 N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. 6 N’aggya empagi ya Asera mu yeekaalu ya MUKAMA, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. 7 Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya MUKAMA, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa. 8 Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. 9 Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya MUKAMA mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe. 10 Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11 Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12 Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya MUKAMA. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13 Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14 N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu. 15 Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16 Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya MUKAMA bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira. 17 Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18 N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19 N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa MUKAMA okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20 Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi. 21 Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa MUKAMA Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22 Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24 Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya MUKAMA. 25 Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira MUKAMA n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa. 26 Kyokka MUKAMA n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera MUKAMA okusunguwala. 27 Awo MUKAMA n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.” 28 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 29 Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo. 30 Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka. 31 Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA nga bajjajjaabe bwe baakola. 33 Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya. 34 Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira. 35 Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa. 36 Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Naye n’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, nga bajjajjaabe be bwe baakola.

In Other Versions

2 Kings 23 in the ANGEFD

2 Kings 23 in the ANTPNG2D

2 Kings 23 in the AS21

2 Kings 23 in the BAGH

2 Kings 23 in the BBPNG

2 Kings 23 in the BBT1E

2 Kings 23 in the BDS

2 Kings 23 in the BEV

2 Kings 23 in the BHAD

2 Kings 23 in the BIB

2 Kings 23 in the BLPT

2 Kings 23 in the BNT

2 Kings 23 in the BNTABOOT

2 Kings 23 in the BNTLV

2 Kings 23 in the BOATCB

2 Kings 23 in the BOATCB2

2 Kings 23 in the BOBCV

2 Kings 23 in the BOCNT

2 Kings 23 in the BOECS

2 Kings 23 in the BOGWICC

2 Kings 23 in the BOHCB

2 Kings 23 in the BOHCV

2 Kings 23 in the BOHLNT

2 Kings 23 in the BOHNTLTAL

2 Kings 23 in the BOICB

2 Kings 23 in the BOILNTAP

2 Kings 23 in the BOITCV

2 Kings 23 in the BOKCV

2 Kings 23 in the BOKCV2

2 Kings 23 in the BOKHWOG

2 Kings 23 in the BOKSSV

2 Kings 23 in the BOLCB2

2 Kings 23 in the BOMCV

2 Kings 23 in the BONAV

2 Kings 23 in the BONCB

2 Kings 23 in the BONLT

2 Kings 23 in the BONUT2

2 Kings 23 in the BOPLNT

2 Kings 23 in the BOSCB

2 Kings 23 in the BOSNC

2 Kings 23 in the BOTLNT

2 Kings 23 in the BOVCB

2 Kings 23 in the BOYCB

2 Kings 23 in the BPBB

2 Kings 23 in the BPH

2 Kings 23 in the BSB

2 Kings 23 in the CCB

2 Kings 23 in the CUV

2 Kings 23 in the CUVS

2 Kings 23 in the DBT

2 Kings 23 in the DGDNT

2 Kings 23 in the DHNT

2 Kings 23 in the DNT

2 Kings 23 in the ELBE

2 Kings 23 in the EMTV

2 Kings 23 in the ESV

2 Kings 23 in the FBV

2 Kings 23 in the FEB

2 Kings 23 in the GGMNT

2 Kings 23 in the GNT

2 Kings 23 in the HARY

2 Kings 23 in the HNT

2 Kings 23 in the IRVA

2 Kings 23 in the IRVB

2 Kings 23 in the IRVG

2 Kings 23 in the IRVH

2 Kings 23 in the IRVK

2 Kings 23 in the IRVM

2 Kings 23 in the IRVM2

2 Kings 23 in the IRVO

2 Kings 23 in the IRVP

2 Kings 23 in the IRVT

2 Kings 23 in the IRVT2

2 Kings 23 in the IRVU

2 Kings 23 in the ISVN

2 Kings 23 in the JSNT

2 Kings 23 in the KAPI

2 Kings 23 in the KBT1ETNIK

2 Kings 23 in the KBV

2 Kings 23 in the KJV

2 Kings 23 in the KNFD

2 Kings 23 in the LBA

2 Kings 23 in the LBLA

2 Kings 23 in the LNT

2 Kings 23 in the LSV

2 Kings 23 in the MAAL

2 Kings 23 in the MBV

2 Kings 23 in the MBV2

2 Kings 23 in the MHNT

2 Kings 23 in the MKNFD

2 Kings 23 in the MNG

2 Kings 23 in the MNT

2 Kings 23 in the MNT2

2 Kings 23 in the MRS1T

2 Kings 23 in the NAA

2 Kings 23 in the NASB

2 Kings 23 in the NBLA

2 Kings 23 in the NBS

2 Kings 23 in the NBVTP

2 Kings 23 in the NET2

2 Kings 23 in the NIV11

2 Kings 23 in the NNT

2 Kings 23 in the NNT2

2 Kings 23 in the NNT3

2 Kings 23 in the PDDPT

2 Kings 23 in the PFNT

2 Kings 23 in the RMNT

2 Kings 23 in the SBIAS

2 Kings 23 in the SBIBS

2 Kings 23 in the SBIBS2

2 Kings 23 in the SBICS

2 Kings 23 in the SBIDS

2 Kings 23 in the SBIGS

2 Kings 23 in the SBIHS

2 Kings 23 in the SBIIS

2 Kings 23 in the SBIIS2

2 Kings 23 in the SBIIS3

2 Kings 23 in the SBIKS

2 Kings 23 in the SBIKS2

2 Kings 23 in the SBIMS

2 Kings 23 in the SBIOS

2 Kings 23 in the SBIPS

2 Kings 23 in the SBISS

2 Kings 23 in the SBITS

2 Kings 23 in the SBITS2

2 Kings 23 in the SBITS3

2 Kings 23 in the SBITS4

2 Kings 23 in the SBIUS

2 Kings 23 in the SBIVS

2 Kings 23 in the SBT

2 Kings 23 in the SBT1E

2 Kings 23 in the SCHL

2 Kings 23 in the SNT

2 Kings 23 in the SUSU

2 Kings 23 in the SUSU2

2 Kings 23 in the SYNO

2 Kings 23 in the TBIAOTANT

2 Kings 23 in the TBT1E

2 Kings 23 in the TBT1E2

2 Kings 23 in the TFTIP

2 Kings 23 in the TFTU

2 Kings 23 in the TGNTATF3T

2 Kings 23 in the THAI

2 Kings 23 in the TNFD

2 Kings 23 in the TNT

2 Kings 23 in the TNTIK

2 Kings 23 in the TNTIL

2 Kings 23 in the TNTIN

2 Kings 23 in the TNTIP

2 Kings 23 in the TNTIZ

2 Kings 23 in the TOMA

2 Kings 23 in the TTENT

2 Kings 23 in the UBG

2 Kings 23 in the UGV

2 Kings 23 in the UGV2

2 Kings 23 in the UGV3

2 Kings 23 in the VBL

2 Kings 23 in the VDCC

2 Kings 23 in the YALU

2 Kings 23 in the YAPE

2 Kings 23 in the YBVTP

2 Kings 23 in the ZBP