Daniel 10 (BOLCB)

1 Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo. 2 Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. 3 Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu. 4 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi, 5 ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato. 6 Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene. 7 Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka. 8 Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola. 9 Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka. 10 Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira. 11 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana. 12 N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo. 13 Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo. 14 Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.” 15 Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. 16 Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 17 Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.” 18 Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi. 19 N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.” 20 N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja. 21 Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.

In Other Versions

Daniel 10 in the ANGEFD

Daniel 10 in the ANTPNG2D

Daniel 10 in the AS21

Daniel 10 in the BAGH

Daniel 10 in the BBPNG

Daniel 10 in the BBT1E

Daniel 10 in the BDS

Daniel 10 in the BEV

Daniel 10 in the BHAD

Daniel 10 in the BIB

Daniel 10 in the BLPT

Daniel 10 in the BNT

Daniel 10 in the BNTABOOT

Daniel 10 in the BNTLV

Daniel 10 in the BOATCB

Daniel 10 in the BOATCB2

Daniel 10 in the BOBCV

Daniel 10 in the BOCNT

Daniel 10 in the BOECS

Daniel 10 in the BOGWICC

Daniel 10 in the BOHCB

Daniel 10 in the BOHCV

Daniel 10 in the BOHLNT

Daniel 10 in the BOHNTLTAL

Daniel 10 in the BOICB

Daniel 10 in the BOILNTAP

Daniel 10 in the BOITCV

Daniel 10 in the BOKCV

Daniel 10 in the BOKCV2

Daniel 10 in the BOKHWOG

Daniel 10 in the BOKSSV

Daniel 10 in the BOLCB2

Daniel 10 in the BOMCV

Daniel 10 in the BONAV

Daniel 10 in the BONCB

Daniel 10 in the BONLT

Daniel 10 in the BONUT2

Daniel 10 in the BOPLNT

Daniel 10 in the BOSCB

Daniel 10 in the BOSNC

Daniel 10 in the BOTLNT

Daniel 10 in the BOVCB

Daniel 10 in the BOYCB

Daniel 10 in the BPBB

Daniel 10 in the BPH

Daniel 10 in the BSB

Daniel 10 in the CCB

Daniel 10 in the CUV

Daniel 10 in the CUVS

Daniel 10 in the DBT

Daniel 10 in the DGDNT

Daniel 10 in the DHNT

Daniel 10 in the DNT

Daniel 10 in the ELBE

Daniel 10 in the EMTV

Daniel 10 in the ESV

Daniel 10 in the FBV

Daniel 10 in the FEB

Daniel 10 in the GGMNT

Daniel 10 in the GNT

Daniel 10 in the HARY

Daniel 10 in the HNT

Daniel 10 in the IRVA

Daniel 10 in the IRVB

Daniel 10 in the IRVG

Daniel 10 in the IRVH

Daniel 10 in the IRVK

Daniel 10 in the IRVM

Daniel 10 in the IRVM2

Daniel 10 in the IRVO

Daniel 10 in the IRVP

Daniel 10 in the IRVT

Daniel 10 in the IRVT2

Daniel 10 in the IRVU

Daniel 10 in the ISVN

Daniel 10 in the JSNT

Daniel 10 in the KAPI

Daniel 10 in the KBT1ETNIK

Daniel 10 in the KBV

Daniel 10 in the KJV

Daniel 10 in the KNFD

Daniel 10 in the LBA

Daniel 10 in the LBLA

Daniel 10 in the LNT

Daniel 10 in the LSV

Daniel 10 in the MAAL

Daniel 10 in the MBV

Daniel 10 in the MBV2

Daniel 10 in the MHNT

Daniel 10 in the MKNFD

Daniel 10 in the MNG

Daniel 10 in the MNT

Daniel 10 in the MNT2

Daniel 10 in the MRS1T

Daniel 10 in the NAA

Daniel 10 in the NASB

Daniel 10 in the NBLA

Daniel 10 in the NBS

Daniel 10 in the NBVTP

Daniel 10 in the NET2

Daniel 10 in the NIV11

Daniel 10 in the NNT

Daniel 10 in the NNT2

Daniel 10 in the NNT3

Daniel 10 in the PDDPT

Daniel 10 in the PFNT

Daniel 10 in the RMNT

Daniel 10 in the SBIAS

Daniel 10 in the SBIBS

Daniel 10 in the SBIBS2

Daniel 10 in the SBICS

Daniel 10 in the SBIDS

Daniel 10 in the SBIGS

Daniel 10 in the SBIHS

Daniel 10 in the SBIIS

Daniel 10 in the SBIIS2

Daniel 10 in the SBIIS3

Daniel 10 in the SBIKS

Daniel 10 in the SBIKS2

Daniel 10 in the SBIMS

Daniel 10 in the SBIOS

Daniel 10 in the SBIPS

Daniel 10 in the SBISS

Daniel 10 in the SBITS

Daniel 10 in the SBITS2

Daniel 10 in the SBITS3

Daniel 10 in the SBITS4

Daniel 10 in the SBIUS

Daniel 10 in the SBIVS

Daniel 10 in the SBT

Daniel 10 in the SBT1E

Daniel 10 in the SCHL

Daniel 10 in the SNT

Daniel 10 in the SUSU

Daniel 10 in the SUSU2

Daniel 10 in the SYNO

Daniel 10 in the TBIAOTANT

Daniel 10 in the TBT1E

Daniel 10 in the TBT1E2

Daniel 10 in the TFTIP

Daniel 10 in the TFTU

Daniel 10 in the TGNTATF3T

Daniel 10 in the THAI

Daniel 10 in the TNFD

Daniel 10 in the TNT

Daniel 10 in the TNTIK

Daniel 10 in the TNTIL

Daniel 10 in the TNTIN

Daniel 10 in the TNTIP

Daniel 10 in the TNTIZ

Daniel 10 in the TOMA

Daniel 10 in the TTENT

Daniel 10 in the UBG

Daniel 10 in the UGV

Daniel 10 in the UGV2

Daniel 10 in the UGV3

Daniel 10 in the VBL

Daniel 10 in the VDCC

Daniel 10 in the YALU

Daniel 10 in the YAPE

Daniel 10 in the YBVTP

Daniel 10 in the ZBP