Deuteronomy 15 (BOLCB)
1 Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. 2 Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro MUKAMA by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. 3 Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule, naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga. 4 Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, 5 kasita onoogonderanga ddala MUKAMA Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. 6 Kubanga MUKAMA Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga. 7 Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. 8 Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. 9 Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri MUKAMA n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 10 Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, MUKAMA Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 11 Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo. 12 Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. 13 Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. 14 Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga MUKAMA Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. 15 Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, MUKAMA Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero. 16 Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; 17 kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo. 18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, MUKAMA Katonda wo anaakuwanga omukisa. 19 Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya MUKAMA Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. 20 Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo, mu kifo MUKAMA ky’anaabanga yeerondedde. 21 Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri MUKAMA Katonda wo. 22 Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. 23 Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.
In Other Versions
Deuteronomy 15 in the ANGEFD
Deuteronomy 15 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 15 in the AS21
Deuteronomy 15 in the BAGH
Deuteronomy 15 in the BBPNG
Deuteronomy 15 in the BBT1E
Deuteronomy 15 in the BDS
Deuteronomy 15 in the BEV
Deuteronomy 15 in the BHAD
Deuteronomy 15 in the BIB
Deuteronomy 15 in the BLPT
Deuteronomy 15 in the BNT
Deuteronomy 15 in the BNTABOOT
Deuteronomy 15 in the BNTLV
Deuteronomy 15 in the BOATCB
Deuteronomy 15 in the BOATCB2
Deuteronomy 15 in the BOBCV
Deuteronomy 15 in the BOCNT
Deuteronomy 15 in the BOECS
Deuteronomy 15 in the BOGWICC
Deuteronomy 15 in the BOHCB
Deuteronomy 15 in the BOHCV
Deuteronomy 15 in the BOHLNT
Deuteronomy 15 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 15 in the BOICB
Deuteronomy 15 in the BOILNTAP
Deuteronomy 15 in the BOITCV
Deuteronomy 15 in the BOKCV
Deuteronomy 15 in the BOKCV2
Deuteronomy 15 in the BOKHWOG
Deuteronomy 15 in the BOKSSV
Deuteronomy 15 in the BOLCB2
Deuteronomy 15 in the BOMCV
Deuteronomy 15 in the BONAV
Deuteronomy 15 in the BONCB
Deuteronomy 15 in the BONLT
Deuteronomy 15 in the BONUT2
Deuteronomy 15 in the BOPLNT
Deuteronomy 15 in the BOSCB
Deuteronomy 15 in the BOSNC
Deuteronomy 15 in the BOTLNT
Deuteronomy 15 in the BOVCB
Deuteronomy 15 in the BOYCB
Deuteronomy 15 in the BPBB
Deuteronomy 15 in the BPH
Deuteronomy 15 in the BSB
Deuteronomy 15 in the CCB
Deuteronomy 15 in the CUV
Deuteronomy 15 in the CUVS
Deuteronomy 15 in the DBT
Deuteronomy 15 in the DGDNT
Deuteronomy 15 in the DHNT
Deuteronomy 15 in the DNT
Deuteronomy 15 in the ELBE
Deuteronomy 15 in the EMTV
Deuteronomy 15 in the ESV
Deuteronomy 15 in the FBV
Deuteronomy 15 in the FEB
Deuteronomy 15 in the GGMNT
Deuteronomy 15 in the GNT
Deuteronomy 15 in the HARY
Deuteronomy 15 in the HNT
Deuteronomy 15 in the IRVA
Deuteronomy 15 in the IRVB
Deuteronomy 15 in the IRVG
Deuteronomy 15 in the IRVH
Deuteronomy 15 in the IRVK
Deuteronomy 15 in the IRVM
Deuteronomy 15 in the IRVM2
Deuteronomy 15 in the IRVO
Deuteronomy 15 in the IRVP
Deuteronomy 15 in the IRVT
Deuteronomy 15 in the IRVT2
Deuteronomy 15 in the IRVU
Deuteronomy 15 in the ISVN
Deuteronomy 15 in the JSNT
Deuteronomy 15 in the KAPI
Deuteronomy 15 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 15 in the KBV
Deuteronomy 15 in the KJV
Deuteronomy 15 in the KNFD
Deuteronomy 15 in the LBA
Deuteronomy 15 in the LBLA
Deuteronomy 15 in the LNT
Deuteronomy 15 in the LSV
Deuteronomy 15 in the MAAL
Deuteronomy 15 in the MBV
Deuteronomy 15 in the MBV2
Deuteronomy 15 in the MHNT
Deuteronomy 15 in the MKNFD
Deuteronomy 15 in the MNG
Deuteronomy 15 in the MNT
Deuteronomy 15 in the MNT2
Deuteronomy 15 in the MRS1T
Deuteronomy 15 in the NAA
Deuteronomy 15 in the NASB
Deuteronomy 15 in the NBLA
Deuteronomy 15 in the NBS
Deuteronomy 15 in the NBVTP
Deuteronomy 15 in the NET2
Deuteronomy 15 in the NIV11
Deuteronomy 15 in the NNT
Deuteronomy 15 in the NNT2
Deuteronomy 15 in the NNT3
Deuteronomy 15 in the PDDPT
Deuteronomy 15 in the PFNT
Deuteronomy 15 in the RMNT
Deuteronomy 15 in the SBIAS
Deuteronomy 15 in the SBIBS
Deuteronomy 15 in the SBIBS2
Deuteronomy 15 in the SBICS
Deuteronomy 15 in the SBIDS
Deuteronomy 15 in the SBIGS
Deuteronomy 15 in the SBIHS
Deuteronomy 15 in the SBIIS
Deuteronomy 15 in the SBIIS2
Deuteronomy 15 in the SBIIS3
Deuteronomy 15 in the SBIKS
Deuteronomy 15 in the SBIKS2
Deuteronomy 15 in the SBIMS
Deuteronomy 15 in the SBIOS
Deuteronomy 15 in the SBIPS
Deuteronomy 15 in the SBISS
Deuteronomy 15 in the SBITS
Deuteronomy 15 in the SBITS2
Deuteronomy 15 in the SBITS3
Deuteronomy 15 in the SBITS4
Deuteronomy 15 in the SBIUS
Deuteronomy 15 in the SBIVS
Deuteronomy 15 in the SBT
Deuteronomy 15 in the SBT1E
Deuteronomy 15 in the SCHL
Deuteronomy 15 in the SNT
Deuteronomy 15 in the SUSU
Deuteronomy 15 in the SUSU2
Deuteronomy 15 in the SYNO
Deuteronomy 15 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 15 in the TBT1E
Deuteronomy 15 in the TBT1E2
Deuteronomy 15 in the TFTIP
Deuteronomy 15 in the TFTU
Deuteronomy 15 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 15 in the THAI
Deuteronomy 15 in the TNFD
Deuteronomy 15 in the TNT
Deuteronomy 15 in the TNTIK
Deuteronomy 15 in the TNTIL
Deuteronomy 15 in the TNTIN
Deuteronomy 15 in the TNTIP
Deuteronomy 15 in the TNTIZ
Deuteronomy 15 in the TOMA
Deuteronomy 15 in the TTENT
Deuteronomy 15 in the UBG
Deuteronomy 15 in the UGV
Deuteronomy 15 in the UGV2
Deuteronomy 15 in the UGV3
Deuteronomy 15 in the VBL
Deuteronomy 15 in the VDCC
Deuteronomy 15 in the YALU
Deuteronomy 15 in the YAPE
Deuteronomy 15 in the YBVTP
Deuteronomy 15 in the ZBP