Ezekiel 24 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. 3 Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,musseemu amazzi. 4 Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi, 5 mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,Oteeke ebisiki wansi w’entamu,mweseze ebigirimu,era ofumbe n’amagumba agalimu. 6 “ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,ggwe entamu eriko enziro,eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.Gyamu ekifi kimu kimuawatali kukuba kalulu. 7 “ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,yaguyiwa ku lwazi olwereere;teyaguyiwa wansienfuufu ereme okugubikka. 8 Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwangan’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,guleme okubikkibwako. 9 “ ‘MUKAMA Katonda kyava ayogera nti,“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!Nange ndituuma enku nnyingi ddala. 10 Mutuume ebisiki,mukume omuliro,ennyama mugifumbe bulungi,mugiteekemu ebirungo,n’amagumba gasiriire. 11 Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,n’ebyateekebbwamu ne byokebwa. 12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,n’omuliro nagwo tegubyokeza. 13 “ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana. 14 “ ‘Nze MUKAMA njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera MUKAMA Katonda.’ ” 15 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 “Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba. 17 Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.” 18 Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa. 19 Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?” 20 Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya MUKAMA kyanzijira n’aŋŋamba nti, 21 Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala. 22 Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe. 23 Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku. 24 Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze MUKAMA Katonda.’ 25 “Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe, 26 ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire. 27 Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze MUKAMA.”
In Other Versions
Ezekiel 24 in the ANGEFD
Ezekiel 24 in the ANTPNG2D
Ezekiel 24 in the AS21
Ezekiel 24 in the BAGH
Ezekiel 24 in the BBPNG
Ezekiel 24 in the BBT1E
Ezekiel 24 in the BDS
Ezekiel 24 in the BEV
Ezekiel 24 in the BHAD
Ezekiel 24 in the BIB
Ezekiel 24 in the BLPT
Ezekiel 24 in the BNT
Ezekiel 24 in the BNTABOOT
Ezekiel 24 in the BNTLV
Ezekiel 24 in the BOATCB
Ezekiel 24 in the BOATCB2
Ezekiel 24 in the BOBCV
Ezekiel 24 in the BOCNT
Ezekiel 24 in the BOECS
Ezekiel 24 in the BOGWICC
Ezekiel 24 in the BOHCB
Ezekiel 24 in the BOHCV
Ezekiel 24 in the BOHLNT
Ezekiel 24 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 24 in the BOICB
Ezekiel 24 in the BOILNTAP
Ezekiel 24 in the BOITCV
Ezekiel 24 in the BOKCV
Ezekiel 24 in the BOKCV2
Ezekiel 24 in the BOKHWOG
Ezekiel 24 in the BOKSSV
Ezekiel 24 in the BOLCB2
Ezekiel 24 in the BOMCV
Ezekiel 24 in the BONAV
Ezekiel 24 in the BONCB
Ezekiel 24 in the BONLT
Ezekiel 24 in the BONUT2
Ezekiel 24 in the BOPLNT
Ezekiel 24 in the BOSCB
Ezekiel 24 in the BOSNC
Ezekiel 24 in the BOTLNT
Ezekiel 24 in the BOVCB
Ezekiel 24 in the BOYCB
Ezekiel 24 in the BPBB
Ezekiel 24 in the BPH
Ezekiel 24 in the BSB
Ezekiel 24 in the CCB
Ezekiel 24 in the CUV
Ezekiel 24 in the CUVS
Ezekiel 24 in the DBT
Ezekiel 24 in the DGDNT
Ezekiel 24 in the DHNT
Ezekiel 24 in the DNT
Ezekiel 24 in the ELBE
Ezekiel 24 in the EMTV
Ezekiel 24 in the ESV
Ezekiel 24 in the FBV
Ezekiel 24 in the FEB
Ezekiel 24 in the GGMNT
Ezekiel 24 in the GNT
Ezekiel 24 in the HARY
Ezekiel 24 in the HNT
Ezekiel 24 in the IRVA
Ezekiel 24 in the IRVB
Ezekiel 24 in the IRVG
Ezekiel 24 in the IRVH
Ezekiel 24 in the IRVK
Ezekiel 24 in the IRVM
Ezekiel 24 in the IRVM2
Ezekiel 24 in the IRVO
Ezekiel 24 in the IRVP
Ezekiel 24 in the IRVT
Ezekiel 24 in the IRVT2
Ezekiel 24 in the IRVU
Ezekiel 24 in the ISVN
Ezekiel 24 in the JSNT
Ezekiel 24 in the KAPI
Ezekiel 24 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 24 in the KBV
Ezekiel 24 in the KJV
Ezekiel 24 in the KNFD
Ezekiel 24 in the LBA
Ezekiel 24 in the LBLA
Ezekiel 24 in the LNT
Ezekiel 24 in the LSV
Ezekiel 24 in the MAAL
Ezekiel 24 in the MBV
Ezekiel 24 in the MBV2
Ezekiel 24 in the MHNT
Ezekiel 24 in the MKNFD
Ezekiel 24 in the MNG
Ezekiel 24 in the MNT
Ezekiel 24 in the MNT2
Ezekiel 24 in the MRS1T
Ezekiel 24 in the NAA
Ezekiel 24 in the NASB
Ezekiel 24 in the NBLA
Ezekiel 24 in the NBS
Ezekiel 24 in the NBVTP
Ezekiel 24 in the NET2
Ezekiel 24 in the NIV11
Ezekiel 24 in the NNT
Ezekiel 24 in the NNT2
Ezekiel 24 in the NNT3
Ezekiel 24 in the PDDPT
Ezekiel 24 in the PFNT
Ezekiel 24 in the RMNT
Ezekiel 24 in the SBIAS
Ezekiel 24 in the SBIBS
Ezekiel 24 in the SBIBS2
Ezekiel 24 in the SBICS
Ezekiel 24 in the SBIDS
Ezekiel 24 in the SBIGS
Ezekiel 24 in the SBIHS
Ezekiel 24 in the SBIIS
Ezekiel 24 in the SBIIS2
Ezekiel 24 in the SBIIS3
Ezekiel 24 in the SBIKS
Ezekiel 24 in the SBIKS2
Ezekiel 24 in the SBIMS
Ezekiel 24 in the SBIOS
Ezekiel 24 in the SBIPS
Ezekiel 24 in the SBISS
Ezekiel 24 in the SBITS
Ezekiel 24 in the SBITS2
Ezekiel 24 in the SBITS3
Ezekiel 24 in the SBITS4
Ezekiel 24 in the SBIUS
Ezekiel 24 in the SBIVS
Ezekiel 24 in the SBT
Ezekiel 24 in the SBT1E
Ezekiel 24 in the SCHL
Ezekiel 24 in the SNT
Ezekiel 24 in the SUSU
Ezekiel 24 in the SUSU2
Ezekiel 24 in the SYNO
Ezekiel 24 in the TBIAOTANT
Ezekiel 24 in the TBT1E
Ezekiel 24 in the TBT1E2
Ezekiel 24 in the TFTIP
Ezekiel 24 in the TFTU
Ezekiel 24 in the TGNTATF3T
Ezekiel 24 in the THAI
Ezekiel 24 in the TNFD
Ezekiel 24 in the TNT
Ezekiel 24 in the TNTIK
Ezekiel 24 in the TNTIL
Ezekiel 24 in the TNTIN
Ezekiel 24 in the TNTIP
Ezekiel 24 in the TNTIZ
Ezekiel 24 in the TOMA
Ezekiel 24 in the TTENT
Ezekiel 24 in the UBG
Ezekiel 24 in the UGV
Ezekiel 24 in the UGV2
Ezekiel 24 in the UGV3
Ezekiel 24 in the VBL
Ezekiel 24 in the VDCC
Ezekiel 24 in the YALU
Ezekiel 24 in the YAPE
Ezekiel 24 in the YBVTP
Ezekiel 24 in the ZBP