Ezekiel 29 (BOLCB)

1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. 3 Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,ogwogera nti, “Kiyira wange,era nze nnamwekolera.” 4 Nditeeka amalobo mu mba zo,era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.Ndikusikayo mu migga gyong’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go. 5 Ndikutwala mu ddungu,ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.Oligwa ku ttale,so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.Ndikuwaayo okuba emmereeri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga. 6 Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze MUKAMA Katonda.“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. 7 Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe. 8 “ ‘MUKAMA Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. 9 Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze MUKAMA Katonda.“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 10 kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11 Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi. 13 “ ‘Naye MUKAMA Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze MUKAMA Katonda.’ ” 17 Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 “Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 21 “Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze MUKAMA.”

In Other Versions

Ezekiel 29 in the ANGEFD

Ezekiel 29 in the ANTPNG2D

Ezekiel 29 in the AS21

Ezekiel 29 in the BAGH

Ezekiel 29 in the BBPNG

Ezekiel 29 in the BBT1E

Ezekiel 29 in the BDS

Ezekiel 29 in the BEV

Ezekiel 29 in the BHAD

Ezekiel 29 in the BIB

Ezekiel 29 in the BLPT

Ezekiel 29 in the BNT

Ezekiel 29 in the BNTABOOT

Ezekiel 29 in the BNTLV

Ezekiel 29 in the BOATCB

Ezekiel 29 in the BOATCB2

Ezekiel 29 in the BOBCV

Ezekiel 29 in the BOCNT

Ezekiel 29 in the BOECS

Ezekiel 29 in the BOGWICC

Ezekiel 29 in the BOHCB

Ezekiel 29 in the BOHCV

Ezekiel 29 in the BOHLNT

Ezekiel 29 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 29 in the BOICB

Ezekiel 29 in the BOILNTAP

Ezekiel 29 in the BOITCV

Ezekiel 29 in the BOKCV

Ezekiel 29 in the BOKCV2

Ezekiel 29 in the BOKHWOG

Ezekiel 29 in the BOKSSV

Ezekiel 29 in the BOLCB2

Ezekiel 29 in the BOMCV

Ezekiel 29 in the BONAV

Ezekiel 29 in the BONCB

Ezekiel 29 in the BONLT

Ezekiel 29 in the BONUT2

Ezekiel 29 in the BOPLNT

Ezekiel 29 in the BOSCB

Ezekiel 29 in the BOSNC

Ezekiel 29 in the BOTLNT

Ezekiel 29 in the BOVCB

Ezekiel 29 in the BOYCB

Ezekiel 29 in the BPBB

Ezekiel 29 in the BPH

Ezekiel 29 in the BSB

Ezekiel 29 in the CCB

Ezekiel 29 in the CUV

Ezekiel 29 in the CUVS

Ezekiel 29 in the DBT

Ezekiel 29 in the DGDNT

Ezekiel 29 in the DHNT

Ezekiel 29 in the DNT

Ezekiel 29 in the ELBE

Ezekiel 29 in the EMTV

Ezekiel 29 in the ESV

Ezekiel 29 in the FBV

Ezekiel 29 in the FEB

Ezekiel 29 in the GGMNT

Ezekiel 29 in the GNT

Ezekiel 29 in the HARY

Ezekiel 29 in the HNT

Ezekiel 29 in the IRVA

Ezekiel 29 in the IRVB

Ezekiel 29 in the IRVG

Ezekiel 29 in the IRVH

Ezekiel 29 in the IRVK

Ezekiel 29 in the IRVM

Ezekiel 29 in the IRVM2

Ezekiel 29 in the IRVO

Ezekiel 29 in the IRVP

Ezekiel 29 in the IRVT

Ezekiel 29 in the IRVT2

Ezekiel 29 in the IRVU

Ezekiel 29 in the ISVN

Ezekiel 29 in the JSNT

Ezekiel 29 in the KAPI

Ezekiel 29 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 29 in the KBV

Ezekiel 29 in the KJV

Ezekiel 29 in the KNFD

Ezekiel 29 in the LBA

Ezekiel 29 in the LBLA

Ezekiel 29 in the LNT

Ezekiel 29 in the LSV

Ezekiel 29 in the MAAL

Ezekiel 29 in the MBV

Ezekiel 29 in the MBV2

Ezekiel 29 in the MHNT

Ezekiel 29 in the MKNFD

Ezekiel 29 in the MNG

Ezekiel 29 in the MNT

Ezekiel 29 in the MNT2

Ezekiel 29 in the MRS1T

Ezekiel 29 in the NAA

Ezekiel 29 in the NASB

Ezekiel 29 in the NBLA

Ezekiel 29 in the NBS

Ezekiel 29 in the NBVTP

Ezekiel 29 in the NET2

Ezekiel 29 in the NIV11

Ezekiel 29 in the NNT

Ezekiel 29 in the NNT2

Ezekiel 29 in the NNT3

Ezekiel 29 in the PDDPT

Ezekiel 29 in the PFNT

Ezekiel 29 in the RMNT

Ezekiel 29 in the SBIAS

Ezekiel 29 in the SBIBS

Ezekiel 29 in the SBIBS2

Ezekiel 29 in the SBICS

Ezekiel 29 in the SBIDS

Ezekiel 29 in the SBIGS

Ezekiel 29 in the SBIHS

Ezekiel 29 in the SBIIS

Ezekiel 29 in the SBIIS2

Ezekiel 29 in the SBIIS3

Ezekiel 29 in the SBIKS

Ezekiel 29 in the SBIKS2

Ezekiel 29 in the SBIMS

Ezekiel 29 in the SBIOS

Ezekiel 29 in the SBIPS

Ezekiel 29 in the SBISS

Ezekiel 29 in the SBITS

Ezekiel 29 in the SBITS2

Ezekiel 29 in the SBITS3

Ezekiel 29 in the SBITS4

Ezekiel 29 in the SBIUS

Ezekiel 29 in the SBIVS

Ezekiel 29 in the SBT

Ezekiel 29 in the SBT1E

Ezekiel 29 in the SCHL

Ezekiel 29 in the SNT

Ezekiel 29 in the SUSU

Ezekiel 29 in the SUSU2

Ezekiel 29 in the SYNO

Ezekiel 29 in the TBIAOTANT

Ezekiel 29 in the TBT1E

Ezekiel 29 in the TBT1E2

Ezekiel 29 in the TFTIP

Ezekiel 29 in the TFTU

Ezekiel 29 in the TGNTATF3T

Ezekiel 29 in the THAI

Ezekiel 29 in the TNFD

Ezekiel 29 in the TNT

Ezekiel 29 in the TNTIK

Ezekiel 29 in the TNTIL

Ezekiel 29 in the TNTIN

Ezekiel 29 in the TNTIP

Ezekiel 29 in the TNTIZ

Ezekiel 29 in the TOMA

Ezekiel 29 in the TTENT

Ezekiel 29 in the UBG

Ezekiel 29 in the UGV

Ezekiel 29 in the UGV2

Ezekiel 29 in the UGV3

Ezekiel 29 in the VBL

Ezekiel 29 in the VDCC

Ezekiel 29 in the YALU

Ezekiel 29 in the YAPE

Ezekiel 29 in the YBVTP

Ezekiel 29 in the ZBP