Genesis 21 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza. 2 Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Katonda kye yamugamba. 3 Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. 4 Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. 5 Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa. 6 Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” 7 Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.” 8 Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere. 9 Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10 N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.” 11 Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12 Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13 Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14 Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba. 15 Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16 Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 17 Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18 Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.” 19 Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi. 20 Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21 Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri. 22 Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola: 23 kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.” 24 Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.” 25 Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako. 26 Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.” 27 Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi. 28 Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye. 29 Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” 30 N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.” 31 Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. 32 Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti. 33 Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya MUKAMA, Katonda Ataggwaawo. 34 Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.

In Other Versions

Genesis 21 in the ANGEFD

Genesis 21 in the ANTPNG2D

Genesis 21 in the AS21

Genesis 21 in the BAGH

Genesis 21 in the BBPNG

Genesis 21 in the BBT1E

Genesis 21 in the BDS

Genesis 21 in the BEV

Genesis 21 in the BHAD

Genesis 21 in the BIB

Genesis 21 in the BLPT

Genesis 21 in the BNT

Genesis 21 in the BNTABOOT

Genesis 21 in the BNTLV

Genesis 21 in the BOATCB

Genesis 21 in the BOATCB2

Genesis 21 in the BOBCV

Genesis 21 in the BOCNT

Genesis 21 in the BOECS

Genesis 21 in the BOGWICC

Genesis 21 in the BOHCB

Genesis 21 in the BOHCV

Genesis 21 in the BOHLNT

Genesis 21 in the BOHNTLTAL

Genesis 21 in the BOICB

Genesis 21 in the BOILNTAP

Genesis 21 in the BOITCV

Genesis 21 in the BOKCV

Genesis 21 in the BOKCV2

Genesis 21 in the BOKHWOG

Genesis 21 in the BOKSSV

Genesis 21 in the BOLCB2

Genesis 21 in the BOMCV

Genesis 21 in the BONAV

Genesis 21 in the BONCB

Genesis 21 in the BONLT

Genesis 21 in the BONUT2

Genesis 21 in the BOPLNT

Genesis 21 in the BOSCB

Genesis 21 in the BOSNC

Genesis 21 in the BOTLNT

Genesis 21 in the BOVCB

Genesis 21 in the BOYCB

Genesis 21 in the BPBB

Genesis 21 in the BPH

Genesis 21 in the BSB

Genesis 21 in the CCB

Genesis 21 in the CUV

Genesis 21 in the CUVS

Genesis 21 in the DBT

Genesis 21 in the DGDNT

Genesis 21 in the DHNT

Genesis 21 in the DNT

Genesis 21 in the ELBE

Genesis 21 in the EMTV

Genesis 21 in the ESV

Genesis 21 in the FBV

Genesis 21 in the FEB

Genesis 21 in the GGMNT

Genesis 21 in the GNT

Genesis 21 in the HARY

Genesis 21 in the HNT

Genesis 21 in the IRVA

Genesis 21 in the IRVB

Genesis 21 in the IRVG

Genesis 21 in the IRVH

Genesis 21 in the IRVK

Genesis 21 in the IRVM

Genesis 21 in the IRVM2

Genesis 21 in the IRVO

Genesis 21 in the IRVP

Genesis 21 in the IRVT

Genesis 21 in the IRVT2

Genesis 21 in the IRVU

Genesis 21 in the ISVN

Genesis 21 in the JSNT

Genesis 21 in the KAPI

Genesis 21 in the KBT1ETNIK

Genesis 21 in the KBV

Genesis 21 in the KJV

Genesis 21 in the KNFD

Genesis 21 in the LBA

Genesis 21 in the LBLA

Genesis 21 in the LNT

Genesis 21 in the LSV

Genesis 21 in the MAAL

Genesis 21 in the MBV

Genesis 21 in the MBV2

Genesis 21 in the MHNT

Genesis 21 in the MKNFD

Genesis 21 in the MNG

Genesis 21 in the MNT

Genesis 21 in the MNT2

Genesis 21 in the MRS1T

Genesis 21 in the NAA

Genesis 21 in the NASB

Genesis 21 in the NBLA

Genesis 21 in the NBS

Genesis 21 in the NBVTP

Genesis 21 in the NET2

Genesis 21 in the NIV11

Genesis 21 in the NNT

Genesis 21 in the NNT2

Genesis 21 in the NNT3

Genesis 21 in the PDDPT

Genesis 21 in the PFNT

Genesis 21 in the RMNT

Genesis 21 in the SBIAS

Genesis 21 in the SBIBS

Genesis 21 in the SBIBS2

Genesis 21 in the SBICS

Genesis 21 in the SBIDS

Genesis 21 in the SBIGS

Genesis 21 in the SBIHS

Genesis 21 in the SBIIS

Genesis 21 in the SBIIS2

Genesis 21 in the SBIIS3

Genesis 21 in the SBIKS

Genesis 21 in the SBIKS2

Genesis 21 in the SBIMS

Genesis 21 in the SBIOS

Genesis 21 in the SBIPS

Genesis 21 in the SBISS

Genesis 21 in the SBITS

Genesis 21 in the SBITS2

Genesis 21 in the SBITS3

Genesis 21 in the SBITS4

Genesis 21 in the SBIUS

Genesis 21 in the SBIVS

Genesis 21 in the SBT

Genesis 21 in the SBT1E

Genesis 21 in the SCHL

Genesis 21 in the SNT

Genesis 21 in the SUSU

Genesis 21 in the SUSU2

Genesis 21 in the SYNO

Genesis 21 in the TBIAOTANT

Genesis 21 in the TBT1E

Genesis 21 in the TBT1E2

Genesis 21 in the TFTIP

Genesis 21 in the TFTU

Genesis 21 in the TGNTATF3T

Genesis 21 in the THAI

Genesis 21 in the TNFD

Genesis 21 in the TNT

Genesis 21 in the TNTIK

Genesis 21 in the TNTIL

Genesis 21 in the TNTIN

Genesis 21 in the TNTIP

Genesis 21 in the TNTIZ

Genesis 21 in the TOMA

Genesis 21 in the TTENT

Genesis 21 in the UBG

Genesis 21 in the UGV

Genesis 21 in the UGV2

Genesis 21 in the UGV3

Genesis 21 in the VBL

Genesis 21 in the VDCC

Genesis 21 in the YALU

Genesis 21 in the YAPE

Genesis 21 in the YBVTP

Genesis 21 in the ZBP