Deuteronomy 18 (BOLCB)
1 Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri MUKAMA Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. 2 Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga MUKAMA Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe. 3 Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. 4 Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. 5 Kubanga MUKAMA Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya MUKAMA emirembe n’emirembe. 6 Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo MUKAMA Katonda ky’aneeronderanga, 7 anaayinzanga okuweereza mu linnya lya MUKAMA Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya MUKAMA Katonda mu kifo ekyo. 8 Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze. 9 Bw’onooyingira mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 10 Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11 oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 12 Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri MUKAMA. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, MUKAMA Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. 13 Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga MUKAMA Katonda wo. 14 Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo MUKAMA Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola. 15 MUKAMA Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. 16 Kubanga ekyo kye wasaba MUKAMA Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya MUKAMA Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.” 17 MUKAMA Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. 18 Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. 19 Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. 20 Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.” 21 Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo MUKAMA Katonda si y’anaabanga abyogedde?” 22 Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya MUKAMA bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo MUKAMA Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.
In Other Versions
Deuteronomy 18 in the ANGEFD
Deuteronomy 18 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 18 in the AS21
Deuteronomy 18 in the BAGH
Deuteronomy 18 in the BBPNG
Deuteronomy 18 in the BBT1E
Deuteronomy 18 in the BDS
Deuteronomy 18 in the BEV
Deuteronomy 18 in the BHAD
Deuteronomy 18 in the BIB
Deuteronomy 18 in the BLPT
Deuteronomy 18 in the BNT
Deuteronomy 18 in the BNTABOOT
Deuteronomy 18 in the BNTLV
Deuteronomy 18 in the BOATCB
Deuteronomy 18 in the BOATCB2
Deuteronomy 18 in the BOBCV
Deuteronomy 18 in the BOCNT
Deuteronomy 18 in the BOECS
Deuteronomy 18 in the BOGWICC
Deuteronomy 18 in the BOHCB
Deuteronomy 18 in the BOHCV
Deuteronomy 18 in the BOHLNT
Deuteronomy 18 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 18 in the BOICB
Deuteronomy 18 in the BOILNTAP
Deuteronomy 18 in the BOITCV
Deuteronomy 18 in the BOKCV
Deuteronomy 18 in the BOKCV2
Deuteronomy 18 in the BOKHWOG
Deuteronomy 18 in the BOKSSV
Deuteronomy 18 in the BOLCB2
Deuteronomy 18 in the BOMCV
Deuteronomy 18 in the BONAV
Deuteronomy 18 in the BONCB
Deuteronomy 18 in the BONLT
Deuteronomy 18 in the BONUT2
Deuteronomy 18 in the BOPLNT
Deuteronomy 18 in the BOSCB
Deuteronomy 18 in the BOSNC
Deuteronomy 18 in the BOTLNT
Deuteronomy 18 in the BOVCB
Deuteronomy 18 in the BOYCB
Deuteronomy 18 in the BPBB
Deuteronomy 18 in the BPH
Deuteronomy 18 in the BSB
Deuteronomy 18 in the CCB
Deuteronomy 18 in the CUV
Deuteronomy 18 in the CUVS
Deuteronomy 18 in the DBT
Deuteronomy 18 in the DGDNT
Deuteronomy 18 in the DHNT
Deuteronomy 18 in the DNT
Deuteronomy 18 in the ELBE
Deuteronomy 18 in the EMTV
Deuteronomy 18 in the ESV
Deuteronomy 18 in the FBV
Deuteronomy 18 in the FEB
Deuteronomy 18 in the GGMNT
Deuteronomy 18 in the GNT
Deuteronomy 18 in the HARY
Deuteronomy 18 in the HNT
Deuteronomy 18 in the IRVA
Deuteronomy 18 in the IRVB
Deuteronomy 18 in the IRVG
Deuteronomy 18 in the IRVH
Deuteronomy 18 in the IRVK
Deuteronomy 18 in the IRVM
Deuteronomy 18 in the IRVM2
Deuteronomy 18 in the IRVO
Deuteronomy 18 in the IRVP
Deuteronomy 18 in the IRVT
Deuteronomy 18 in the IRVT2
Deuteronomy 18 in the IRVU
Deuteronomy 18 in the ISVN
Deuteronomy 18 in the JSNT
Deuteronomy 18 in the KAPI
Deuteronomy 18 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 18 in the KBV
Deuteronomy 18 in the KJV
Deuteronomy 18 in the KNFD
Deuteronomy 18 in the LBA
Deuteronomy 18 in the LBLA
Deuteronomy 18 in the LNT
Deuteronomy 18 in the LSV
Deuteronomy 18 in the MAAL
Deuteronomy 18 in the MBV
Deuteronomy 18 in the MBV2
Deuteronomy 18 in the MHNT
Deuteronomy 18 in the MKNFD
Deuteronomy 18 in the MNG
Deuteronomy 18 in the MNT
Deuteronomy 18 in the MNT2
Deuteronomy 18 in the MRS1T
Deuteronomy 18 in the NAA
Deuteronomy 18 in the NASB
Deuteronomy 18 in the NBLA
Deuteronomy 18 in the NBS
Deuteronomy 18 in the NBVTP
Deuteronomy 18 in the NET2
Deuteronomy 18 in the NIV11
Deuteronomy 18 in the NNT
Deuteronomy 18 in the NNT2
Deuteronomy 18 in the NNT3
Deuteronomy 18 in the PDDPT
Deuteronomy 18 in the PFNT
Deuteronomy 18 in the RMNT
Deuteronomy 18 in the SBIAS
Deuteronomy 18 in the SBIBS
Deuteronomy 18 in the SBIBS2
Deuteronomy 18 in the SBICS
Deuteronomy 18 in the SBIDS
Deuteronomy 18 in the SBIGS
Deuteronomy 18 in the SBIHS
Deuteronomy 18 in the SBIIS
Deuteronomy 18 in the SBIIS2
Deuteronomy 18 in the SBIIS3
Deuteronomy 18 in the SBIKS
Deuteronomy 18 in the SBIKS2
Deuteronomy 18 in the SBIMS
Deuteronomy 18 in the SBIOS
Deuteronomy 18 in the SBIPS
Deuteronomy 18 in the SBISS
Deuteronomy 18 in the SBITS
Deuteronomy 18 in the SBITS2
Deuteronomy 18 in the SBITS3
Deuteronomy 18 in the SBITS4
Deuteronomy 18 in the SBIUS
Deuteronomy 18 in the SBIVS
Deuteronomy 18 in the SBT
Deuteronomy 18 in the SBT1E
Deuteronomy 18 in the SCHL
Deuteronomy 18 in the SNT
Deuteronomy 18 in the SUSU
Deuteronomy 18 in the SUSU2
Deuteronomy 18 in the SYNO
Deuteronomy 18 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 18 in the TBT1E
Deuteronomy 18 in the TBT1E2
Deuteronomy 18 in the TFTIP
Deuteronomy 18 in the TFTU
Deuteronomy 18 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 18 in the THAI
Deuteronomy 18 in the TNFD
Deuteronomy 18 in the TNT
Deuteronomy 18 in the TNTIK
Deuteronomy 18 in the TNTIL
Deuteronomy 18 in the TNTIN
Deuteronomy 18 in the TNTIP
Deuteronomy 18 in the TNTIZ
Deuteronomy 18 in the TOMA
Deuteronomy 18 in the TTENT
Deuteronomy 18 in the UBG
Deuteronomy 18 in the UGV
Deuteronomy 18 in the UGV2
Deuteronomy 18 in the UGV3
Deuteronomy 18 in the VBL
Deuteronomy 18 in the VDCC
Deuteronomy 18 in the YALU
Deuteronomy 18 in the YAPE
Deuteronomy 18 in the YBVTP
Deuteronomy 18 in the ZBP