Ezekiel 33 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira nate n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe, 3 n’alaba ekitala nga kijja eri ensi, n’afuuwa ekkondeere ng’alabula abantu, 4 awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. 5 Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe. 6 Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’ 7 “Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi ow’ennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule. 8 Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe. 9 Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo. 10 “Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’ 11 Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera MUKAMA Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’ 12 “Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’ 13 Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira. 14 Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu, 15 era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 16 Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu. 17 “Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya. 18 Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye. 19 Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze. 20 Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.” 21 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.” 22 Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa MUKAMA gwali gunziseeko, ng’asumuludde akamwa kange, omusajja n’alyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga sikyali kasiru. 23 Awo ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 24 “Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’ 25 Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi? 26 Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’ 27 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli. 28 Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era n’amaanyi ge yeewaana nago galikoma, era n’ensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba n’omu azitambulirako. 29 Olwo balimanya nga nze MUKAMA Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olw’ebikolwa eby’ekivve bye bakoze.’  30 “Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri MUKAMA Katonda,’ 31 abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe, 32 laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola. 33 “Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.”

In Other Versions

Ezekiel 33 in the ANGEFD

Ezekiel 33 in the ANTPNG2D

Ezekiel 33 in the AS21

Ezekiel 33 in the BAGH

Ezekiel 33 in the BBPNG

Ezekiel 33 in the BBT1E

Ezekiel 33 in the BDS

Ezekiel 33 in the BEV

Ezekiel 33 in the BHAD

Ezekiel 33 in the BIB

Ezekiel 33 in the BLPT

Ezekiel 33 in the BNT

Ezekiel 33 in the BNTABOOT

Ezekiel 33 in the BNTLV

Ezekiel 33 in the BOATCB

Ezekiel 33 in the BOATCB2

Ezekiel 33 in the BOBCV

Ezekiel 33 in the BOCNT

Ezekiel 33 in the BOECS

Ezekiel 33 in the BOGWICC

Ezekiel 33 in the BOHCB

Ezekiel 33 in the BOHCV

Ezekiel 33 in the BOHLNT

Ezekiel 33 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 33 in the BOICB

Ezekiel 33 in the BOILNTAP

Ezekiel 33 in the BOITCV

Ezekiel 33 in the BOKCV

Ezekiel 33 in the BOKCV2

Ezekiel 33 in the BOKHWOG

Ezekiel 33 in the BOKSSV

Ezekiel 33 in the BOLCB2

Ezekiel 33 in the BOMCV

Ezekiel 33 in the BONAV

Ezekiel 33 in the BONCB

Ezekiel 33 in the BONLT

Ezekiel 33 in the BONUT2

Ezekiel 33 in the BOPLNT

Ezekiel 33 in the BOSCB

Ezekiel 33 in the BOSNC

Ezekiel 33 in the BOTLNT

Ezekiel 33 in the BOVCB

Ezekiel 33 in the BOYCB

Ezekiel 33 in the BPBB

Ezekiel 33 in the BPH

Ezekiel 33 in the BSB

Ezekiel 33 in the CCB

Ezekiel 33 in the CUV

Ezekiel 33 in the CUVS

Ezekiel 33 in the DBT

Ezekiel 33 in the DGDNT

Ezekiel 33 in the DHNT

Ezekiel 33 in the DNT

Ezekiel 33 in the ELBE

Ezekiel 33 in the EMTV

Ezekiel 33 in the ESV

Ezekiel 33 in the FBV

Ezekiel 33 in the FEB

Ezekiel 33 in the GGMNT

Ezekiel 33 in the GNT

Ezekiel 33 in the HARY

Ezekiel 33 in the HNT

Ezekiel 33 in the IRVA

Ezekiel 33 in the IRVB

Ezekiel 33 in the IRVG

Ezekiel 33 in the IRVH

Ezekiel 33 in the IRVK

Ezekiel 33 in the IRVM

Ezekiel 33 in the IRVM2

Ezekiel 33 in the IRVO

Ezekiel 33 in the IRVP

Ezekiel 33 in the IRVT

Ezekiel 33 in the IRVT2

Ezekiel 33 in the IRVU

Ezekiel 33 in the ISVN

Ezekiel 33 in the JSNT

Ezekiel 33 in the KAPI

Ezekiel 33 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 33 in the KBV

Ezekiel 33 in the KJV

Ezekiel 33 in the KNFD

Ezekiel 33 in the LBA

Ezekiel 33 in the LBLA

Ezekiel 33 in the LNT

Ezekiel 33 in the LSV

Ezekiel 33 in the MAAL

Ezekiel 33 in the MBV

Ezekiel 33 in the MBV2

Ezekiel 33 in the MHNT

Ezekiel 33 in the MKNFD

Ezekiel 33 in the MNG

Ezekiel 33 in the MNT

Ezekiel 33 in the MNT2

Ezekiel 33 in the MRS1T

Ezekiel 33 in the NAA

Ezekiel 33 in the NASB

Ezekiel 33 in the NBLA

Ezekiel 33 in the NBS

Ezekiel 33 in the NBVTP

Ezekiel 33 in the NET2

Ezekiel 33 in the NIV11

Ezekiel 33 in the NNT

Ezekiel 33 in the NNT2

Ezekiel 33 in the NNT3

Ezekiel 33 in the PDDPT

Ezekiel 33 in the PFNT

Ezekiel 33 in the RMNT

Ezekiel 33 in the SBIAS

Ezekiel 33 in the SBIBS

Ezekiel 33 in the SBIBS2

Ezekiel 33 in the SBICS

Ezekiel 33 in the SBIDS

Ezekiel 33 in the SBIGS

Ezekiel 33 in the SBIHS

Ezekiel 33 in the SBIIS

Ezekiel 33 in the SBIIS2

Ezekiel 33 in the SBIIS3

Ezekiel 33 in the SBIKS

Ezekiel 33 in the SBIKS2

Ezekiel 33 in the SBIMS

Ezekiel 33 in the SBIOS

Ezekiel 33 in the SBIPS

Ezekiel 33 in the SBISS

Ezekiel 33 in the SBITS

Ezekiel 33 in the SBITS2

Ezekiel 33 in the SBITS3

Ezekiel 33 in the SBITS4

Ezekiel 33 in the SBIUS

Ezekiel 33 in the SBIVS

Ezekiel 33 in the SBT

Ezekiel 33 in the SBT1E

Ezekiel 33 in the SCHL

Ezekiel 33 in the SNT

Ezekiel 33 in the SUSU

Ezekiel 33 in the SUSU2

Ezekiel 33 in the SYNO

Ezekiel 33 in the TBIAOTANT

Ezekiel 33 in the TBT1E

Ezekiel 33 in the TBT1E2

Ezekiel 33 in the TFTIP

Ezekiel 33 in the TFTU

Ezekiel 33 in the TGNTATF3T

Ezekiel 33 in the THAI

Ezekiel 33 in the TNFD

Ezekiel 33 in the TNT

Ezekiel 33 in the TNTIK

Ezekiel 33 in the TNTIL

Ezekiel 33 in the TNTIN

Ezekiel 33 in the TNTIP

Ezekiel 33 in the TNTIZ

Ezekiel 33 in the TOMA

Ezekiel 33 in the TTENT

Ezekiel 33 in the UBG

Ezekiel 33 in the UGV

Ezekiel 33 in the UGV2

Ezekiel 33 in the UGV3

Ezekiel 33 in the VBL

Ezekiel 33 in the VDCC

Ezekiel 33 in the YALU

Ezekiel 33 in the YAPE

Ezekiel 33 in the YBVTP

Ezekiel 33 in the ZBP