Acts 9 (BOLCB)

1 Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 2 n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 3 Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4 N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?” 5 Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 6 Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.” 7 Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8 Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9 N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna. 10 Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.” 11 Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.” 13 Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!” 15 Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange. 17 Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako. 20 Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo. 23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero. 26 Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso. 31 Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga. 32 Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33 Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 34 Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 35 Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula. 36 Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 37 Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa. 39 N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde. 40 Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41 Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42 Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 43 Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.

In Other Versions

Acts 9 in the ANGEFD

Acts 9 in the ANTPNG2D

Acts 9 in the AS21

Acts 9 in the BAGH

Acts 9 in the BBPNG

Acts 9 in the BBT1E

Acts 9 in the BDS

Acts 9 in the BEV

Acts 9 in the BHAD

Acts 9 in the BIB

Acts 9 in the BLPT

Acts 9 in the BNT

Acts 9 in the BNTABOOT

Acts 9 in the BNTLV

Acts 9 in the BOATCB

Acts 9 in the BOATCB2

Acts 9 in the BOBCV

Acts 9 in the BOCNT

Acts 9 in the BOECS

Acts 9 in the BOGWICC

Acts 9 in the BOHCB

Acts 9 in the BOHCV

Acts 9 in the BOHLNT

Acts 9 in the BOHNTLTAL

Acts 9 in the BOICB

Acts 9 in the BOILNTAP

Acts 9 in the BOITCV

Acts 9 in the BOKCV

Acts 9 in the BOKCV2

Acts 9 in the BOKHWOG

Acts 9 in the BOKSSV

Acts 9 in the BOLCB2

Acts 9 in the BOMCV

Acts 9 in the BONAV

Acts 9 in the BONCB

Acts 9 in the BONLT

Acts 9 in the BONUT2

Acts 9 in the BOPLNT

Acts 9 in the BOSCB

Acts 9 in the BOSNC

Acts 9 in the BOTLNT

Acts 9 in the BOVCB

Acts 9 in the BOYCB

Acts 9 in the BPBB

Acts 9 in the BPH

Acts 9 in the BSB

Acts 9 in the CCB

Acts 9 in the CUV

Acts 9 in the CUVS

Acts 9 in the DBT

Acts 9 in the DGDNT

Acts 9 in the DHNT

Acts 9 in the DNT

Acts 9 in the ELBE

Acts 9 in the EMTV

Acts 9 in the ESV

Acts 9 in the FBV

Acts 9 in the FEB

Acts 9 in the GGMNT

Acts 9 in the GNT

Acts 9 in the HARY

Acts 9 in the HNT

Acts 9 in the IRVA

Acts 9 in the IRVB

Acts 9 in the IRVG

Acts 9 in the IRVH

Acts 9 in the IRVK

Acts 9 in the IRVM

Acts 9 in the IRVM2

Acts 9 in the IRVO

Acts 9 in the IRVP

Acts 9 in the IRVT

Acts 9 in the IRVT2

Acts 9 in the IRVU

Acts 9 in the ISVN

Acts 9 in the JSNT

Acts 9 in the KAPI

Acts 9 in the KBT1ETNIK

Acts 9 in the KBV

Acts 9 in the KJV

Acts 9 in the KNFD

Acts 9 in the LBA

Acts 9 in the LBLA

Acts 9 in the LNT

Acts 9 in the LSV

Acts 9 in the MAAL

Acts 9 in the MBV

Acts 9 in the MBV2

Acts 9 in the MHNT

Acts 9 in the MKNFD

Acts 9 in the MNG

Acts 9 in the MNT

Acts 9 in the MNT2

Acts 9 in the MRS1T

Acts 9 in the NAA

Acts 9 in the NASB

Acts 9 in the NBLA

Acts 9 in the NBS

Acts 9 in the NBVTP

Acts 9 in the NET2

Acts 9 in the NIV11

Acts 9 in the NNT

Acts 9 in the NNT2

Acts 9 in the NNT3

Acts 9 in the PDDPT

Acts 9 in the PFNT

Acts 9 in the RMNT

Acts 9 in the SBIAS

Acts 9 in the SBIBS

Acts 9 in the SBIBS2

Acts 9 in the SBICS

Acts 9 in the SBIDS

Acts 9 in the SBIGS

Acts 9 in the SBIHS

Acts 9 in the SBIIS

Acts 9 in the SBIIS2

Acts 9 in the SBIIS3

Acts 9 in the SBIKS

Acts 9 in the SBIKS2

Acts 9 in the SBIMS

Acts 9 in the SBIOS

Acts 9 in the SBIPS

Acts 9 in the SBISS

Acts 9 in the SBITS

Acts 9 in the SBITS2

Acts 9 in the SBITS3

Acts 9 in the SBITS4

Acts 9 in the SBIUS

Acts 9 in the SBIVS

Acts 9 in the SBT

Acts 9 in the SBT1E

Acts 9 in the SCHL

Acts 9 in the SNT

Acts 9 in the SUSU

Acts 9 in the SUSU2

Acts 9 in the SYNO

Acts 9 in the TBIAOTANT

Acts 9 in the TBT1E

Acts 9 in the TBT1E2

Acts 9 in the TFTIP

Acts 9 in the TFTU

Acts 9 in the TGNTATF3T

Acts 9 in the THAI

Acts 9 in the TNFD

Acts 9 in the TNT

Acts 9 in the TNTIK

Acts 9 in the TNTIL

Acts 9 in the TNTIN

Acts 9 in the TNTIP

Acts 9 in the TNTIZ

Acts 9 in the TOMA

Acts 9 in the TTENT

Acts 9 in the UBG

Acts 9 in the UGV

Acts 9 in the UGV2

Acts 9 in the UGV3

Acts 9 in the VBL

Acts 9 in the VDCC

Acts 9 in the YALU

Acts 9 in the YAPE

Acts 9 in the YBVTP

Acts 9 in the ZBP