Exodus 37 (BOLCB)

1 Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu. 2 N’agibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 3 N’agiweeseza empeta nnya eza zaabu, n’azisiba ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 4 N’abajja emisituliro mu muti ogwa akasiya, n’agibikkako zaabu, 5 n’agisonseka mu mpeta ziri okusituzanga essanduuko. 6 N’akolerako ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo bwali mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 7 N’akolerako ne bakerubi babiri mu zaabu omuweese ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. 8 Kerubi omu yamuteeka ku ludda lumu olw’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ne kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga bakerubi bombi beekutte wamu n’ekisaanikirako, ye ntebe ey’okusaasira. 9 Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. 10 N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 N’agibikkako zaabu omuka ennyo, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 12 N’agikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo. 13 N’aweesa empeta nnya eza zaabu, n’azisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana. 14 Empeta ezo yazissa kumpi n’olukugiro ziyisibwemu emisituliro gy’emmeeza. 15 N’akola emisituliro gy’emmeeza mu muti gwa akasiya, n’agibikkako zaabu. 16 N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa. 17 Yakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 18 Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 19 Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna. 20 Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako. 21 Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna. 22 Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu. 23 Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka. 24 Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya. 25 Yakola ekyoto, mu miti gy’akasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; n’obugulumivu bwa sentimita kyenda; n’amayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo. 26 Ekyoto yakisiigako zaabu omuka kyonna, waggulu ne mu mbiriizi ne ku mayembe, n’akolerako omuge ogwa zaabu okukyebungulula. 27 Wansi w’omuge mu mbiriizi z’ekyoto zombi, yakolerako empeta bbiri eza zaabu, okuyisangamu emisituliro gyakyo nga wabaddewo gye kitwalibwa. 28 Emisituliro yagikola mu muti gwa akasiya, n’agisiigako zaabu. 29 N’atabula amafuta amatukuvu ag’okwawula, n’ateekateeka obubaane obulongosebbwa ennyo, ng’abutabudde bulungi ng’omukugu mu byakaloosa bwe yandikoze.

In Other Versions

Exodus 37 in the ANGEFD

Exodus 37 in the ANTPNG2D

Exodus 37 in the AS21

Exodus 37 in the BAGH

Exodus 37 in the BBPNG

Exodus 37 in the BBT1E

Exodus 37 in the BDS

Exodus 37 in the BEV

Exodus 37 in the BHAD

Exodus 37 in the BIB

Exodus 37 in the BLPT

Exodus 37 in the BNT

Exodus 37 in the BNTABOOT

Exodus 37 in the BNTLV

Exodus 37 in the BOATCB

Exodus 37 in the BOATCB2

Exodus 37 in the BOBCV

Exodus 37 in the BOCNT

Exodus 37 in the BOECS

Exodus 37 in the BOGWICC

Exodus 37 in the BOHCB

Exodus 37 in the BOHCV

Exodus 37 in the BOHLNT

Exodus 37 in the BOHNTLTAL

Exodus 37 in the BOICB

Exodus 37 in the BOILNTAP

Exodus 37 in the BOITCV

Exodus 37 in the BOKCV

Exodus 37 in the BOKCV2

Exodus 37 in the BOKHWOG

Exodus 37 in the BOKSSV

Exodus 37 in the BOLCB2

Exodus 37 in the BOMCV

Exodus 37 in the BONAV

Exodus 37 in the BONCB

Exodus 37 in the BONLT

Exodus 37 in the BONUT2

Exodus 37 in the BOPLNT

Exodus 37 in the BOSCB

Exodus 37 in the BOSNC

Exodus 37 in the BOTLNT

Exodus 37 in the BOVCB

Exodus 37 in the BOYCB

Exodus 37 in the BPBB

Exodus 37 in the BPH

Exodus 37 in the BSB

Exodus 37 in the CCB

Exodus 37 in the CUV

Exodus 37 in the CUVS

Exodus 37 in the DBT

Exodus 37 in the DGDNT

Exodus 37 in the DHNT

Exodus 37 in the DNT

Exodus 37 in the ELBE

Exodus 37 in the EMTV

Exodus 37 in the ESV

Exodus 37 in the FBV

Exodus 37 in the FEB

Exodus 37 in the GGMNT

Exodus 37 in the GNT

Exodus 37 in the HARY

Exodus 37 in the HNT

Exodus 37 in the IRVA

Exodus 37 in the IRVB

Exodus 37 in the IRVG

Exodus 37 in the IRVH

Exodus 37 in the IRVK

Exodus 37 in the IRVM

Exodus 37 in the IRVM2

Exodus 37 in the IRVO

Exodus 37 in the IRVP

Exodus 37 in the IRVT

Exodus 37 in the IRVT2

Exodus 37 in the IRVU

Exodus 37 in the ISVN

Exodus 37 in the JSNT

Exodus 37 in the KAPI

Exodus 37 in the KBT1ETNIK

Exodus 37 in the KBV

Exodus 37 in the KJV

Exodus 37 in the KNFD

Exodus 37 in the LBA

Exodus 37 in the LBLA

Exodus 37 in the LNT

Exodus 37 in the LSV

Exodus 37 in the MAAL

Exodus 37 in the MBV

Exodus 37 in the MBV2

Exodus 37 in the MHNT

Exodus 37 in the MKNFD

Exodus 37 in the MNG

Exodus 37 in the MNT

Exodus 37 in the MNT2

Exodus 37 in the MRS1T

Exodus 37 in the NAA

Exodus 37 in the NASB

Exodus 37 in the NBLA

Exodus 37 in the NBS

Exodus 37 in the NBVTP

Exodus 37 in the NET2

Exodus 37 in the NIV11

Exodus 37 in the NNT

Exodus 37 in the NNT2

Exodus 37 in the NNT3

Exodus 37 in the PDDPT

Exodus 37 in the PFNT

Exodus 37 in the RMNT

Exodus 37 in the SBIAS

Exodus 37 in the SBIBS

Exodus 37 in the SBIBS2

Exodus 37 in the SBICS

Exodus 37 in the SBIDS

Exodus 37 in the SBIGS

Exodus 37 in the SBIHS

Exodus 37 in the SBIIS

Exodus 37 in the SBIIS2

Exodus 37 in the SBIIS3

Exodus 37 in the SBIKS

Exodus 37 in the SBIKS2

Exodus 37 in the SBIMS

Exodus 37 in the SBIOS

Exodus 37 in the SBIPS

Exodus 37 in the SBISS

Exodus 37 in the SBITS

Exodus 37 in the SBITS2

Exodus 37 in the SBITS3

Exodus 37 in the SBITS4

Exodus 37 in the SBIUS

Exodus 37 in the SBIVS

Exodus 37 in the SBT

Exodus 37 in the SBT1E

Exodus 37 in the SCHL

Exodus 37 in the SNT

Exodus 37 in the SUSU

Exodus 37 in the SUSU2

Exodus 37 in the SYNO

Exodus 37 in the TBIAOTANT

Exodus 37 in the TBT1E

Exodus 37 in the TBT1E2

Exodus 37 in the TFTIP

Exodus 37 in the TFTU

Exodus 37 in the TGNTATF3T

Exodus 37 in the THAI

Exodus 37 in the TNFD

Exodus 37 in the TNT

Exodus 37 in the TNTIK

Exodus 37 in the TNTIL

Exodus 37 in the TNTIN

Exodus 37 in the TNTIP

Exodus 37 in the TNTIZ

Exodus 37 in the TOMA

Exodus 37 in the TTENT

Exodus 37 in the UBG

Exodus 37 in the UGV

Exodus 37 in the UGV2

Exodus 37 in the UGV3

Exodus 37 in the VBL

Exodus 37 in the VDCC

Exodus 37 in the YALU

Exodus 37 in the YAPE

Exodus 37 in the YBVTP

Exodus 37 in the ZBP