Ecclesiastes 2 (BOLCB)

1 Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 2 Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 3 Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono. 4 Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5 Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6 Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7 Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 8 Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 9 Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi. 10 Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna. 11 Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,n’okutegana kwonna nga nkola,laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba. 12 Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,ne ku ddalu ne ku busirusiru,kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,okuggyako ekyo kabaka ky’akoze? 13 Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza. 14 Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.Kyokka ne ntegeeranga bombi akabi kabatuukako. 15 Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.Kale lwaki mbeera omugezi?”Era na kino ne nkizuulanga butaliimu. 16 Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa. 17 Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18 Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19 Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20 Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21 Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22 Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23 Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu. 24 Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25 kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26 Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

In Other Versions

Ecclesiastes 2 in the ANGEFD

Ecclesiastes 2 in the ANTPNG2D

Ecclesiastes 2 in the AS21

Ecclesiastes 2 in the BAGH

Ecclesiastes 2 in the BBPNG

Ecclesiastes 2 in the BBT1E

Ecclesiastes 2 in the BDS

Ecclesiastes 2 in the BEV

Ecclesiastes 2 in the BHAD

Ecclesiastes 2 in the BIB

Ecclesiastes 2 in the BLPT

Ecclesiastes 2 in the BNT

Ecclesiastes 2 in the BNTABOOT

Ecclesiastes 2 in the BNTLV

Ecclesiastes 2 in the BOATCB

Ecclesiastes 2 in the BOATCB2

Ecclesiastes 2 in the BOBCV

Ecclesiastes 2 in the BOCNT

Ecclesiastes 2 in the BOECS

Ecclesiastes 2 in the BOGWICC

Ecclesiastes 2 in the BOHCB

Ecclesiastes 2 in the BOHCV

Ecclesiastes 2 in the BOHLNT

Ecclesiastes 2 in the BOHNTLTAL

Ecclesiastes 2 in the BOICB

Ecclesiastes 2 in the BOILNTAP

Ecclesiastes 2 in the BOITCV

Ecclesiastes 2 in the BOKCV

Ecclesiastes 2 in the BOKCV2

Ecclesiastes 2 in the BOKHWOG

Ecclesiastes 2 in the BOKSSV

Ecclesiastes 2 in the BOLCB2

Ecclesiastes 2 in the BOMCV

Ecclesiastes 2 in the BONAV

Ecclesiastes 2 in the BONCB

Ecclesiastes 2 in the BONLT

Ecclesiastes 2 in the BONUT2

Ecclesiastes 2 in the BOPLNT

Ecclesiastes 2 in the BOSCB

Ecclesiastes 2 in the BOSNC

Ecclesiastes 2 in the BOTLNT

Ecclesiastes 2 in the BOVCB

Ecclesiastes 2 in the BOYCB

Ecclesiastes 2 in the BPBB

Ecclesiastes 2 in the BPH

Ecclesiastes 2 in the BSB

Ecclesiastes 2 in the CCB

Ecclesiastes 2 in the CUV

Ecclesiastes 2 in the CUVS

Ecclesiastes 2 in the DBT

Ecclesiastes 2 in the DGDNT

Ecclesiastes 2 in the DHNT

Ecclesiastes 2 in the DNT

Ecclesiastes 2 in the ELBE

Ecclesiastes 2 in the EMTV

Ecclesiastes 2 in the ESV

Ecclesiastes 2 in the FBV

Ecclesiastes 2 in the FEB

Ecclesiastes 2 in the GGMNT

Ecclesiastes 2 in the GNT

Ecclesiastes 2 in the HARY

Ecclesiastes 2 in the HNT

Ecclesiastes 2 in the IRVA

Ecclesiastes 2 in the IRVB

Ecclesiastes 2 in the IRVG

Ecclesiastes 2 in the IRVH

Ecclesiastes 2 in the IRVK

Ecclesiastes 2 in the IRVM

Ecclesiastes 2 in the IRVM2

Ecclesiastes 2 in the IRVO

Ecclesiastes 2 in the IRVP

Ecclesiastes 2 in the IRVT

Ecclesiastes 2 in the IRVT2

Ecclesiastes 2 in the IRVU

Ecclesiastes 2 in the ISVN

Ecclesiastes 2 in the JSNT

Ecclesiastes 2 in the KAPI

Ecclesiastes 2 in the KBT1ETNIK

Ecclesiastes 2 in the KBV

Ecclesiastes 2 in the KJV

Ecclesiastes 2 in the KNFD

Ecclesiastes 2 in the LBA

Ecclesiastes 2 in the LBLA

Ecclesiastes 2 in the LNT

Ecclesiastes 2 in the LSV

Ecclesiastes 2 in the MAAL

Ecclesiastes 2 in the MBV

Ecclesiastes 2 in the MBV2

Ecclesiastes 2 in the MHNT

Ecclesiastes 2 in the MKNFD

Ecclesiastes 2 in the MNG

Ecclesiastes 2 in the MNT

Ecclesiastes 2 in the MNT2

Ecclesiastes 2 in the MRS1T

Ecclesiastes 2 in the NAA

Ecclesiastes 2 in the NASB

Ecclesiastes 2 in the NBLA

Ecclesiastes 2 in the NBS

Ecclesiastes 2 in the NBVTP

Ecclesiastes 2 in the NET2

Ecclesiastes 2 in the NIV11

Ecclesiastes 2 in the NNT

Ecclesiastes 2 in the NNT2

Ecclesiastes 2 in the NNT3

Ecclesiastes 2 in the PDDPT

Ecclesiastes 2 in the PFNT

Ecclesiastes 2 in the RMNT

Ecclesiastes 2 in the SBIAS

Ecclesiastes 2 in the SBIBS

Ecclesiastes 2 in the SBIBS2

Ecclesiastes 2 in the SBICS

Ecclesiastes 2 in the SBIDS

Ecclesiastes 2 in the SBIGS

Ecclesiastes 2 in the SBIHS

Ecclesiastes 2 in the SBIIS

Ecclesiastes 2 in the SBIIS2

Ecclesiastes 2 in the SBIIS3

Ecclesiastes 2 in the SBIKS

Ecclesiastes 2 in the SBIKS2

Ecclesiastes 2 in the SBIMS

Ecclesiastes 2 in the SBIOS

Ecclesiastes 2 in the SBIPS

Ecclesiastes 2 in the SBISS

Ecclesiastes 2 in the SBITS

Ecclesiastes 2 in the SBITS2

Ecclesiastes 2 in the SBITS3

Ecclesiastes 2 in the SBITS4

Ecclesiastes 2 in the SBIUS

Ecclesiastes 2 in the SBIVS

Ecclesiastes 2 in the SBT

Ecclesiastes 2 in the SBT1E

Ecclesiastes 2 in the SCHL

Ecclesiastes 2 in the SNT

Ecclesiastes 2 in the SUSU

Ecclesiastes 2 in the SUSU2

Ecclesiastes 2 in the SYNO

Ecclesiastes 2 in the TBIAOTANT

Ecclesiastes 2 in the TBT1E

Ecclesiastes 2 in the TBT1E2

Ecclesiastes 2 in the TFTIP

Ecclesiastes 2 in the TFTU

Ecclesiastes 2 in the TGNTATF3T

Ecclesiastes 2 in the THAI

Ecclesiastes 2 in the TNFD

Ecclesiastes 2 in the TNT

Ecclesiastes 2 in the TNTIK

Ecclesiastes 2 in the TNTIL

Ecclesiastes 2 in the TNTIN

Ecclesiastes 2 in the TNTIP

Ecclesiastes 2 in the TNTIZ

Ecclesiastes 2 in the TOMA

Ecclesiastes 2 in the TTENT

Ecclesiastes 2 in the UBG

Ecclesiastes 2 in the UGV

Ecclesiastes 2 in the UGV2

Ecclesiastes 2 in the UGV3

Ecclesiastes 2 in the VBL

Ecclesiastes 2 in the VDCC

Ecclesiastes 2 in the YALU

Ecclesiastes 2 in the YAPE

Ecclesiastes 2 in the YBVTP

Ecclesiastes 2 in the ZBP