Deuteronomy 14 (BOLCB)
1 Muli baana ba MUKAMA Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa, 2 kubanga oli ggwanga ttukuvu eri MUKAMA Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, MUKAMA ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira. 3 Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo. 4 Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi, 5 enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko. 6 Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu. 7 Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli. 8 Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo. 9 Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba. 10 Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli. 11 Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga. 12 Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi, 13 wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, 14 namuŋŋoona owa buli ngeri; 15 ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo, 16 ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu; 17 n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo; 18 ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira. 19 Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga. 20 Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya. 21 Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri MUKAMA Katonda wo.Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako. 22 Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi. 23 Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga MUKAMA Katonda wo bulijjo. 24 Naye MUKAMA ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo, 25 kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo MUKAMA Katonda wo kye yeerondera. 26 Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga MUKAMA Katonda wo nga musanyuka. 27 Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe. 28 Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo. 29 Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo MUKAMA Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.
In Other Versions
Deuteronomy 14 in the ANGEFD
Deuteronomy 14 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 14 in the AS21
Deuteronomy 14 in the BAGH
Deuteronomy 14 in the BBPNG
Deuteronomy 14 in the BBT1E
Deuteronomy 14 in the BDS
Deuteronomy 14 in the BEV
Deuteronomy 14 in the BHAD
Deuteronomy 14 in the BIB
Deuteronomy 14 in the BLPT
Deuteronomy 14 in the BNT
Deuteronomy 14 in the BNTABOOT
Deuteronomy 14 in the BNTLV
Deuteronomy 14 in the BOATCB
Deuteronomy 14 in the BOATCB2
Deuteronomy 14 in the BOBCV
Deuteronomy 14 in the BOCNT
Deuteronomy 14 in the BOECS
Deuteronomy 14 in the BOGWICC
Deuteronomy 14 in the BOHCB
Deuteronomy 14 in the BOHCV
Deuteronomy 14 in the BOHLNT
Deuteronomy 14 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 14 in the BOICB
Deuteronomy 14 in the BOILNTAP
Deuteronomy 14 in the BOITCV
Deuteronomy 14 in the BOKCV
Deuteronomy 14 in the BOKCV2
Deuteronomy 14 in the BOKHWOG
Deuteronomy 14 in the BOKSSV
Deuteronomy 14 in the BOLCB2
Deuteronomy 14 in the BOMCV
Deuteronomy 14 in the BONAV
Deuteronomy 14 in the BONCB
Deuteronomy 14 in the BONLT
Deuteronomy 14 in the BONUT2
Deuteronomy 14 in the BOPLNT
Deuteronomy 14 in the BOSCB
Deuteronomy 14 in the BOSNC
Deuteronomy 14 in the BOTLNT
Deuteronomy 14 in the BOVCB
Deuteronomy 14 in the BOYCB
Deuteronomy 14 in the BPBB
Deuteronomy 14 in the BPH
Deuteronomy 14 in the BSB
Deuteronomy 14 in the CCB
Deuteronomy 14 in the CUV
Deuteronomy 14 in the CUVS
Deuteronomy 14 in the DBT
Deuteronomy 14 in the DGDNT
Deuteronomy 14 in the DHNT
Deuteronomy 14 in the DNT
Deuteronomy 14 in the ELBE
Deuteronomy 14 in the EMTV
Deuteronomy 14 in the ESV
Deuteronomy 14 in the FBV
Deuteronomy 14 in the FEB
Deuteronomy 14 in the GGMNT
Deuteronomy 14 in the GNT
Deuteronomy 14 in the HARY
Deuteronomy 14 in the HNT
Deuteronomy 14 in the IRVA
Deuteronomy 14 in the IRVB
Deuteronomy 14 in the IRVG
Deuteronomy 14 in the IRVH
Deuteronomy 14 in the IRVK
Deuteronomy 14 in the IRVM
Deuteronomy 14 in the IRVM2
Deuteronomy 14 in the IRVO
Deuteronomy 14 in the IRVP
Deuteronomy 14 in the IRVT
Deuteronomy 14 in the IRVT2
Deuteronomy 14 in the IRVU
Deuteronomy 14 in the ISVN
Deuteronomy 14 in the JSNT
Deuteronomy 14 in the KAPI
Deuteronomy 14 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 14 in the KBV
Deuteronomy 14 in the KJV
Deuteronomy 14 in the KNFD
Deuteronomy 14 in the LBA
Deuteronomy 14 in the LBLA
Deuteronomy 14 in the LNT
Deuteronomy 14 in the LSV
Deuteronomy 14 in the MAAL
Deuteronomy 14 in the MBV
Deuteronomy 14 in the MBV2
Deuteronomy 14 in the MHNT
Deuteronomy 14 in the MKNFD
Deuteronomy 14 in the MNG
Deuteronomy 14 in the MNT
Deuteronomy 14 in the MNT2
Deuteronomy 14 in the MRS1T
Deuteronomy 14 in the NAA
Deuteronomy 14 in the NASB
Deuteronomy 14 in the NBLA
Deuteronomy 14 in the NBS
Deuteronomy 14 in the NBVTP
Deuteronomy 14 in the NET2
Deuteronomy 14 in the NIV11
Deuteronomy 14 in the NNT
Deuteronomy 14 in the NNT2
Deuteronomy 14 in the NNT3
Deuteronomy 14 in the PDDPT
Deuteronomy 14 in the PFNT
Deuteronomy 14 in the RMNT
Deuteronomy 14 in the SBIAS
Deuteronomy 14 in the SBIBS
Deuteronomy 14 in the SBIBS2
Deuteronomy 14 in the SBICS
Deuteronomy 14 in the SBIDS
Deuteronomy 14 in the SBIGS
Deuteronomy 14 in the SBIHS
Deuteronomy 14 in the SBIIS
Deuteronomy 14 in the SBIIS2
Deuteronomy 14 in the SBIIS3
Deuteronomy 14 in the SBIKS
Deuteronomy 14 in the SBIKS2
Deuteronomy 14 in the SBIMS
Deuteronomy 14 in the SBIOS
Deuteronomy 14 in the SBIPS
Deuteronomy 14 in the SBISS
Deuteronomy 14 in the SBITS
Deuteronomy 14 in the SBITS2
Deuteronomy 14 in the SBITS3
Deuteronomy 14 in the SBITS4
Deuteronomy 14 in the SBIUS
Deuteronomy 14 in the SBIVS
Deuteronomy 14 in the SBT
Deuteronomy 14 in the SBT1E
Deuteronomy 14 in the SCHL
Deuteronomy 14 in the SNT
Deuteronomy 14 in the SUSU
Deuteronomy 14 in the SUSU2
Deuteronomy 14 in the SYNO
Deuteronomy 14 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 14 in the TBT1E
Deuteronomy 14 in the TBT1E2
Deuteronomy 14 in the TFTIP
Deuteronomy 14 in the TFTU
Deuteronomy 14 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 14 in the THAI
Deuteronomy 14 in the TNFD
Deuteronomy 14 in the TNT
Deuteronomy 14 in the TNTIK
Deuteronomy 14 in the TNTIL
Deuteronomy 14 in the TNTIN
Deuteronomy 14 in the TNTIP
Deuteronomy 14 in the TNTIZ
Deuteronomy 14 in the TOMA
Deuteronomy 14 in the TTENT
Deuteronomy 14 in the UBG
Deuteronomy 14 in the UGV
Deuteronomy 14 in the UGV2
Deuteronomy 14 in the UGV3
Deuteronomy 14 in the VBL
Deuteronomy 14 in the VDCC
Deuteronomy 14 in the YALU
Deuteronomy 14 in the YAPE
Deuteronomy 14 in the YBVTP
Deuteronomy 14 in the ZBP