Exodus 36 (BOLCB)

1 “Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, MUKAMA gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya MUKAMA, bajja kukola nga MUKAMA bw’alagidde.” 2 Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna MUKAMA gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola. 3 Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde MUKAMA nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya MUKAMA. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya. 4 Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya MUKAMA ne bava ku mirimu gyabwe, 5 ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu MUKAMA gwe yalagira okukolebwa.” 6 Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya MUKAMA.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo; 7 kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo. 8 Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola Eweema ya MUKAMA n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi. 9 Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 10 Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo. 11 Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala. 12 Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye. 13 Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; Eweema n’ebeera wamu nga nnamba. 14 Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema. 15 Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana. 16 Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo. 17 Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo. 18 Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu. 19 Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba g’endiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba g’ente ey’omu nnyanja. 20 Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema. 21 Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu. 22 Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema bwe baazikola bwe batyo. 23 Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 24 era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 25 Ate ku ludda olw’obukiikakkono olw’Eweema ne bakolerayo embaawo amakumi abiri, 26 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo. 27 Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olw’emabega wa Weema, lwe lw’ebugwanjuba; 28 era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ez’oku ludda olwo olw’ebugwanjuba. 29 Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta. 30 Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri. 31 Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 32 n’emikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, n’emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 33 Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 34 Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; n’emikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu. 35 Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu n’atungiramu bakerubi. 36 Ne baliwanika n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza. 37 Ne bakola olutimbe olw’omu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi. 38 Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako n’amalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.

In Other Versions

Exodus 36 in the ANGEFD

Exodus 36 in the ANTPNG2D

Exodus 36 in the AS21

Exodus 36 in the BAGH

Exodus 36 in the BBPNG

Exodus 36 in the BBT1E

Exodus 36 in the BDS

Exodus 36 in the BEV

Exodus 36 in the BHAD

Exodus 36 in the BIB

Exodus 36 in the BLPT

Exodus 36 in the BNT

Exodus 36 in the BNTABOOT

Exodus 36 in the BNTLV

Exodus 36 in the BOATCB

Exodus 36 in the BOATCB2

Exodus 36 in the BOBCV

Exodus 36 in the BOCNT

Exodus 36 in the BOECS

Exodus 36 in the BOGWICC

Exodus 36 in the BOHCB

Exodus 36 in the BOHCV

Exodus 36 in the BOHLNT

Exodus 36 in the BOHNTLTAL

Exodus 36 in the BOICB

Exodus 36 in the BOILNTAP

Exodus 36 in the BOITCV

Exodus 36 in the BOKCV

Exodus 36 in the BOKCV2

Exodus 36 in the BOKHWOG

Exodus 36 in the BOKSSV

Exodus 36 in the BOLCB2

Exodus 36 in the BOMCV

Exodus 36 in the BONAV

Exodus 36 in the BONCB

Exodus 36 in the BONLT

Exodus 36 in the BONUT2

Exodus 36 in the BOPLNT

Exodus 36 in the BOSCB

Exodus 36 in the BOSNC

Exodus 36 in the BOTLNT

Exodus 36 in the BOVCB

Exodus 36 in the BOYCB

Exodus 36 in the BPBB

Exodus 36 in the BPH

Exodus 36 in the BSB

Exodus 36 in the CCB

Exodus 36 in the CUV

Exodus 36 in the CUVS

Exodus 36 in the DBT

Exodus 36 in the DGDNT

Exodus 36 in the DHNT

Exodus 36 in the DNT

Exodus 36 in the ELBE

Exodus 36 in the EMTV

Exodus 36 in the ESV

Exodus 36 in the FBV

Exodus 36 in the FEB

Exodus 36 in the GGMNT

Exodus 36 in the GNT

Exodus 36 in the HARY

Exodus 36 in the HNT

Exodus 36 in the IRVA

Exodus 36 in the IRVB

Exodus 36 in the IRVG

Exodus 36 in the IRVH

Exodus 36 in the IRVK

Exodus 36 in the IRVM

Exodus 36 in the IRVM2

Exodus 36 in the IRVO

Exodus 36 in the IRVP

Exodus 36 in the IRVT

Exodus 36 in the IRVT2

Exodus 36 in the IRVU

Exodus 36 in the ISVN

Exodus 36 in the JSNT

Exodus 36 in the KAPI

Exodus 36 in the KBT1ETNIK

Exodus 36 in the KBV

Exodus 36 in the KJV

Exodus 36 in the KNFD

Exodus 36 in the LBA

Exodus 36 in the LBLA

Exodus 36 in the LNT

Exodus 36 in the LSV

Exodus 36 in the MAAL

Exodus 36 in the MBV

Exodus 36 in the MBV2

Exodus 36 in the MHNT

Exodus 36 in the MKNFD

Exodus 36 in the MNG

Exodus 36 in the MNT

Exodus 36 in the MNT2

Exodus 36 in the MRS1T

Exodus 36 in the NAA

Exodus 36 in the NASB

Exodus 36 in the NBLA

Exodus 36 in the NBS

Exodus 36 in the NBVTP

Exodus 36 in the NET2

Exodus 36 in the NIV11

Exodus 36 in the NNT

Exodus 36 in the NNT2

Exodus 36 in the NNT3

Exodus 36 in the PDDPT

Exodus 36 in the PFNT

Exodus 36 in the RMNT

Exodus 36 in the SBIAS

Exodus 36 in the SBIBS

Exodus 36 in the SBIBS2

Exodus 36 in the SBICS

Exodus 36 in the SBIDS

Exodus 36 in the SBIGS

Exodus 36 in the SBIHS

Exodus 36 in the SBIIS

Exodus 36 in the SBIIS2

Exodus 36 in the SBIIS3

Exodus 36 in the SBIKS

Exodus 36 in the SBIKS2

Exodus 36 in the SBIMS

Exodus 36 in the SBIOS

Exodus 36 in the SBIPS

Exodus 36 in the SBISS

Exodus 36 in the SBITS

Exodus 36 in the SBITS2

Exodus 36 in the SBITS3

Exodus 36 in the SBITS4

Exodus 36 in the SBIUS

Exodus 36 in the SBIVS

Exodus 36 in the SBT

Exodus 36 in the SBT1E

Exodus 36 in the SCHL

Exodus 36 in the SNT

Exodus 36 in the SUSU

Exodus 36 in the SUSU2

Exodus 36 in the SYNO

Exodus 36 in the TBIAOTANT

Exodus 36 in the TBT1E

Exodus 36 in the TBT1E2

Exodus 36 in the TFTIP

Exodus 36 in the TFTU

Exodus 36 in the TGNTATF3T

Exodus 36 in the THAI

Exodus 36 in the TNFD

Exodus 36 in the TNT

Exodus 36 in the TNTIK

Exodus 36 in the TNTIL

Exodus 36 in the TNTIN

Exodus 36 in the TNTIP

Exodus 36 in the TNTIZ

Exodus 36 in the TOMA

Exodus 36 in the TTENT

Exodus 36 in the UBG

Exodus 36 in the UGV

Exodus 36 in the UGV2

Exodus 36 in the UGV3

Exodus 36 in the VBL

Exodus 36 in the VDCC

Exodus 36 in the YALU

Exodus 36 in the YAPE

Exodus 36 in the YBVTP

Exodus 36 in the ZBP