2 Kings 24 (BOLCB)

1 Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza. 2 Awo MUKAMA n’asindikira Yekoyakimu ebibinja by’Abakaludaaya, n’Abasuuli, n’Abamowaabu, n’Abamoni, n’abatuma okulumba Yuda, ng’ekigambo kya MUKAMA kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali. 3 Era ddala ebyo by’atuukirira ku Yuda ng’ekiragiro kya MUKAMA bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olw’ebibi bya Manase n’ebirala byonna bye yakola, 4 ng’okwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi n’omusaayi ogutaliiko musango, MUKAMA kye yali tagenda kusonyiwa. 5 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 6 Awo Yekoyakimu n’afa, mutabani we Yekoyakini n’amusikira okuba kabaka. 7 Kabaka w’e Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka w’e Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gw’Omugga ogw’e Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati. 8 Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani ow’e Yerusaalemi. 9 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, nga kitaawe bwe yakola. 10 Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne lirumba ekibuga ky’e Yerusaalemi, ne kizingizibwa. 11 Nebukadduneeza yennyini n’ajja mu kibuga, ng’eggye lye likyakizingizza. 12 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe. 13 Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza n’atwala eby’obugagga byonna okuva mu yeekaalu ya MUKAMA, n’okuva mu lubiri lwa kabaka, era n’atemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ng’abitadde mu yeekaalu ya MUKAMA, nga MUKAMA bwe yalagira. 14 N’atwala Yerusaalemi kyonna, n’abakungu bonna, n’abasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna n’abaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ng’omutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka. 15 Nebukadduneeza n’atwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era n’atwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami abaali ab’ekitiibwa mu nsi. 16 Ate era yawamba abasajja ab’amaanyi kasanvu, ne baffundi n’abaweesi lukumi, bonna n’abatwala e Babulooni nga basibe. 17 Nebukadduneeza n’addira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, n’amufuula kabaka, era n’amukyusa n’erinnya n’amutuuma Zeddekiya. 18 Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 19 N’akola ebibi mu maaso ga MUKAMA, nga Yekoyakini bwe yakola. 20 Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olw’obusungu bwa MUKAMA obwababubuukirako, era n’oluvannyuma n’abagoba mu maaso ge.Naye oluvannyuma Zeddekiya y’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

In Other Versions

2 Kings 24 in the ANGEFD

2 Kings 24 in the ANTPNG2D

2 Kings 24 in the AS21

2 Kings 24 in the BAGH

2 Kings 24 in the BBPNG

2 Kings 24 in the BBT1E

2 Kings 24 in the BDS

2 Kings 24 in the BEV

2 Kings 24 in the BHAD

2 Kings 24 in the BIB

2 Kings 24 in the BLPT

2 Kings 24 in the BNT

2 Kings 24 in the BNTABOOT

2 Kings 24 in the BNTLV

2 Kings 24 in the BOATCB

2 Kings 24 in the BOATCB2

2 Kings 24 in the BOBCV

2 Kings 24 in the BOCNT

2 Kings 24 in the BOECS

2 Kings 24 in the BOGWICC

2 Kings 24 in the BOHCB

2 Kings 24 in the BOHCV

2 Kings 24 in the BOHLNT

2 Kings 24 in the BOHNTLTAL

2 Kings 24 in the BOICB

2 Kings 24 in the BOILNTAP

2 Kings 24 in the BOITCV

2 Kings 24 in the BOKCV

2 Kings 24 in the BOKCV2

2 Kings 24 in the BOKHWOG

2 Kings 24 in the BOKSSV

2 Kings 24 in the BOLCB2

2 Kings 24 in the BOMCV

2 Kings 24 in the BONAV

2 Kings 24 in the BONCB

2 Kings 24 in the BONLT

2 Kings 24 in the BONUT2

2 Kings 24 in the BOPLNT

2 Kings 24 in the BOSCB

2 Kings 24 in the BOSNC

2 Kings 24 in the BOTLNT

2 Kings 24 in the BOVCB

2 Kings 24 in the BOYCB

2 Kings 24 in the BPBB

2 Kings 24 in the BPH

2 Kings 24 in the BSB

2 Kings 24 in the CCB

2 Kings 24 in the CUV

2 Kings 24 in the CUVS

2 Kings 24 in the DBT

2 Kings 24 in the DGDNT

2 Kings 24 in the DHNT

2 Kings 24 in the DNT

2 Kings 24 in the ELBE

2 Kings 24 in the EMTV

2 Kings 24 in the ESV

2 Kings 24 in the FBV

2 Kings 24 in the FEB

2 Kings 24 in the GGMNT

2 Kings 24 in the GNT

2 Kings 24 in the HARY

2 Kings 24 in the HNT

2 Kings 24 in the IRVA

2 Kings 24 in the IRVB

2 Kings 24 in the IRVG

2 Kings 24 in the IRVH

2 Kings 24 in the IRVK

2 Kings 24 in the IRVM

2 Kings 24 in the IRVM2

2 Kings 24 in the IRVO

2 Kings 24 in the IRVP

2 Kings 24 in the IRVT

2 Kings 24 in the IRVT2

2 Kings 24 in the IRVU

2 Kings 24 in the ISVN

2 Kings 24 in the JSNT

2 Kings 24 in the KAPI

2 Kings 24 in the KBT1ETNIK

2 Kings 24 in the KBV

2 Kings 24 in the KJV

2 Kings 24 in the KNFD

2 Kings 24 in the LBA

2 Kings 24 in the LBLA

2 Kings 24 in the LNT

2 Kings 24 in the LSV

2 Kings 24 in the MAAL

2 Kings 24 in the MBV

2 Kings 24 in the MBV2

2 Kings 24 in the MHNT

2 Kings 24 in the MKNFD

2 Kings 24 in the MNG

2 Kings 24 in the MNT

2 Kings 24 in the MNT2

2 Kings 24 in the MRS1T

2 Kings 24 in the NAA

2 Kings 24 in the NASB

2 Kings 24 in the NBLA

2 Kings 24 in the NBS

2 Kings 24 in the NBVTP

2 Kings 24 in the NET2

2 Kings 24 in the NIV11

2 Kings 24 in the NNT

2 Kings 24 in the NNT2

2 Kings 24 in the NNT3

2 Kings 24 in the PDDPT

2 Kings 24 in the PFNT

2 Kings 24 in the RMNT

2 Kings 24 in the SBIAS

2 Kings 24 in the SBIBS

2 Kings 24 in the SBIBS2

2 Kings 24 in the SBICS

2 Kings 24 in the SBIDS

2 Kings 24 in the SBIGS

2 Kings 24 in the SBIHS

2 Kings 24 in the SBIIS

2 Kings 24 in the SBIIS2

2 Kings 24 in the SBIIS3

2 Kings 24 in the SBIKS

2 Kings 24 in the SBIKS2

2 Kings 24 in the SBIMS

2 Kings 24 in the SBIOS

2 Kings 24 in the SBIPS

2 Kings 24 in the SBISS

2 Kings 24 in the SBITS

2 Kings 24 in the SBITS2

2 Kings 24 in the SBITS3

2 Kings 24 in the SBITS4

2 Kings 24 in the SBIUS

2 Kings 24 in the SBIVS

2 Kings 24 in the SBT

2 Kings 24 in the SBT1E

2 Kings 24 in the SCHL

2 Kings 24 in the SNT

2 Kings 24 in the SUSU

2 Kings 24 in the SUSU2

2 Kings 24 in the SYNO

2 Kings 24 in the TBIAOTANT

2 Kings 24 in the TBT1E

2 Kings 24 in the TBT1E2

2 Kings 24 in the TFTIP

2 Kings 24 in the TFTU

2 Kings 24 in the TGNTATF3T

2 Kings 24 in the THAI

2 Kings 24 in the TNFD

2 Kings 24 in the TNT

2 Kings 24 in the TNTIK

2 Kings 24 in the TNTIL

2 Kings 24 in the TNTIN

2 Kings 24 in the TNTIP

2 Kings 24 in the TNTIZ

2 Kings 24 in the TOMA

2 Kings 24 in the TTENT

2 Kings 24 in the UBG

2 Kings 24 in the UGV

2 Kings 24 in the UGV2

2 Kings 24 in the UGV3

2 Kings 24 in the VBL

2 Kings 24 in the VDCC

2 Kings 24 in the YALU

2 Kings 24 in the YAPE

2 Kings 24 in the YBVTP

2 Kings 24 in the ZBP