Deuteronomy 6 (BOLCB)
1 “Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, MUKAMA Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 2 Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga MUKAMA Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. 3 Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga MUKAMA Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. 4 “Wulira, Ayi Isirayiri: MUKAMA Katonda waffe ali omu. 5 Oyagalanga MUKAMA Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. 6 Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 7 Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. 8 Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. 9 Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo. 10 “MUKAMA Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira MUKAMA eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu. 13 “Otyanga MUKAMA Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. 14 Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; 15 kubanga MUKAMA Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. 16 Temugezesanga MUKAMA Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 17 Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro MUKAMA Katonda wammwe by’akuwadde. 18 Okolanga ebyo MUKAMA by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi MUKAMA gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga MUKAMA Katonda bwe yasuubiza. 20 “Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro MUKAMA Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye MUKAMA Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 MUKAMA Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 MUKAMA n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga MUKAMA Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 25 Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga MUKAMA Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
In Other Versions
Deuteronomy 6 in the ANGEFD
Deuteronomy 6 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 6 in the AS21
Deuteronomy 6 in the BAGH
Deuteronomy 6 in the BBPNG
Deuteronomy 6 in the BBT1E
Deuteronomy 6 in the BDS
Deuteronomy 6 in the BEV
Deuteronomy 6 in the BHAD
Deuteronomy 6 in the BIB
Deuteronomy 6 in the BLPT
Deuteronomy 6 in the BNT
Deuteronomy 6 in the BNTABOOT
Deuteronomy 6 in the BNTLV
Deuteronomy 6 in the BOATCB
Deuteronomy 6 in the BOATCB2
Deuteronomy 6 in the BOBCV
Deuteronomy 6 in the BOCNT
Deuteronomy 6 in the BOECS
Deuteronomy 6 in the BOGWICC
Deuteronomy 6 in the BOHCB
Deuteronomy 6 in the BOHCV
Deuteronomy 6 in the BOHLNT
Deuteronomy 6 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 6 in the BOICB
Deuteronomy 6 in the BOILNTAP
Deuteronomy 6 in the BOITCV
Deuteronomy 6 in the BOKCV
Deuteronomy 6 in the BOKCV2
Deuteronomy 6 in the BOKHWOG
Deuteronomy 6 in the BOKSSV
Deuteronomy 6 in the BOLCB2
Deuteronomy 6 in the BOMCV
Deuteronomy 6 in the BONAV
Deuteronomy 6 in the BONCB
Deuteronomy 6 in the BONLT
Deuteronomy 6 in the BONUT2
Deuteronomy 6 in the BOPLNT
Deuteronomy 6 in the BOSCB
Deuteronomy 6 in the BOSNC
Deuteronomy 6 in the BOTLNT
Deuteronomy 6 in the BOVCB
Deuteronomy 6 in the BOYCB
Deuteronomy 6 in the BPBB
Deuteronomy 6 in the BPH
Deuteronomy 6 in the BSB
Deuteronomy 6 in the CCB
Deuteronomy 6 in the CUV
Deuteronomy 6 in the CUVS
Deuteronomy 6 in the DBT
Deuteronomy 6 in the DGDNT
Deuteronomy 6 in the DHNT
Deuteronomy 6 in the DNT
Deuteronomy 6 in the ELBE
Deuteronomy 6 in the EMTV
Deuteronomy 6 in the ESV
Deuteronomy 6 in the FBV
Deuteronomy 6 in the FEB
Deuteronomy 6 in the GGMNT
Deuteronomy 6 in the GNT
Deuteronomy 6 in the HARY
Deuteronomy 6 in the HNT
Deuteronomy 6 in the IRVA
Deuteronomy 6 in the IRVB
Deuteronomy 6 in the IRVG
Deuteronomy 6 in the IRVH
Deuteronomy 6 in the IRVK
Deuteronomy 6 in the IRVM
Deuteronomy 6 in the IRVM2
Deuteronomy 6 in the IRVO
Deuteronomy 6 in the IRVP
Deuteronomy 6 in the IRVT
Deuteronomy 6 in the IRVT2
Deuteronomy 6 in the IRVU
Deuteronomy 6 in the ISVN
Deuteronomy 6 in the JSNT
Deuteronomy 6 in the KAPI
Deuteronomy 6 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 6 in the KBV
Deuteronomy 6 in the KJV
Deuteronomy 6 in the KNFD
Deuteronomy 6 in the LBA
Deuteronomy 6 in the LBLA
Deuteronomy 6 in the LNT
Deuteronomy 6 in the LSV
Deuteronomy 6 in the MAAL
Deuteronomy 6 in the MBV
Deuteronomy 6 in the MBV2
Deuteronomy 6 in the MHNT
Deuteronomy 6 in the MKNFD
Deuteronomy 6 in the MNG
Deuteronomy 6 in the MNT
Deuteronomy 6 in the MNT2
Deuteronomy 6 in the MRS1T
Deuteronomy 6 in the NAA
Deuteronomy 6 in the NASB
Deuteronomy 6 in the NBLA
Deuteronomy 6 in the NBS
Deuteronomy 6 in the NBVTP
Deuteronomy 6 in the NET2
Deuteronomy 6 in the NIV11
Deuteronomy 6 in the NNT
Deuteronomy 6 in the NNT2
Deuteronomy 6 in the NNT3
Deuteronomy 6 in the PDDPT
Deuteronomy 6 in the PFNT
Deuteronomy 6 in the RMNT
Deuteronomy 6 in the SBIAS
Deuteronomy 6 in the SBIBS
Deuteronomy 6 in the SBIBS2
Deuteronomy 6 in the SBICS
Deuteronomy 6 in the SBIDS
Deuteronomy 6 in the SBIGS
Deuteronomy 6 in the SBIHS
Deuteronomy 6 in the SBIIS
Deuteronomy 6 in the SBIIS2
Deuteronomy 6 in the SBIIS3
Deuteronomy 6 in the SBIKS
Deuteronomy 6 in the SBIKS2
Deuteronomy 6 in the SBIMS
Deuteronomy 6 in the SBIOS
Deuteronomy 6 in the SBIPS
Deuteronomy 6 in the SBISS
Deuteronomy 6 in the SBITS
Deuteronomy 6 in the SBITS2
Deuteronomy 6 in the SBITS3
Deuteronomy 6 in the SBITS4
Deuteronomy 6 in the SBIUS
Deuteronomy 6 in the SBIVS
Deuteronomy 6 in the SBT
Deuteronomy 6 in the SBT1E
Deuteronomy 6 in the SCHL
Deuteronomy 6 in the SNT
Deuteronomy 6 in the SUSU
Deuteronomy 6 in the SUSU2
Deuteronomy 6 in the SYNO
Deuteronomy 6 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 6 in the TBT1E
Deuteronomy 6 in the TBT1E2
Deuteronomy 6 in the TFTIP
Deuteronomy 6 in the TFTU
Deuteronomy 6 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 6 in the THAI
Deuteronomy 6 in the TNFD
Deuteronomy 6 in the TNT
Deuteronomy 6 in the TNTIK
Deuteronomy 6 in the TNTIL
Deuteronomy 6 in the TNTIN
Deuteronomy 6 in the TNTIP
Deuteronomy 6 in the TNTIZ
Deuteronomy 6 in the TOMA
Deuteronomy 6 in the TTENT
Deuteronomy 6 in the UBG
Deuteronomy 6 in the UGV
Deuteronomy 6 in the UGV2
Deuteronomy 6 in the UGV3
Deuteronomy 6 in the VBL
Deuteronomy 6 in the VDCC
Deuteronomy 6 in the YALU
Deuteronomy 6 in the YAPE
Deuteronomy 6 in the YBVTP
Deuteronomy 6 in the ZBP