Galatians 5 (BOLCB)

1 Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu. 2 Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. 3 Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. 4 Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. 5 Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. 6 Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala. 7 Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? 8 Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. 9 Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe. 13 Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka. 19 Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda. 22 Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

In Other Versions

Galatians 5 in the ANGEFD

Galatians 5 in the ANTPNG2D

Galatians 5 in the AS21

Galatians 5 in the BAGH

Galatians 5 in the BBPNG

Galatians 5 in the BBT1E

Galatians 5 in the BDS

Galatians 5 in the BEV

Galatians 5 in the BHAD

Galatians 5 in the BIB

Galatians 5 in the BLPT

Galatians 5 in the BNT

Galatians 5 in the BNTABOOT

Galatians 5 in the BNTLV

Galatians 5 in the BOATCB

Galatians 5 in the BOATCB2

Galatians 5 in the BOBCV

Galatians 5 in the BOCNT

Galatians 5 in the BOECS

Galatians 5 in the BOGWICC

Galatians 5 in the BOHCB

Galatians 5 in the BOHCV

Galatians 5 in the BOHLNT

Galatians 5 in the BOHNTLTAL

Galatians 5 in the BOICB

Galatians 5 in the BOILNTAP

Galatians 5 in the BOITCV

Galatians 5 in the BOKCV

Galatians 5 in the BOKCV2

Galatians 5 in the BOKHWOG

Galatians 5 in the BOKSSV

Galatians 5 in the BOLCB2

Galatians 5 in the BOMCV

Galatians 5 in the BONAV

Galatians 5 in the BONCB

Galatians 5 in the BONLT

Galatians 5 in the BONUT2

Galatians 5 in the BOPLNT

Galatians 5 in the BOSCB

Galatians 5 in the BOSNC

Galatians 5 in the BOTLNT

Galatians 5 in the BOVCB

Galatians 5 in the BOYCB

Galatians 5 in the BPBB

Galatians 5 in the BPH

Galatians 5 in the BSB

Galatians 5 in the CCB

Galatians 5 in the CUV

Galatians 5 in the CUVS

Galatians 5 in the DBT

Galatians 5 in the DGDNT

Galatians 5 in the DHNT

Galatians 5 in the DNT

Galatians 5 in the ELBE

Galatians 5 in the EMTV

Galatians 5 in the ESV

Galatians 5 in the FBV

Galatians 5 in the FEB

Galatians 5 in the GGMNT

Galatians 5 in the GNT

Galatians 5 in the HARY

Galatians 5 in the HNT

Galatians 5 in the IRVA

Galatians 5 in the IRVB

Galatians 5 in the IRVG

Galatians 5 in the IRVH

Galatians 5 in the IRVK

Galatians 5 in the IRVM

Galatians 5 in the IRVM2

Galatians 5 in the IRVO

Galatians 5 in the IRVP

Galatians 5 in the IRVT

Galatians 5 in the IRVT2

Galatians 5 in the IRVU

Galatians 5 in the ISVN

Galatians 5 in the JSNT

Galatians 5 in the KAPI

Galatians 5 in the KBT1ETNIK

Galatians 5 in the KBV

Galatians 5 in the KJV

Galatians 5 in the KNFD

Galatians 5 in the LBA

Galatians 5 in the LBLA

Galatians 5 in the LNT

Galatians 5 in the LSV

Galatians 5 in the MAAL

Galatians 5 in the MBV

Galatians 5 in the MBV2

Galatians 5 in the MHNT

Galatians 5 in the MKNFD

Galatians 5 in the MNG

Galatians 5 in the MNT

Galatians 5 in the MNT2

Galatians 5 in the MRS1T

Galatians 5 in the NAA

Galatians 5 in the NASB

Galatians 5 in the NBLA

Galatians 5 in the NBS

Galatians 5 in the NBVTP

Galatians 5 in the NET2

Galatians 5 in the NIV11

Galatians 5 in the NNT

Galatians 5 in the NNT2

Galatians 5 in the NNT3

Galatians 5 in the PDDPT

Galatians 5 in the PFNT

Galatians 5 in the RMNT

Galatians 5 in the SBIAS

Galatians 5 in the SBIBS

Galatians 5 in the SBIBS2

Galatians 5 in the SBICS

Galatians 5 in the SBIDS

Galatians 5 in the SBIGS

Galatians 5 in the SBIHS

Galatians 5 in the SBIIS

Galatians 5 in the SBIIS2

Galatians 5 in the SBIIS3

Galatians 5 in the SBIKS

Galatians 5 in the SBIKS2

Galatians 5 in the SBIMS

Galatians 5 in the SBIOS

Galatians 5 in the SBIPS

Galatians 5 in the SBISS

Galatians 5 in the SBITS

Galatians 5 in the SBITS2

Galatians 5 in the SBITS3

Galatians 5 in the SBITS4

Galatians 5 in the SBIUS

Galatians 5 in the SBIVS

Galatians 5 in the SBT

Galatians 5 in the SBT1E

Galatians 5 in the SCHL

Galatians 5 in the SNT

Galatians 5 in the SUSU

Galatians 5 in the SUSU2

Galatians 5 in the SYNO

Galatians 5 in the TBIAOTANT

Galatians 5 in the TBT1E

Galatians 5 in the TBT1E2

Galatians 5 in the TFTIP

Galatians 5 in the TFTU

Galatians 5 in the TGNTATF3T

Galatians 5 in the THAI

Galatians 5 in the TNFD

Galatians 5 in the TNT

Galatians 5 in the TNTIK

Galatians 5 in the TNTIL

Galatians 5 in the TNTIN

Galatians 5 in the TNTIP

Galatians 5 in the TNTIZ

Galatians 5 in the TOMA

Galatians 5 in the TTENT

Galatians 5 in the UBG

Galatians 5 in the UGV

Galatians 5 in the UGV2

Galatians 5 in the UGV3

Galatians 5 in the VBL

Galatians 5 in the VDCC

Galatians 5 in the YALU

Galatians 5 in the YAPE

Galatians 5 in the YBVTP

Galatians 5 in the ZBP