Galatians 4 (BOLCB)
1 Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. 2 Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. 3 Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. 4 Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we 5 eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. 6 Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” 7 Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda. 8 Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. 9 Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere. 12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima? 17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe. 21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza. 24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 Kubanga kyawandiikibwa nti,“Sanyukaggwe omugumba atazaala.Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwangukanewaakubadde nga tozaalanga ku mwana.Kubanga ndikuwa abaana bangi,abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.” 28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.
In Other Versions
Galatians 4 in the ANGEFD
Galatians 4 in the ANTPNG2D
Galatians 4 in the AS21
Galatians 4 in the BAGH
Galatians 4 in the BBPNG
Galatians 4 in the BBT1E
Galatians 4 in the BDS
Galatians 4 in the BEV
Galatians 4 in the BHAD
Galatians 4 in the BIB
Galatians 4 in the BLPT
Galatians 4 in the BNT
Galatians 4 in the BNTABOOT
Galatians 4 in the BNTLV
Galatians 4 in the BOATCB
Galatians 4 in the BOATCB2
Galatians 4 in the BOBCV
Galatians 4 in the BOCNT
Galatians 4 in the BOECS
Galatians 4 in the BOGWICC
Galatians 4 in the BOHCB
Galatians 4 in the BOHCV
Galatians 4 in the BOHLNT
Galatians 4 in the BOHNTLTAL
Galatians 4 in the BOICB
Galatians 4 in the BOILNTAP
Galatians 4 in the BOITCV
Galatians 4 in the BOKCV
Galatians 4 in the BOKCV2
Galatians 4 in the BOKHWOG
Galatians 4 in the BOKSSV
Galatians 4 in the BOLCB2
Galatians 4 in the BOMCV
Galatians 4 in the BONAV
Galatians 4 in the BONCB
Galatians 4 in the BONLT
Galatians 4 in the BONUT2
Galatians 4 in the BOPLNT
Galatians 4 in the BOSCB
Galatians 4 in the BOSNC
Galatians 4 in the BOTLNT
Galatians 4 in the BOVCB
Galatians 4 in the BOYCB
Galatians 4 in the BPBB
Galatians 4 in the BPH
Galatians 4 in the BSB
Galatians 4 in the CCB
Galatians 4 in the CUV
Galatians 4 in the CUVS
Galatians 4 in the DBT
Galatians 4 in the DGDNT
Galatians 4 in the DHNT
Galatians 4 in the DNT
Galatians 4 in the ELBE
Galatians 4 in the EMTV
Galatians 4 in the ESV
Galatians 4 in the FBV
Galatians 4 in the FEB
Galatians 4 in the GGMNT
Galatians 4 in the GNT
Galatians 4 in the HARY
Galatians 4 in the HNT
Galatians 4 in the IRVA
Galatians 4 in the IRVB
Galatians 4 in the IRVG
Galatians 4 in the IRVH
Galatians 4 in the IRVK
Galatians 4 in the IRVM
Galatians 4 in the IRVM2
Galatians 4 in the IRVO
Galatians 4 in the IRVP
Galatians 4 in the IRVT
Galatians 4 in the IRVT2
Galatians 4 in the IRVU
Galatians 4 in the ISVN
Galatians 4 in the JSNT
Galatians 4 in the KAPI
Galatians 4 in the KBT1ETNIK
Galatians 4 in the KBV
Galatians 4 in the KJV
Galatians 4 in the KNFD
Galatians 4 in the LBA
Galatians 4 in the LBLA
Galatians 4 in the LNT
Galatians 4 in the LSV
Galatians 4 in the MAAL
Galatians 4 in the MBV
Galatians 4 in the MBV2
Galatians 4 in the MHNT
Galatians 4 in the MKNFD
Galatians 4 in the MNG
Galatians 4 in the MNT
Galatians 4 in the MNT2
Galatians 4 in the MRS1T
Galatians 4 in the NAA
Galatians 4 in the NASB
Galatians 4 in the NBLA
Galatians 4 in the NBS
Galatians 4 in the NBVTP
Galatians 4 in the NET2
Galatians 4 in the NIV11
Galatians 4 in the NNT
Galatians 4 in the NNT2
Galatians 4 in the NNT3
Galatians 4 in the PDDPT
Galatians 4 in the PFNT
Galatians 4 in the RMNT
Galatians 4 in the SBIAS
Galatians 4 in the SBIBS
Galatians 4 in the SBIBS2
Galatians 4 in the SBICS
Galatians 4 in the SBIDS
Galatians 4 in the SBIGS
Galatians 4 in the SBIHS
Galatians 4 in the SBIIS
Galatians 4 in the SBIIS2
Galatians 4 in the SBIIS3
Galatians 4 in the SBIKS
Galatians 4 in the SBIKS2
Galatians 4 in the SBIMS
Galatians 4 in the SBIOS
Galatians 4 in the SBIPS
Galatians 4 in the SBISS
Galatians 4 in the SBITS
Galatians 4 in the SBITS2
Galatians 4 in the SBITS3
Galatians 4 in the SBITS4
Galatians 4 in the SBIUS
Galatians 4 in the SBIVS
Galatians 4 in the SBT
Galatians 4 in the SBT1E
Galatians 4 in the SCHL
Galatians 4 in the SNT
Galatians 4 in the SUSU
Galatians 4 in the SUSU2
Galatians 4 in the SYNO
Galatians 4 in the TBIAOTANT
Galatians 4 in the TBT1E
Galatians 4 in the TBT1E2
Galatians 4 in the TFTIP
Galatians 4 in the TFTU
Galatians 4 in the TGNTATF3T
Galatians 4 in the THAI
Galatians 4 in the TNFD
Galatians 4 in the TNT
Galatians 4 in the TNTIK
Galatians 4 in the TNTIL
Galatians 4 in the TNTIN
Galatians 4 in the TNTIP
Galatians 4 in the TNTIZ
Galatians 4 in the TOMA
Galatians 4 in the TTENT
Galatians 4 in the UBG
Galatians 4 in the UGV
Galatians 4 in the UGV2
Galatians 4 in the UGV3
Galatians 4 in the VBL
Galatians 4 in the VDCC
Galatians 4 in the YALU
Galatians 4 in the YAPE
Galatians 4 in the YBVTP
Galatians 4 in the ZBP