Exodus 19 (BOLCB)
1 Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi. 2 Kubanga baali basitudde okuva mu Lefidimu ne bayingira Eddungu lya Sinaayi. Abayisirayiri ne basimba eweema zaabwe mu ddungu omwo mu maaso g’olusozi Sinaayi. 3 Awo Musa n’ayambuka eri Katonda; MUKAMA n’amuyita ng’asinziira ku lusozi ng’agamba nti, “Bino by’onoogamba ennyumba ya Yakobo, by’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, 4 ‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu n’embeereetera gye ndi. 5 Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange. 6 Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.” 7 Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna MUKAMA bye yamulagira. 8 Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna MUKAMA by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza MUKAMA ng’abantu bwe baayogera. 9 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza MUKAMA abantu bye baayogera. 10 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero n’enkya. Bagambe booze engoye zaabwe, 11 ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo MUKAMA alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba. 12 Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa. 13 Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.” 14 Awo Musa n’ava ku lusozi n’aserengeta eri abantu, n’abatukuza ne bayoza engoye zaabwe. 15 N’abagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.” 16 Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17 Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 18 Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga MUKAMA yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka. 20 Awo MUKAMA n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. MUKAMA n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya. 21 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku MUKAMA, abantu bangi baleme kuzikirira. 22 Ne bakabona, abasemberera MUKAMA, nabo basaana beetukuze, kubanga MUKAMA ayinza okubasaanyaawo.” 23 Musa n’addamu MUKAMA nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ” 24 MUKAMA n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri MUKAMA, kubanga ayinza okubasaanyaawo.” 25 Bw’atyo Musa n’aserengeta mu bantu n’abategeeza.
In Other Versions
Exodus 19 in the ANGEFD
Exodus 19 in the ANTPNG2D
Exodus 19 in the AS21
Exodus 19 in the BAGH
Exodus 19 in the BBPNG
Exodus 19 in the BBT1E
Exodus 19 in the BDS
Exodus 19 in the BEV
Exodus 19 in the BHAD
Exodus 19 in the BIB
Exodus 19 in the BLPT
Exodus 19 in the BNT
Exodus 19 in the BNTABOOT
Exodus 19 in the BNTLV
Exodus 19 in the BOATCB
Exodus 19 in the BOATCB2
Exodus 19 in the BOBCV
Exodus 19 in the BOCNT
Exodus 19 in the BOECS
Exodus 19 in the BOGWICC
Exodus 19 in the BOHCB
Exodus 19 in the BOHCV
Exodus 19 in the BOHLNT
Exodus 19 in the BOHNTLTAL
Exodus 19 in the BOICB
Exodus 19 in the BOILNTAP
Exodus 19 in the BOITCV
Exodus 19 in the BOKCV
Exodus 19 in the BOKCV2
Exodus 19 in the BOKHWOG
Exodus 19 in the BOKSSV
Exodus 19 in the BOLCB2
Exodus 19 in the BOMCV
Exodus 19 in the BONAV
Exodus 19 in the BONCB
Exodus 19 in the BONLT
Exodus 19 in the BONUT2
Exodus 19 in the BOPLNT
Exodus 19 in the BOSCB
Exodus 19 in the BOSNC
Exodus 19 in the BOTLNT
Exodus 19 in the BOVCB
Exodus 19 in the BOYCB
Exodus 19 in the BPBB
Exodus 19 in the BPH
Exodus 19 in the BSB
Exodus 19 in the CCB
Exodus 19 in the CUV
Exodus 19 in the CUVS
Exodus 19 in the DBT
Exodus 19 in the DGDNT
Exodus 19 in the DHNT
Exodus 19 in the DNT
Exodus 19 in the ELBE
Exodus 19 in the EMTV
Exodus 19 in the ESV
Exodus 19 in the FBV
Exodus 19 in the FEB
Exodus 19 in the GGMNT
Exodus 19 in the GNT
Exodus 19 in the HARY
Exodus 19 in the HNT
Exodus 19 in the IRVA
Exodus 19 in the IRVB
Exodus 19 in the IRVG
Exodus 19 in the IRVH
Exodus 19 in the IRVK
Exodus 19 in the IRVM
Exodus 19 in the IRVM2
Exodus 19 in the IRVO
Exodus 19 in the IRVP
Exodus 19 in the IRVT
Exodus 19 in the IRVT2
Exodus 19 in the IRVU
Exodus 19 in the ISVN
Exodus 19 in the JSNT
Exodus 19 in the KAPI
Exodus 19 in the KBT1ETNIK
Exodus 19 in the KBV
Exodus 19 in the KJV
Exodus 19 in the KNFD
Exodus 19 in the LBA
Exodus 19 in the LBLA
Exodus 19 in the LNT
Exodus 19 in the LSV
Exodus 19 in the MAAL
Exodus 19 in the MBV
Exodus 19 in the MBV2
Exodus 19 in the MHNT
Exodus 19 in the MKNFD
Exodus 19 in the MNG
Exodus 19 in the MNT
Exodus 19 in the MNT2
Exodus 19 in the MRS1T
Exodus 19 in the NAA
Exodus 19 in the NASB
Exodus 19 in the NBLA
Exodus 19 in the NBS
Exodus 19 in the NBVTP
Exodus 19 in the NET2
Exodus 19 in the NIV11
Exodus 19 in the NNT
Exodus 19 in the NNT2
Exodus 19 in the NNT3
Exodus 19 in the PDDPT
Exodus 19 in the PFNT
Exodus 19 in the RMNT
Exodus 19 in the SBIAS
Exodus 19 in the SBIBS
Exodus 19 in the SBIBS2
Exodus 19 in the SBICS
Exodus 19 in the SBIDS
Exodus 19 in the SBIGS
Exodus 19 in the SBIHS
Exodus 19 in the SBIIS
Exodus 19 in the SBIIS2
Exodus 19 in the SBIIS3
Exodus 19 in the SBIKS
Exodus 19 in the SBIKS2
Exodus 19 in the SBIMS
Exodus 19 in the SBIOS
Exodus 19 in the SBIPS
Exodus 19 in the SBISS
Exodus 19 in the SBITS
Exodus 19 in the SBITS2
Exodus 19 in the SBITS3
Exodus 19 in the SBITS4
Exodus 19 in the SBIUS
Exodus 19 in the SBIVS
Exodus 19 in the SBT
Exodus 19 in the SBT1E
Exodus 19 in the SCHL
Exodus 19 in the SNT
Exodus 19 in the SUSU
Exodus 19 in the SUSU2
Exodus 19 in the SYNO
Exodus 19 in the TBIAOTANT
Exodus 19 in the TBT1E
Exodus 19 in the TBT1E2
Exodus 19 in the TFTIP
Exodus 19 in the TFTU
Exodus 19 in the TGNTATF3T
Exodus 19 in the THAI
Exodus 19 in the TNFD
Exodus 19 in the TNT
Exodus 19 in the TNTIK
Exodus 19 in the TNTIL
Exodus 19 in the TNTIN
Exodus 19 in the TNTIP
Exodus 19 in the TNTIZ
Exodus 19 in the TOMA
Exodus 19 in the TTENT
Exodus 19 in the UBG
Exodus 19 in the UGV
Exodus 19 in the UGV2
Exodus 19 in the UGV3
Exodus 19 in the VBL
Exodus 19 in the VDCC
Exodus 19 in the YALU
Exodus 19 in the YAPE
Exodus 19 in the YBVTP
Exodus 19 in the ZBP