Ezekiel 17 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero; 3 obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni. 4 N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’ 5 “ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu, 6 n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’ 7 “ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire. 8 Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’ 9 “Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo. 10 Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ” 11 Awo ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 12 “Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni. 13 N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi, 14 obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera. 15 Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’ 16 “ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera MUKAMA Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. 17 Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi. 18 Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona. 19 “ ‘MUKAMA Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya. 20 Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi. 21 Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze MUKAMA, nze nkyogedde. 22 “ ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. 23 Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo. 24 Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze MUKAMA ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze.“ ‘Nze MUKAMA Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

In Other Versions

Ezekiel 17 in the ANGEFD

Ezekiel 17 in the ANTPNG2D

Ezekiel 17 in the AS21

Ezekiel 17 in the BAGH

Ezekiel 17 in the BBPNG

Ezekiel 17 in the BBT1E

Ezekiel 17 in the BDS

Ezekiel 17 in the BEV

Ezekiel 17 in the BHAD

Ezekiel 17 in the BIB

Ezekiel 17 in the BLPT

Ezekiel 17 in the BNT

Ezekiel 17 in the BNTABOOT

Ezekiel 17 in the BNTLV

Ezekiel 17 in the BOATCB

Ezekiel 17 in the BOATCB2

Ezekiel 17 in the BOBCV

Ezekiel 17 in the BOCNT

Ezekiel 17 in the BOECS

Ezekiel 17 in the BOGWICC

Ezekiel 17 in the BOHCB

Ezekiel 17 in the BOHCV

Ezekiel 17 in the BOHLNT

Ezekiel 17 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 17 in the BOICB

Ezekiel 17 in the BOILNTAP

Ezekiel 17 in the BOITCV

Ezekiel 17 in the BOKCV

Ezekiel 17 in the BOKCV2

Ezekiel 17 in the BOKHWOG

Ezekiel 17 in the BOKSSV

Ezekiel 17 in the BOLCB2

Ezekiel 17 in the BOMCV

Ezekiel 17 in the BONAV

Ezekiel 17 in the BONCB

Ezekiel 17 in the BONLT

Ezekiel 17 in the BONUT2

Ezekiel 17 in the BOPLNT

Ezekiel 17 in the BOSCB

Ezekiel 17 in the BOSNC

Ezekiel 17 in the BOTLNT

Ezekiel 17 in the BOVCB

Ezekiel 17 in the BOYCB

Ezekiel 17 in the BPBB

Ezekiel 17 in the BPH

Ezekiel 17 in the BSB

Ezekiel 17 in the CCB

Ezekiel 17 in the CUV

Ezekiel 17 in the CUVS

Ezekiel 17 in the DBT

Ezekiel 17 in the DGDNT

Ezekiel 17 in the DHNT

Ezekiel 17 in the DNT

Ezekiel 17 in the ELBE

Ezekiel 17 in the EMTV

Ezekiel 17 in the ESV

Ezekiel 17 in the FBV

Ezekiel 17 in the FEB

Ezekiel 17 in the GGMNT

Ezekiel 17 in the GNT

Ezekiel 17 in the HARY

Ezekiel 17 in the HNT

Ezekiel 17 in the IRVA

Ezekiel 17 in the IRVB

Ezekiel 17 in the IRVG

Ezekiel 17 in the IRVH

Ezekiel 17 in the IRVK

Ezekiel 17 in the IRVM

Ezekiel 17 in the IRVM2

Ezekiel 17 in the IRVO

Ezekiel 17 in the IRVP

Ezekiel 17 in the IRVT

Ezekiel 17 in the IRVT2

Ezekiel 17 in the IRVU

Ezekiel 17 in the ISVN

Ezekiel 17 in the JSNT

Ezekiel 17 in the KAPI

Ezekiel 17 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 17 in the KBV

Ezekiel 17 in the KJV

Ezekiel 17 in the KNFD

Ezekiel 17 in the LBA

Ezekiel 17 in the LBLA

Ezekiel 17 in the LNT

Ezekiel 17 in the LSV

Ezekiel 17 in the MAAL

Ezekiel 17 in the MBV

Ezekiel 17 in the MBV2

Ezekiel 17 in the MHNT

Ezekiel 17 in the MKNFD

Ezekiel 17 in the MNG

Ezekiel 17 in the MNT

Ezekiel 17 in the MNT2

Ezekiel 17 in the MRS1T

Ezekiel 17 in the NAA

Ezekiel 17 in the NASB

Ezekiel 17 in the NBLA

Ezekiel 17 in the NBS

Ezekiel 17 in the NBVTP

Ezekiel 17 in the NET2

Ezekiel 17 in the NIV11

Ezekiel 17 in the NNT

Ezekiel 17 in the NNT2

Ezekiel 17 in the NNT3

Ezekiel 17 in the PDDPT

Ezekiel 17 in the PFNT

Ezekiel 17 in the RMNT

Ezekiel 17 in the SBIAS

Ezekiel 17 in the SBIBS

Ezekiel 17 in the SBIBS2

Ezekiel 17 in the SBICS

Ezekiel 17 in the SBIDS

Ezekiel 17 in the SBIGS

Ezekiel 17 in the SBIHS

Ezekiel 17 in the SBIIS

Ezekiel 17 in the SBIIS2

Ezekiel 17 in the SBIIS3

Ezekiel 17 in the SBIKS

Ezekiel 17 in the SBIKS2

Ezekiel 17 in the SBIMS

Ezekiel 17 in the SBIOS

Ezekiel 17 in the SBIPS

Ezekiel 17 in the SBISS

Ezekiel 17 in the SBITS

Ezekiel 17 in the SBITS2

Ezekiel 17 in the SBITS3

Ezekiel 17 in the SBITS4

Ezekiel 17 in the SBIUS

Ezekiel 17 in the SBIVS

Ezekiel 17 in the SBT

Ezekiel 17 in the SBT1E

Ezekiel 17 in the SCHL

Ezekiel 17 in the SNT

Ezekiel 17 in the SUSU

Ezekiel 17 in the SUSU2

Ezekiel 17 in the SYNO

Ezekiel 17 in the TBIAOTANT

Ezekiel 17 in the TBT1E

Ezekiel 17 in the TBT1E2

Ezekiel 17 in the TFTIP

Ezekiel 17 in the TFTU

Ezekiel 17 in the TGNTATF3T

Ezekiel 17 in the THAI

Ezekiel 17 in the TNFD

Ezekiel 17 in the TNT

Ezekiel 17 in the TNTIK

Ezekiel 17 in the TNTIL

Ezekiel 17 in the TNTIN

Ezekiel 17 in the TNTIP

Ezekiel 17 in the TNTIZ

Ezekiel 17 in the TOMA

Ezekiel 17 in the TTENT

Ezekiel 17 in the UBG

Ezekiel 17 in the UGV

Ezekiel 17 in the UGV2

Ezekiel 17 in the UGV3

Ezekiel 17 in the VBL

Ezekiel 17 in the VDCC

Ezekiel 17 in the YALU

Ezekiel 17 in the YAPE

Ezekiel 17 in the YBVTP

Ezekiel 17 in the ZBP