Exodus 2 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi. 2 Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3 Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. 4 Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako. 5 Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6 Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.” 7 Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” 8 Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9 Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.” 11 Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12 Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 13 Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 14 Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.” 15 Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani; n’atuula awali oluzzi. 16 Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 17 Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe. 18 Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri, n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19 Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 20 N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.” 21 Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 22 Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.” 23 Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24 Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. 25 Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
In Other Versions
Exodus 2 in the ANGEFD
Exodus 2 in the ANTPNG2D
Exodus 2 in the AS21
Exodus 2 in the BAGH
Exodus 2 in the BBPNG
Exodus 2 in the BBT1E
Exodus 2 in the BDS
Exodus 2 in the BEV
Exodus 2 in the BHAD
Exodus 2 in the BIB
Exodus 2 in the BLPT
Exodus 2 in the BNT
Exodus 2 in the BNTABOOT
Exodus 2 in the BNTLV
Exodus 2 in the BOATCB
Exodus 2 in the BOATCB2
Exodus 2 in the BOBCV
Exodus 2 in the BOCNT
Exodus 2 in the BOECS
Exodus 2 in the BOGWICC
Exodus 2 in the BOHCB
Exodus 2 in the BOHCV
Exodus 2 in the BOHLNT
Exodus 2 in the BOHNTLTAL
Exodus 2 in the BOICB
Exodus 2 in the BOILNTAP
Exodus 2 in the BOITCV
Exodus 2 in the BOKCV
Exodus 2 in the BOKCV2
Exodus 2 in the BOKHWOG
Exodus 2 in the BOKSSV
Exodus 2 in the BOLCB2
Exodus 2 in the BOMCV
Exodus 2 in the BONAV
Exodus 2 in the BONCB
Exodus 2 in the BONLT
Exodus 2 in the BONUT2
Exodus 2 in the BOPLNT
Exodus 2 in the BOSCB
Exodus 2 in the BOSNC
Exodus 2 in the BOTLNT
Exodus 2 in the BOVCB
Exodus 2 in the BOYCB
Exodus 2 in the BPBB
Exodus 2 in the BPH
Exodus 2 in the BSB
Exodus 2 in the CCB
Exodus 2 in the CUV
Exodus 2 in the CUVS
Exodus 2 in the DBT
Exodus 2 in the DGDNT
Exodus 2 in the DHNT
Exodus 2 in the DNT
Exodus 2 in the ELBE
Exodus 2 in the EMTV
Exodus 2 in the ESV
Exodus 2 in the FBV
Exodus 2 in the FEB
Exodus 2 in the GGMNT
Exodus 2 in the GNT
Exodus 2 in the HARY
Exodus 2 in the HNT
Exodus 2 in the IRVA
Exodus 2 in the IRVB
Exodus 2 in the IRVG
Exodus 2 in the IRVH
Exodus 2 in the IRVK
Exodus 2 in the IRVM
Exodus 2 in the IRVM2
Exodus 2 in the IRVO
Exodus 2 in the IRVP
Exodus 2 in the IRVT
Exodus 2 in the IRVT2
Exodus 2 in the IRVU
Exodus 2 in the ISVN
Exodus 2 in the JSNT
Exodus 2 in the KAPI
Exodus 2 in the KBT1ETNIK
Exodus 2 in the KBV
Exodus 2 in the KJV
Exodus 2 in the KNFD
Exodus 2 in the LBA
Exodus 2 in the LBLA
Exodus 2 in the LNT
Exodus 2 in the LSV
Exodus 2 in the MAAL
Exodus 2 in the MBV
Exodus 2 in the MBV2
Exodus 2 in the MHNT
Exodus 2 in the MKNFD
Exodus 2 in the MNG
Exodus 2 in the MNT
Exodus 2 in the MNT2
Exodus 2 in the MRS1T
Exodus 2 in the NAA
Exodus 2 in the NASB
Exodus 2 in the NBLA
Exodus 2 in the NBS
Exodus 2 in the NBVTP
Exodus 2 in the NET2
Exodus 2 in the NIV11
Exodus 2 in the NNT
Exodus 2 in the NNT2
Exodus 2 in the NNT3
Exodus 2 in the PDDPT
Exodus 2 in the PFNT
Exodus 2 in the RMNT
Exodus 2 in the SBIAS
Exodus 2 in the SBIBS
Exodus 2 in the SBIBS2
Exodus 2 in the SBICS
Exodus 2 in the SBIDS
Exodus 2 in the SBIGS
Exodus 2 in the SBIHS
Exodus 2 in the SBIIS
Exodus 2 in the SBIIS2
Exodus 2 in the SBIIS3
Exodus 2 in the SBIKS
Exodus 2 in the SBIKS2
Exodus 2 in the SBIMS
Exodus 2 in the SBIOS
Exodus 2 in the SBIPS
Exodus 2 in the SBISS
Exodus 2 in the SBITS
Exodus 2 in the SBITS2
Exodus 2 in the SBITS3
Exodus 2 in the SBITS4
Exodus 2 in the SBIUS
Exodus 2 in the SBIVS
Exodus 2 in the SBT
Exodus 2 in the SBT1E
Exodus 2 in the SCHL
Exodus 2 in the SNT
Exodus 2 in the SUSU
Exodus 2 in the SUSU2
Exodus 2 in the SYNO
Exodus 2 in the TBIAOTANT
Exodus 2 in the TBT1E
Exodus 2 in the TBT1E2
Exodus 2 in the TFTIP
Exodus 2 in the TFTU
Exodus 2 in the TGNTATF3T
Exodus 2 in the THAI
Exodus 2 in the TNFD
Exodus 2 in the TNT
Exodus 2 in the TNTIK
Exodus 2 in the TNTIL
Exodus 2 in the TNTIN
Exodus 2 in the TNTIP
Exodus 2 in the TNTIZ
Exodus 2 in the TOMA
Exodus 2 in the TTENT
Exodus 2 in the UBG
Exodus 2 in the UGV
Exodus 2 in the UGV2
Exodus 2 in the UGV3
Exodus 2 in the VBL
Exodus 2 in the VDCC
Exodus 2 in the YALU
Exodus 2 in the YAPE
Exodus 2 in the YBVTP
Exodus 2 in the ZBP