Ephesians 6 (BOLCB)
1 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. 2 “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: 3 Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. 4 Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe. 5 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. 6 Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. 7 Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, 8 nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. 9 Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu. 10 Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda. 19 Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira. 21 Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe. 23 Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda. 24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.
In Other Versions
Ephesians 6 in the ANGEFD
Ephesians 6 in the ANTPNG2D
Ephesians 6 in the AS21
Ephesians 6 in the BAGH
Ephesians 6 in the BBPNG
Ephesians 6 in the BBT1E
Ephesians 6 in the BDS
Ephesians 6 in the BEV
Ephesians 6 in the BHAD
Ephesians 6 in the BIB
Ephesians 6 in the BLPT
Ephesians 6 in the BNT
Ephesians 6 in the BNTABOOT
Ephesians 6 in the BNTLV
Ephesians 6 in the BOATCB
Ephesians 6 in the BOATCB2
Ephesians 6 in the BOBCV
Ephesians 6 in the BOCNT
Ephesians 6 in the BOECS
Ephesians 6 in the BOGWICC
Ephesians 6 in the BOHCB
Ephesians 6 in the BOHCV
Ephesians 6 in the BOHLNT
Ephesians 6 in the BOHNTLTAL
Ephesians 6 in the BOICB
Ephesians 6 in the BOILNTAP
Ephesians 6 in the BOITCV
Ephesians 6 in the BOKCV
Ephesians 6 in the BOKCV2
Ephesians 6 in the BOKHWOG
Ephesians 6 in the BOKSSV
Ephesians 6 in the BOLCB2
Ephesians 6 in the BOMCV
Ephesians 6 in the BONAV
Ephesians 6 in the BONCB
Ephesians 6 in the BONLT
Ephesians 6 in the BONUT2
Ephesians 6 in the BOPLNT
Ephesians 6 in the BOSCB
Ephesians 6 in the BOSNC
Ephesians 6 in the BOTLNT
Ephesians 6 in the BOVCB
Ephesians 6 in the BOYCB
Ephesians 6 in the BPBB
Ephesians 6 in the BPH
Ephesians 6 in the BSB
Ephesians 6 in the CCB
Ephesians 6 in the CUV
Ephesians 6 in the CUVS
Ephesians 6 in the DBT
Ephesians 6 in the DGDNT
Ephesians 6 in the DHNT
Ephesians 6 in the DNT
Ephesians 6 in the ELBE
Ephesians 6 in the EMTV
Ephesians 6 in the ESV
Ephesians 6 in the FBV
Ephesians 6 in the FEB
Ephesians 6 in the GGMNT
Ephesians 6 in the GNT
Ephesians 6 in the HARY
Ephesians 6 in the HNT
Ephesians 6 in the IRVA
Ephesians 6 in the IRVB
Ephesians 6 in the IRVG
Ephesians 6 in the IRVH
Ephesians 6 in the IRVK
Ephesians 6 in the IRVM
Ephesians 6 in the IRVM2
Ephesians 6 in the IRVO
Ephesians 6 in the IRVP
Ephesians 6 in the IRVT
Ephesians 6 in the IRVT2
Ephesians 6 in the IRVU
Ephesians 6 in the ISVN
Ephesians 6 in the JSNT
Ephesians 6 in the KAPI
Ephesians 6 in the KBT1ETNIK
Ephesians 6 in the KBV
Ephesians 6 in the KJV
Ephesians 6 in the KNFD
Ephesians 6 in the LBA
Ephesians 6 in the LBLA
Ephesians 6 in the LNT
Ephesians 6 in the LSV
Ephesians 6 in the MAAL
Ephesians 6 in the MBV
Ephesians 6 in the MBV2
Ephesians 6 in the MHNT
Ephesians 6 in the MKNFD
Ephesians 6 in the MNG
Ephesians 6 in the MNT
Ephesians 6 in the MNT2
Ephesians 6 in the MRS1T
Ephesians 6 in the NAA
Ephesians 6 in the NASB
Ephesians 6 in the NBLA
Ephesians 6 in the NBS
Ephesians 6 in the NBVTP
Ephesians 6 in the NET2
Ephesians 6 in the NIV11
Ephesians 6 in the NNT
Ephesians 6 in the NNT2
Ephesians 6 in the NNT3
Ephesians 6 in the PDDPT
Ephesians 6 in the PFNT
Ephesians 6 in the RMNT
Ephesians 6 in the SBIAS
Ephesians 6 in the SBIBS
Ephesians 6 in the SBIBS2
Ephesians 6 in the SBICS
Ephesians 6 in the SBIDS
Ephesians 6 in the SBIGS
Ephesians 6 in the SBIHS
Ephesians 6 in the SBIIS
Ephesians 6 in the SBIIS2
Ephesians 6 in the SBIIS3
Ephesians 6 in the SBIKS
Ephesians 6 in the SBIKS2
Ephesians 6 in the SBIMS
Ephesians 6 in the SBIOS
Ephesians 6 in the SBIPS
Ephesians 6 in the SBISS
Ephesians 6 in the SBITS
Ephesians 6 in the SBITS2
Ephesians 6 in the SBITS3
Ephesians 6 in the SBITS4
Ephesians 6 in the SBIUS
Ephesians 6 in the SBIVS
Ephesians 6 in the SBT
Ephesians 6 in the SBT1E
Ephesians 6 in the SCHL
Ephesians 6 in the SNT
Ephesians 6 in the SUSU
Ephesians 6 in the SUSU2
Ephesians 6 in the SYNO
Ephesians 6 in the TBIAOTANT
Ephesians 6 in the TBT1E
Ephesians 6 in the TBT1E2
Ephesians 6 in the TFTIP
Ephesians 6 in the TFTU
Ephesians 6 in the TGNTATF3T
Ephesians 6 in the THAI
Ephesians 6 in the TNFD
Ephesians 6 in the TNT
Ephesians 6 in the TNTIK
Ephesians 6 in the TNTIL
Ephesians 6 in the TNTIN
Ephesians 6 in the TNTIP
Ephesians 6 in the TNTIZ
Ephesians 6 in the TOMA
Ephesians 6 in the TTENT
Ephesians 6 in the UBG
Ephesians 6 in the UGV
Ephesians 6 in the UGV2
Ephesians 6 in the UGV3
Ephesians 6 in the VBL
Ephesians 6 in the VDCC
Ephesians 6 in the YALU
Ephesians 6 in the YAPE
Ephesians 6 in the YBVTP
Ephesians 6 in the ZBP