Ezekiel 43 (BOLCB)

1 Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba, 2 ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye. 3 Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama. 4 Awo ekitiibwa kya MUKAMA ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, 5 Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya MUKAMA ne kijjula yeekaalu. 6 Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu; 7 n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu. 8 Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange. 9 Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna. 10 “Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. 11 Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu. 12 “Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu. 13 “Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba: 14 okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana. 15 Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana. 16 Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga. 17 Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.” 18 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa. 19 Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera MUKAMA Katonda. 20 Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira. 21 Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu. 22 “Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume. 23 Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo. 24 Mulizireeta mu maaso ga MUKAMA, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA. 25 “Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo. 26 Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda. 27 Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera MUKAMA Katonda.”

In Other Versions

Ezekiel 43 in the ANGEFD

Ezekiel 43 in the ANTPNG2D

Ezekiel 43 in the AS21

Ezekiel 43 in the BAGH

Ezekiel 43 in the BBPNG

Ezekiel 43 in the BBT1E

Ezekiel 43 in the BDS

Ezekiel 43 in the BEV

Ezekiel 43 in the BHAD

Ezekiel 43 in the BIB

Ezekiel 43 in the BLPT

Ezekiel 43 in the BNT

Ezekiel 43 in the BNTABOOT

Ezekiel 43 in the BNTLV

Ezekiel 43 in the BOATCB

Ezekiel 43 in the BOATCB2

Ezekiel 43 in the BOBCV

Ezekiel 43 in the BOCNT

Ezekiel 43 in the BOECS

Ezekiel 43 in the BOGWICC

Ezekiel 43 in the BOHCB

Ezekiel 43 in the BOHCV

Ezekiel 43 in the BOHLNT

Ezekiel 43 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 43 in the BOICB

Ezekiel 43 in the BOILNTAP

Ezekiel 43 in the BOITCV

Ezekiel 43 in the BOKCV

Ezekiel 43 in the BOKCV2

Ezekiel 43 in the BOKHWOG

Ezekiel 43 in the BOKSSV

Ezekiel 43 in the BOLCB2

Ezekiel 43 in the BOMCV

Ezekiel 43 in the BONAV

Ezekiel 43 in the BONCB

Ezekiel 43 in the BONLT

Ezekiel 43 in the BONUT2

Ezekiel 43 in the BOPLNT

Ezekiel 43 in the BOSCB

Ezekiel 43 in the BOSNC

Ezekiel 43 in the BOTLNT

Ezekiel 43 in the BOVCB

Ezekiel 43 in the BOYCB

Ezekiel 43 in the BPBB

Ezekiel 43 in the BPH

Ezekiel 43 in the BSB

Ezekiel 43 in the CCB

Ezekiel 43 in the CUV

Ezekiel 43 in the CUVS

Ezekiel 43 in the DBT

Ezekiel 43 in the DGDNT

Ezekiel 43 in the DHNT

Ezekiel 43 in the DNT

Ezekiel 43 in the ELBE

Ezekiel 43 in the EMTV

Ezekiel 43 in the ESV

Ezekiel 43 in the FBV

Ezekiel 43 in the FEB

Ezekiel 43 in the GGMNT

Ezekiel 43 in the GNT

Ezekiel 43 in the HARY

Ezekiel 43 in the HNT

Ezekiel 43 in the IRVA

Ezekiel 43 in the IRVB

Ezekiel 43 in the IRVG

Ezekiel 43 in the IRVH

Ezekiel 43 in the IRVK

Ezekiel 43 in the IRVM

Ezekiel 43 in the IRVM2

Ezekiel 43 in the IRVO

Ezekiel 43 in the IRVP

Ezekiel 43 in the IRVT

Ezekiel 43 in the IRVT2

Ezekiel 43 in the IRVU

Ezekiel 43 in the ISVN

Ezekiel 43 in the JSNT

Ezekiel 43 in the KAPI

Ezekiel 43 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 43 in the KBV

Ezekiel 43 in the KJV

Ezekiel 43 in the KNFD

Ezekiel 43 in the LBA

Ezekiel 43 in the LBLA

Ezekiel 43 in the LNT

Ezekiel 43 in the LSV

Ezekiel 43 in the MAAL

Ezekiel 43 in the MBV

Ezekiel 43 in the MBV2

Ezekiel 43 in the MHNT

Ezekiel 43 in the MKNFD

Ezekiel 43 in the MNG

Ezekiel 43 in the MNT

Ezekiel 43 in the MNT2

Ezekiel 43 in the MRS1T

Ezekiel 43 in the NAA

Ezekiel 43 in the NASB

Ezekiel 43 in the NBLA

Ezekiel 43 in the NBS

Ezekiel 43 in the NBVTP

Ezekiel 43 in the NET2

Ezekiel 43 in the NIV11

Ezekiel 43 in the NNT

Ezekiel 43 in the NNT2

Ezekiel 43 in the NNT3

Ezekiel 43 in the PDDPT

Ezekiel 43 in the PFNT

Ezekiel 43 in the RMNT

Ezekiel 43 in the SBIAS

Ezekiel 43 in the SBIBS

Ezekiel 43 in the SBIBS2

Ezekiel 43 in the SBICS

Ezekiel 43 in the SBIDS

Ezekiel 43 in the SBIGS

Ezekiel 43 in the SBIHS

Ezekiel 43 in the SBIIS

Ezekiel 43 in the SBIIS2

Ezekiel 43 in the SBIIS3

Ezekiel 43 in the SBIKS

Ezekiel 43 in the SBIKS2

Ezekiel 43 in the SBIMS

Ezekiel 43 in the SBIOS

Ezekiel 43 in the SBIPS

Ezekiel 43 in the SBISS

Ezekiel 43 in the SBITS

Ezekiel 43 in the SBITS2

Ezekiel 43 in the SBITS3

Ezekiel 43 in the SBITS4

Ezekiel 43 in the SBIUS

Ezekiel 43 in the SBIVS

Ezekiel 43 in the SBT

Ezekiel 43 in the SBT1E

Ezekiel 43 in the SCHL

Ezekiel 43 in the SNT

Ezekiel 43 in the SUSU

Ezekiel 43 in the SUSU2

Ezekiel 43 in the SYNO

Ezekiel 43 in the TBIAOTANT

Ezekiel 43 in the TBT1E

Ezekiel 43 in the TBT1E2

Ezekiel 43 in the TFTIP

Ezekiel 43 in the TFTU

Ezekiel 43 in the TGNTATF3T

Ezekiel 43 in the THAI

Ezekiel 43 in the TNFD

Ezekiel 43 in the TNT

Ezekiel 43 in the TNTIK

Ezekiel 43 in the TNTIL

Ezekiel 43 in the TNTIN

Ezekiel 43 in the TNTIP

Ezekiel 43 in the TNTIZ

Ezekiel 43 in the TOMA

Ezekiel 43 in the TTENT

Ezekiel 43 in the UBG

Ezekiel 43 in the UGV

Ezekiel 43 in the UGV2

Ezekiel 43 in the UGV3

Ezekiel 43 in the VBL

Ezekiel 43 in the VDCC

Ezekiel 43 in the YALU

Ezekiel 43 in the YAPE

Ezekiel 43 in the YBVTP

Ezekiel 43 in the ZBP