Exodus 28 (BOLCB)

1 “Muganda wo Alooni muyiteyo mu baana ba Isirayiri, awamu ne batabani be: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali, ne Isamaali, bajje bampeereze nga be bakabona. 2 Muganda wo Alooni mutungire ebyambalo ebitukuvu, nga bya kitiibwa era nga birabika bulungi. 3 Yogera n’abo bonna abasobola, be nawa ekirabo eky’amagezi mu mirimu egyo, bakolere Alooni ebyambalo mw’anaayawulirwa okubeera kabona wange. 4 Bino bye byambalo bye banaakola: eky’omu kifuba, ekkanzu ey’obwakabona okutali mikono ennyimpi eyitibwa ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi; ng’ekoma mu ntumbwe; omunagiro; ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika; ekitambaala; n’olukoba. Bakolere Alooni ne batabani be ebyambalo ebitukuvu balyoke bampeereze nga be bakabona. 5 Abakozi baweebwe ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 6 “Abakozi abakugu bakole ekkanzu ey’obwakabona ennyimpi etaliiko mikono n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 7 Ebeere n’eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, eryoke egattibwe bulungi. 8 Omusipi gwayo mu kiwato gukolebwe n’amagezi mangi nga aganaakola ekkanzu ey’obwakabona, era n’ebinaakola bifaanagane, ng’ewuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa. 9 “Oddire amayinja ga onuku abiri, ogalambeko amannya ga batabani ba Isirayiri, 10 amannya mukaaga ku jjinja erimu, n’amannya g’abasigaddewo omukaaga ku jjinja eryokubiri, ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kugenda kuddiriragana. 11 Olambe amannya ga batabani ba Isirayiri ku mayinja ago abiri ng’omusazi w’amayinja bw’ayola akabonero ku jjinja; ogateeke mu fuleemu ogeetoolooze n’emikugiro egya zaabu. 12 Amayinja ago ojja gakwasiza ku by’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, ng’amayinja ag’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri. Alooni asitulenga amannya gaabwe awali MUKAMA ng’ekijjukizo. 13 Okole fuleemu eza zaabu, 14 n’enjegere bbiri eza zaabu omuka, ozirange ng’emiguwa; olyoke osibire enjegere ez’oku fuleemu. 15 “Kola ekyomukifuba eky’okutereezanga ensonga, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ewuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 16 Kijja kwenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri, okiwetemu wakati. 17 Otungireko ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka osseemu amayinja saasiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 18 ne mu lunyiriri olwokubiri osseemu emalada, ne safiro ne dayamandi; 19 ne mu lunyiriri olwokusatu osseemu jasinta; ne ageti, ne ametisita, 20 ne mu lunyiriri olwokuna osseemu berulo, ne onuku, ne yasipero, ogateeke mu fuleemu ya zaabu. 21 Wabeerewo amayinja kkumi n’abiri, n’amannya gaago ng’amannya g’abatabani ba Isirayiri. Gasalibwe bulungi ng’obubonero obuwoolebwa, nga ku buli limu kulambiddwako erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri. 22 “Ekyomukifuba kikolere enjegere ennange ng’emiguwa gya zaabu omuka. 23 Era ekyomukifuba kikolere empeta za zaabu bbiri, oteeke empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 24 Oyise enjegere ebbiri eza zaabu mu mpeta ebbiri eziri ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 25 Oddire enjuuyi ebbiri ezisigaddewo ez’enjegere ozikwasize ku fuleemu ebbiri, ozinywereze mu maaso g’eby’oku bibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 29 “Buli kiseera Alooni lw’anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, anaabanga ayambadde amannya ga batabani ba Isirayiri ku kyomukifuba eky’okumala ensonga, nga kiri ku mutima gwe, kibeerenga ekijjukizo awali MUKAMA. 30 Mu ky’omu kifuba eky’okumala ensonga, onooteekamu Ulimu ne Sumimu, era binaabeeranga ku mutima gwa Alooni buli lw’anaayingiranga awali MUKAMA. Bw’atyo Alooni anaasitulanga ekkubo omuyitwa okumala ensonga z’abaana ba Isirayiri okumpi n’omutima gwe buli lw’anaagendanga awali MUKAMA. 31 “Onookola ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, nga kyonna kya bbululu. 32 Waggulu mu makkati gaakyo munaabaamu ekituli omw’okuyisa omutwe; okwetooloola ekituli ekyo kunaabaako omuge omuyonde obulungi ng’omuleera ku kituli ky’omutwe eky’ekkanzu ey’obwakabona, kireme okuyulika. 33 Okwetooloola ebirenge wansi onootungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu; nga mu makkati ga buli langi eziriraanye otobekamu obude obwa zaabu. 34 Ng’otunga amajjolobera n’ozzaako akade, ate n’oddiriza amajjolobera n’ozzaako akade; bw’otyo okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo. 35 Gunaabanga mulimu gwa Alooni okwambala ekyambalo ekyo ng’agenda okuweereza. Obude obwo bunaawulirwanga ng’ayingira mu Kifo Ekitukuvu awali MUKAMA, ne bw’anaabanga afuluma, aleme okufa. 36 “Onookola akapande aka zaabu omuka ennyo, okayoleko, nga bwe bayola akabonero, nti,Mutukuvu wa Mukama. 37 Akapande okasibeko akaguwa aka bbululu, okanywereze ku kitambaala ky’oku mutwe ku ludda olw’omu maaso olw’ekitambaala. 38 Akapande ako kanaabeeranga mu kyenyi kya Alooni, era Alooni y’anaabangako obuvunaanyizibwa nga wabaddewo ebitatuuse mu biweebwayo ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga nga bamaze okubyawula ng’ebirabo byabwe ebitukuvu; kanaabeeranga ku kyenyi kye bulijjo, MUKAMA alyoke akkirize ebirabo ebyo. 39 “Luka ekkooti erimu obusaze obw’obusimba n’obw’obukiika mu wuzi eza linena omulebevu, era okole n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu, era okole olukoba ng’olutunzeemu amajjolobera. 40 Batabani ba Alooni bakolere amakooti, n’emisipi, n’enkuufiira; nga byonna bya kitiibwa era nga birabika bulungi nnyo. 41 Alooni muganda wo mwambaze ebyambalo ebyo, ne batabani be nabo bw’otyo; olyoke obafukeko amafuta ag’omuzeeyituuni, obaawule, obatukuze, bampeerezenga nga be bakabona. 42 “Bakolere empale ez’omunda eza linena, nga ziva mu kiwato okukoma mu bisambi, zibikke omubiri gwabwe. 43 Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”

In Other Versions

Exodus 28 in the ANGEFD

Exodus 28 in the ANTPNG2D

Exodus 28 in the AS21

Exodus 28 in the BAGH

Exodus 28 in the BBPNG

Exodus 28 in the BBT1E

Exodus 28 in the BDS

Exodus 28 in the BEV

Exodus 28 in the BHAD

Exodus 28 in the BIB

Exodus 28 in the BLPT

Exodus 28 in the BNT

Exodus 28 in the BNTABOOT

Exodus 28 in the BNTLV

Exodus 28 in the BOATCB

Exodus 28 in the BOATCB2

Exodus 28 in the BOBCV

Exodus 28 in the BOCNT

Exodus 28 in the BOECS

Exodus 28 in the BOGWICC

Exodus 28 in the BOHCB

Exodus 28 in the BOHCV

Exodus 28 in the BOHLNT

Exodus 28 in the BOHNTLTAL

Exodus 28 in the BOICB

Exodus 28 in the BOILNTAP

Exodus 28 in the BOITCV

Exodus 28 in the BOKCV

Exodus 28 in the BOKCV2

Exodus 28 in the BOKHWOG

Exodus 28 in the BOKSSV

Exodus 28 in the BOLCB2

Exodus 28 in the BOMCV

Exodus 28 in the BONAV

Exodus 28 in the BONCB

Exodus 28 in the BONLT

Exodus 28 in the BONUT2

Exodus 28 in the BOPLNT

Exodus 28 in the BOSCB

Exodus 28 in the BOSNC

Exodus 28 in the BOTLNT

Exodus 28 in the BOVCB

Exodus 28 in the BOYCB

Exodus 28 in the BPBB

Exodus 28 in the BPH

Exodus 28 in the BSB

Exodus 28 in the CCB

Exodus 28 in the CUV

Exodus 28 in the CUVS

Exodus 28 in the DBT

Exodus 28 in the DGDNT

Exodus 28 in the DHNT

Exodus 28 in the DNT

Exodus 28 in the ELBE

Exodus 28 in the EMTV

Exodus 28 in the ESV

Exodus 28 in the FBV

Exodus 28 in the FEB

Exodus 28 in the GGMNT

Exodus 28 in the GNT

Exodus 28 in the HARY

Exodus 28 in the HNT

Exodus 28 in the IRVA

Exodus 28 in the IRVB

Exodus 28 in the IRVG

Exodus 28 in the IRVH

Exodus 28 in the IRVK

Exodus 28 in the IRVM

Exodus 28 in the IRVM2

Exodus 28 in the IRVO

Exodus 28 in the IRVP

Exodus 28 in the IRVT

Exodus 28 in the IRVT2

Exodus 28 in the IRVU

Exodus 28 in the ISVN

Exodus 28 in the JSNT

Exodus 28 in the KAPI

Exodus 28 in the KBT1ETNIK

Exodus 28 in the KBV

Exodus 28 in the KJV

Exodus 28 in the KNFD

Exodus 28 in the LBA

Exodus 28 in the LBLA

Exodus 28 in the LNT

Exodus 28 in the LSV

Exodus 28 in the MAAL

Exodus 28 in the MBV

Exodus 28 in the MBV2

Exodus 28 in the MHNT

Exodus 28 in the MKNFD

Exodus 28 in the MNG

Exodus 28 in the MNT

Exodus 28 in the MNT2

Exodus 28 in the MRS1T

Exodus 28 in the NAA

Exodus 28 in the NASB

Exodus 28 in the NBLA

Exodus 28 in the NBS

Exodus 28 in the NBVTP

Exodus 28 in the NET2

Exodus 28 in the NIV11

Exodus 28 in the NNT

Exodus 28 in the NNT2

Exodus 28 in the NNT3

Exodus 28 in the PDDPT

Exodus 28 in the PFNT

Exodus 28 in the RMNT

Exodus 28 in the SBIAS

Exodus 28 in the SBIBS

Exodus 28 in the SBIBS2

Exodus 28 in the SBICS

Exodus 28 in the SBIDS

Exodus 28 in the SBIGS

Exodus 28 in the SBIHS

Exodus 28 in the SBIIS

Exodus 28 in the SBIIS2

Exodus 28 in the SBIIS3

Exodus 28 in the SBIKS

Exodus 28 in the SBIKS2

Exodus 28 in the SBIMS

Exodus 28 in the SBIOS

Exodus 28 in the SBIPS

Exodus 28 in the SBISS

Exodus 28 in the SBITS

Exodus 28 in the SBITS2

Exodus 28 in the SBITS3

Exodus 28 in the SBITS4

Exodus 28 in the SBIUS

Exodus 28 in the SBIVS

Exodus 28 in the SBT

Exodus 28 in the SBT1E

Exodus 28 in the SCHL

Exodus 28 in the SNT

Exodus 28 in the SUSU

Exodus 28 in the SUSU2

Exodus 28 in the SYNO

Exodus 28 in the TBIAOTANT

Exodus 28 in the TBT1E

Exodus 28 in the TBT1E2

Exodus 28 in the TFTIP

Exodus 28 in the TFTU

Exodus 28 in the TGNTATF3T

Exodus 28 in the THAI

Exodus 28 in the TNFD

Exodus 28 in the TNT

Exodus 28 in the TNTIK

Exodus 28 in the TNTIL

Exodus 28 in the TNTIN

Exodus 28 in the TNTIP

Exodus 28 in the TNTIZ

Exodus 28 in the TOMA

Exodus 28 in the TTENT

Exodus 28 in the UBG

Exodus 28 in the UGV

Exodus 28 in the UGV2

Exodus 28 in the UGV3

Exodus 28 in the VBL

Exodus 28 in the VDCC

Exodus 28 in the YALU

Exodus 28 in the YAPE

Exodus 28 in the YBVTP

Exodus 28 in the ZBP