2 Samuel 1 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. 2 Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa. 3 Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” 4 Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” 5 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?” 6 Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. 7 Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’ 8 “N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’ 9 “N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’ 10 “Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.” 11 Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya MUKAMA, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14 Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu MUKAMA gwe yafukako amafuta?” 15 Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16 Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo MUKAMA gwe yafukako amafuta.’ ” 17 Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti, 19 “Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!Ab’amaanyi nga bagudde! 20 “Temukyogeranga mu Gaasi,temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza. 21 “Mmwe ensozi za Girubowa,muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.Kubanga eyo engabo ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwan’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta. 22 Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabegan’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,n’amasavu g’ab’amaanyi. 23 “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,ne mu kufa tebaayawukana.Baali bangu okusinga empungu,era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma. 24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,mukaabire Sawulo,eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu. 25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe. 26 Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,kubanga wali mukwano gwange ddala.Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala. 27 “Ab’amaanyi nga bagudde,n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

In Other Versions

2 Samuel 1 in the ANGEFD

2 Samuel 1 in the ANTPNG2D

2 Samuel 1 in the AS21

2 Samuel 1 in the BAGH

2 Samuel 1 in the BBPNG

2 Samuel 1 in the BBT1E

2 Samuel 1 in the BDS

2 Samuel 1 in the BEV

2 Samuel 1 in the BHAD

2 Samuel 1 in the BIB

2 Samuel 1 in the BLPT

2 Samuel 1 in the BNT

2 Samuel 1 in the BNTABOOT

2 Samuel 1 in the BNTLV

2 Samuel 1 in the BOATCB

2 Samuel 1 in the BOATCB2

2 Samuel 1 in the BOBCV

2 Samuel 1 in the BOCNT

2 Samuel 1 in the BOECS

2 Samuel 1 in the BOGWICC

2 Samuel 1 in the BOHCB

2 Samuel 1 in the BOHCV

2 Samuel 1 in the BOHLNT

2 Samuel 1 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 1 in the BOICB

2 Samuel 1 in the BOILNTAP

2 Samuel 1 in the BOITCV

2 Samuel 1 in the BOKCV

2 Samuel 1 in the BOKCV2

2 Samuel 1 in the BOKHWOG

2 Samuel 1 in the BOKSSV

2 Samuel 1 in the BOLCB2

2 Samuel 1 in the BOMCV

2 Samuel 1 in the BONAV

2 Samuel 1 in the BONCB

2 Samuel 1 in the BONLT

2 Samuel 1 in the BONUT2

2 Samuel 1 in the BOPLNT

2 Samuel 1 in the BOSCB

2 Samuel 1 in the BOSNC

2 Samuel 1 in the BOTLNT

2 Samuel 1 in the BOVCB

2 Samuel 1 in the BOYCB

2 Samuel 1 in the BPBB

2 Samuel 1 in the BPH

2 Samuel 1 in the BSB

2 Samuel 1 in the CCB

2 Samuel 1 in the CUV

2 Samuel 1 in the CUVS

2 Samuel 1 in the DBT

2 Samuel 1 in the DGDNT

2 Samuel 1 in the DHNT

2 Samuel 1 in the DNT

2 Samuel 1 in the ELBE

2 Samuel 1 in the EMTV

2 Samuel 1 in the ESV

2 Samuel 1 in the FBV

2 Samuel 1 in the FEB

2 Samuel 1 in the GGMNT

2 Samuel 1 in the GNT

2 Samuel 1 in the HARY

2 Samuel 1 in the HNT

2 Samuel 1 in the IRVA

2 Samuel 1 in the IRVB

2 Samuel 1 in the IRVG

2 Samuel 1 in the IRVH

2 Samuel 1 in the IRVK

2 Samuel 1 in the IRVM

2 Samuel 1 in the IRVM2

2 Samuel 1 in the IRVO

2 Samuel 1 in the IRVP

2 Samuel 1 in the IRVT

2 Samuel 1 in the IRVT2

2 Samuel 1 in the IRVU

2 Samuel 1 in the ISVN

2 Samuel 1 in the JSNT

2 Samuel 1 in the KAPI

2 Samuel 1 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 1 in the KBV

2 Samuel 1 in the KJV

2 Samuel 1 in the KNFD

2 Samuel 1 in the LBA

2 Samuel 1 in the LBLA

2 Samuel 1 in the LNT

2 Samuel 1 in the LSV

2 Samuel 1 in the MAAL

2 Samuel 1 in the MBV

2 Samuel 1 in the MBV2

2 Samuel 1 in the MHNT

2 Samuel 1 in the MKNFD

2 Samuel 1 in the MNG

2 Samuel 1 in the MNT

2 Samuel 1 in the MNT2

2 Samuel 1 in the MRS1T

2 Samuel 1 in the NAA

2 Samuel 1 in the NASB

2 Samuel 1 in the NBLA

2 Samuel 1 in the NBS

2 Samuel 1 in the NBVTP

2 Samuel 1 in the NET2

2 Samuel 1 in the NIV11

2 Samuel 1 in the NNT

2 Samuel 1 in the NNT2

2 Samuel 1 in the NNT3

2 Samuel 1 in the PDDPT

2 Samuel 1 in the PFNT

2 Samuel 1 in the RMNT

2 Samuel 1 in the SBIAS

2 Samuel 1 in the SBIBS

2 Samuel 1 in the SBIBS2

2 Samuel 1 in the SBICS

2 Samuel 1 in the SBIDS

2 Samuel 1 in the SBIGS

2 Samuel 1 in the SBIHS

2 Samuel 1 in the SBIIS

2 Samuel 1 in the SBIIS2

2 Samuel 1 in the SBIIS3

2 Samuel 1 in the SBIKS

2 Samuel 1 in the SBIKS2

2 Samuel 1 in the SBIMS

2 Samuel 1 in the SBIOS

2 Samuel 1 in the SBIPS

2 Samuel 1 in the SBISS

2 Samuel 1 in the SBITS

2 Samuel 1 in the SBITS2

2 Samuel 1 in the SBITS3

2 Samuel 1 in the SBITS4

2 Samuel 1 in the SBIUS

2 Samuel 1 in the SBIVS

2 Samuel 1 in the SBT

2 Samuel 1 in the SBT1E

2 Samuel 1 in the SCHL

2 Samuel 1 in the SNT

2 Samuel 1 in the SUSU

2 Samuel 1 in the SUSU2

2 Samuel 1 in the SYNO

2 Samuel 1 in the TBIAOTANT

2 Samuel 1 in the TBT1E

2 Samuel 1 in the TBT1E2

2 Samuel 1 in the TFTIP

2 Samuel 1 in the TFTU

2 Samuel 1 in the TGNTATF3T

2 Samuel 1 in the THAI

2 Samuel 1 in the TNFD

2 Samuel 1 in the TNT

2 Samuel 1 in the TNTIK

2 Samuel 1 in the TNTIL

2 Samuel 1 in the TNTIN

2 Samuel 1 in the TNTIP

2 Samuel 1 in the TNTIZ

2 Samuel 1 in the TOMA

2 Samuel 1 in the TTENT

2 Samuel 1 in the UBG

2 Samuel 1 in the UGV

2 Samuel 1 in the UGV2

2 Samuel 1 in the UGV3

2 Samuel 1 in the VBL

2 Samuel 1 in the VDCC

2 Samuel 1 in the YALU

2 Samuel 1 in the YAPE

2 Samuel 1 in the YBVTP

2 Samuel 1 in the ZBP