Genesis 33 (BOLCB)
1 Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali n’abasajja ebikumi bina. Yakobo n’alyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu n’abaweereza be abakazi ababiri. 2 Abaweereza n’abaana baabwe ne bakulembera, Leeya n’abaana be ne baddako, Laakeeri ne Yusufu ne basembayo. 3 Ye Yakobo ng’abakulembedde, nga bw’avuunama ku ttaka emirundi musanvu, okutuusa lwe yatuuka okumpi ne muganda we. 4 Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba. 5 Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.” 6 Awo abaweereza be abakazi n’abaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri y’emu. 7 Leeya n’abaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama. 8 Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.” 9 Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 10 Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 11 Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza. 12 Awo Esawu n’agamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.” 13 Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa. 14 Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.” 15 Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” 16 Bw’atyo Esawu n’addayo ku lunaku olwo mu Seyiri. 17 Naye Yakobo n’alaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n’azimbira n’ensolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi. 18 Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 19 Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20 N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.
In Other Versions
Genesis 33 in the ANGEFD
Genesis 33 in the ANTPNG2D
Genesis 33 in the AS21
Genesis 33 in the BAGH
Genesis 33 in the BBPNG
Genesis 33 in the BBT1E
Genesis 33 in the BDS
Genesis 33 in the BEV
Genesis 33 in the BHAD
Genesis 33 in the BIB
Genesis 33 in the BLPT
Genesis 33 in the BNT
Genesis 33 in the BNTABOOT
Genesis 33 in the BNTLV
Genesis 33 in the BOATCB
Genesis 33 in the BOATCB2
Genesis 33 in the BOBCV
Genesis 33 in the BOCNT
Genesis 33 in the BOECS
Genesis 33 in the BOGWICC
Genesis 33 in the BOHCB
Genesis 33 in the BOHCV
Genesis 33 in the BOHLNT
Genesis 33 in the BOHNTLTAL
Genesis 33 in the BOICB
Genesis 33 in the BOILNTAP
Genesis 33 in the BOITCV
Genesis 33 in the BOKCV
Genesis 33 in the BOKCV2
Genesis 33 in the BOKHWOG
Genesis 33 in the BOKSSV
Genesis 33 in the BOLCB2
Genesis 33 in the BOMCV
Genesis 33 in the BONAV
Genesis 33 in the BONCB
Genesis 33 in the BONLT
Genesis 33 in the BONUT2
Genesis 33 in the BOPLNT
Genesis 33 in the BOSCB
Genesis 33 in the BOSNC
Genesis 33 in the BOTLNT
Genesis 33 in the BOVCB
Genesis 33 in the BOYCB
Genesis 33 in the BPBB
Genesis 33 in the BPH
Genesis 33 in the BSB
Genesis 33 in the CCB
Genesis 33 in the CUV
Genesis 33 in the CUVS
Genesis 33 in the DBT
Genesis 33 in the DGDNT
Genesis 33 in the DHNT
Genesis 33 in the DNT
Genesis 33 in the ELBE
Genesis 33 in the EMTV
Genesis 33 in the ESV
Genesis 33 in the FBV
Genesis 33 in the FEB
Genesis 33 in the GGMNT
Genesis 33 in the GNT
Genesis 33 in the HARY
Genesis 33 in the HNT
Genesis 33 in the IRVA
Genesis 33 in the IRVB
Genesis 33 in the IRVG
Genesis 33 in the IRVH
Genesis 33 in the IRVK
Genesis 33 in the IRVM
Genesis 33 in the IRVM2
Genesis 33 in the IRVO
Genesis 33 in the IRVP
Genesis 33 in the IRVT
Genesis 33 in the IRVT2
Genesis 33 in the IRVU
Genesis 33 in the ISVN
Genesis 33 in the JSNT
Genesis 33 in the KAPI
Genesis 33 in the KBT1ETNIK
Genesis 33 in the KBV
Genesis 33 in the KJV
Genesis 33 in the KNFD
Genesis 33 in the LBA
Genesis 33 in the LBLA
Genesis 33 in the LNT
Genesis 33 in the LSV
Genesis 33 in the MAAL
Genesis 33 in the MBV
Genesis 33 in the MBV2
Genesis 33 in the MHNT
Genesis 33 in the MKNFD
Genesis 33 in the MNG
Genesis 33 in the MNT
Genesis 33 in the MNT2
Genesis 33 in the MRS1T
Genesis 33 in the NAA
Genesis 33 in the NASB
Genesis 33 in the NBLA
Genesis 33 in the NBS
Genesis 33 in the NBVTP
Genesis 33 in the NET2
Genesis 33 in the NIV11
Genesis 33 in the NNT
Genesis 33 in the NNT2
Genesis 33 in the NNT3
Genesis 33 in the PDDPT
Genesis 33 in the PFNT
Genesis 33 in the RMNT
Genesis 33 in the SBIAS
Genesis 33 in the SBIBS
Genesis 33 in the SBIBS2
Genesis 33 in the SBICS
Genesis 33 in the SBIDS
Genesis 33 in the SBIGS
Genesis 33 in the SBIHS
Genesis 33 in the SBIIS
Genesis 33 in the SBIIS2
Genesis 33 in the SBIIS3
Genesis 33 in the SBIKS
Genesis 33 in the SBIKS2
Genesis 33 in the SBIMS
Genesis 33 in the SBIOS
Genesis 33 in the SBIPS
Genesis 33 in the SBISS
Genesis 33 in the SBITS
Genesis 33 in the SBITS2
Genesis 33 in the SBITS3
Genesis 33 in the SBITS4
Genesis 33 in the SBIUS
Genesis 33 in the SBIVS
Genesis 33 in the SBT
Genesis 33 in the SBT1E
Genesis 33 in the SCHL
Genesis 33 in the SNT
Genesis 33 in the SUSU
Genesis 33 in the SUSU2
Genesis 33 in the SYNO
Genesis 33 in the TBIAOTANT
Genesis 33 in the TBT1E
Genesis 33 in the TBT1E2
Genesis 33 in the TFTIP
Genesis 33 in the TFTU
Genesis 33 in the TGNTATF3T
Genesis 33 in the THAI
Genesis 33 in the TNFD
Genesis 33 in the TNT
Genesis 33 in the TNTIK
Genesis 33 in the TNTIL
Genesis 33 in the TNTIN
Genesis 33 in the TNTIP
Genesis 33 in the TNTIZ
Genesis 33 in the TOMA
Genesis 33 in the TTENT
Genesis 33 in the UBG
Genesis 33 in the UGV
Genesis 33 in the UGV2
Genesis 33 in the UGV3
Genesis 33 in the VBL
Genesis 33 in the VDCC
Genesis 33 in the YALU
Genesis 33 in the YAPE
Genesis 33 in the YBVTP
Genesis 33 in the ZBP