Ezekiel 13 (BOLCB)
1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya MUKAMA. 3 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. 4 Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. 5 Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa MUKAMA Katonda. 6 Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. MUKAMA ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. 7 Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “MUKAMA bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde? 8 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. 9 Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze MUKAMA Katonda. 10 “ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, 11 kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. 12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?” 13 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. 14 Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze MUKAMA Katonda. 15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, 16 abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera MUKAMA Katonda.” ’ 17 “Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18 ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 19 Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba. 20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 21 Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze MUKAMA Katonda. 22 Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 23 ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze MUKAMA Katonda.’ ”
In Other Versions
Ezekiel 13 in the ANGEFD
Ezekiel 13 in the ANTPNG2D
Ezekiel 13 in the AS21
Ezekiel 13 in the BAGH
Ezekiel 13 in the BBPNG
Ezekiel 13 in the BBT1E
Ezekiel 13 in the BDS
Ezekiel 13 in the BEV
Ezekiel 13 in the BHAD
Ezekiel 13 in the BIB
Ezekiel 13 in the BLPT
Ezekiel 13 in the BNT
Ezekiel 13 in the BNTABOOT
Ezekiel 13 in the BNTLV
Ezekiel 13 in the BOATCB
Ezekiel 13 in the BOATCB2
Ezekiel 13 in the BOBCV
Ezekiel 13 in the BOCNT
Ezekiel 13 in the BOECS
Ezekiel 13 in the BOGWICC
Ezekiel 13 in the BOHCB
Ezekiel 13 in the BOHCV
Ezekiel 13 in the BOHLNT
Ezekiel 13 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 13 in the BOICB
Ezekiel 13 in the BOILNTAP
Ezekiel 13 in the BOITCV
Ezekiel 13 in the BOKCV
Ezekiel 13 in the BOKCV2
Ezekiel 13 in the BOKHWOG
Ezekiel 13 in the BOKSSV
Ezekiel 13 in the BOLCB2
Ezekiel 13 in the BOMCV
Ezekiel 13 in the BONAV
Ezekiel 13 in the BONCB
Ezekiel 13 in the BONLT
Ezekiel 13 in the BONUT2
Ezekiel 13 in the BOPLNT
Ezekiel 13 in the BOSCB
Ezekiel 13 in the BOSNC
Ezekiel 13 in the BOTLNT
Ezekiel 13 in the BOVCB
Ezekiel 13 in the BOYCB
Ezekiel 13 in the BPBB
Ezekiel 13 in the BPH
Ezekiel 13 in the BSB
Ezekiel 13 in the CCB
Ezekiel 13 in the CUV
Ezekiel 13 in the CUVS
Ezekiel 13 in the DBT
Ezekiel 13 in the DGDNT
Ezekiel 13 in the DHNT
Ezekiel 13 in the DNT
Ezekiel 13 in the ELBE
Ezekiel 13 in the EMTV
Ezekiel 13 in the ESV
Ezekiel 13 in the FBV
Ezekiel 13 in the FEB
Ezekiel 13 in the GGMNT
Ezekiel 13 in the GNT
Ezekiel 13 in the HARY
Ezekiel 13 in the HNT
Ezekiel 13 in the IRVA
Ezekiel 13 in the IRVB
Ezekiel 13 in the IRVG
Ezekiel 13 in the IRVH
Ezekiel 13 in the IRVK
Ezekiel 13 in the IRVM
Ezekiel 13 in the IRVM2
Ezekiel 13 in the IRVO
Ezekiel 13 in the IRVP
Ezekiel 13 in the IRVT
Ezekiel 13 in the IRVT2
Ezekiel 13 in the IRVU
Ezekiel 13 in the ISVN
Ezekiel 13 in the JSNT
Ezekiel 13 in the KAPI
Ezekiel 13 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 13 in the KBV
Ezekiel 13 in the KJV
Ezekiel 13 in the KNFD
Ezekiel 13 in the LBA
Ezekiel 13 in the LBLA
Ezekiel 13 in the LNT
Ezekiel 13 in the LSV
Ezekiel 13 in the MAAL
Ezekiel 13 in the MBV
Ezekiel 13 in the MBV2
Ezekiel 13 in the MHNT
Ezekiel 13 in the MKNFD
Ezekiel 13 in the MNG
Ezekiel 13 in the MNT
Ezekiel 13 in the MNT2
Ezekiel 13 in the MRS1T
Ezekiel 13 in the NAA
Ezekiel 13 in the NASB
Ezekiel 13 in the NBLA
Ezekiel 13 in the NBS
Ezekiel 13 in the NBVTP
Ezekiel 13 in the NET2
Ezekiel 13 in the NIV11
Ezekiel 13 in the NNT
Ezekiel 13 in the NNT2
Ezekiel 13 in the NNT3
Ezekiel 13 in the PDDPT
Ezekiel 13 in the PFNT
Ezekiel 13 in the RMNT
Ezekiel 13 in the SBIAS
Ezekiel 13 in the SBIBS
Ezekiel 13 in the SBIBS2
Ezekiel 13 in the SBICS
Ezekiel 13 in the SBIDS
Ezekiel 13 in the SBIGS
Ezekiel 13 in the SBIHS
Ezekiel 13 in the SBIIS
Ezekiel 13 in the SBIIS2
Ezekiel 13 in the SBIIS3
Ezekiel 13 in the SBIKS
Ezekiel 13 in the SBIKS2
Ezekiel 13 in the SBIMS
Ezekiel 13 in the SBIOS
Ezekiel 13 in the SBIPS
Ezekiel 13 in the SBISS
Ezekiel 13 in the SBITS
Ezekiel 13 in the SBITS2
Ezekiel 13 in the SBITS3
Ezekiel 13 in the SBITS4
Ezekiel 13 in the SBIUS
Ezekiel 13 in the SBIVS
Ezekiel 13 in the SBT
Ezekiel 13 in the SBT1E
Ezekiel 13 in the SCHL
Ezekiel 13 in the SNT
Ezekiel 13 in the SUSU
Ezekiel 13 in the SUSU2
Ezekiel 13 in the SYNO
Ezekiel 13 in the TBIAOTANT
Ezekiel 13 in the TBT1E
Ezekiel 13 in the TBT1E2
Ezekiel 13 in the TFTIP
Ezekiel 13 in the TFTU
Ezekiel 13 in the TGNTATF3T
Ezekiel 13 in the THAI
Ezekiel 13 in the TNFD
Ezekiel 13 in the TNT
Ezekiel 13 in the TNTIK
Ezekiel 13 in the TNTIL
Ezekiel 13 in the TNTIN
Ezekiel 13 in the TNTIP
Ezekiel 13 in the TNTIZ
Ezekiel 13 in the TOMA
Ezekiel 13 in the TTENT
Ezekiel 13 in the UBG
Ezekiel 13 in the UGV
Ezekiel 13 in the UGV2
Ezekiel 13 in the UGV3
Ezekiel 13 in the VBL
Ezekiel 13 in the VDCC
Ezekiel 13 in the YALU
Ezekiel 13 in the YAPE
Ezekiel 13 in the YBVTP
Ezekiel 13 in the ZBP