Genesis 36 (BOLCB)

1 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu. 2 Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, 3 ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi. 4 Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; 5 ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani. 6 Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. 7 Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. 8 Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri. 9 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri. 10 Batabani be baali:Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi. 11 Batabani ba Erifaazi baaliTemani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi. 12 Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu. 13 Bano be batabani ba Leweri:Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi. 14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baaliYewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu. 15 Bano be bakulu b’enda ya Esawu:Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada. 17 Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu. 18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:Yewusi, ne Yalamu ne Koola. 19 Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe. 20 Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be baLotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu. 22 Batabani ba Lotani baaliKooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna. 23 Batabani ba Sobali be baAluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu. 24 Aba Zibyoni, be baAya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni. 25 Abaana ba Ana be baDisoni ne Okolibama omuwala. 26 Bo batabani ba Disoni be baKemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani. 27 Aba Ezeri be baBirani, ne Zaavani ne Akani. 28 Ate aba Disani be baUzi ne Alani. 29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri. 31 Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano: 32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba. 33 Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye. 34 Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye. 35 Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi. 36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye. 37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye. 38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye. 39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida. 40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:Timuna, ne Aluva, ne Yesesi, 41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, 42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza, 43 ne Magidiyeri, ne Iramu.Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

In Other Versions

Genesis 36 in the ANGEFD

Genesis 36 in the ANTPNG2D

Genesis 36 in the AS21

Genesis 36 in the BAGH

Genesis 36 in the BBPNG

Genesis 36 in the BBT1E

Genesis 36 in the BDS

Genesis 36 in the BEV

Genesis 36 in the BHAD

Genesis 36 in the BIB

Genesis 36 in the BLPT

Genesis 36 in the BNT

Genesis 36 in the BNTABOOT

Genesis 36 in the BNTLV

Genesis 36 in the BOATCB

Genesis 36 in the BOATCB2

Genesis 36 in the BOBCV

Genesis 36 in the BOCNT

Genesis 36 in the BOECS

Genesis 36 in the BOGWICC

Genesis 36 in the BOHCB

Genesis 36 in the BOHCV

Genesis 36 in the BOHLNT

Genesis 36 in the BOHNTLTAL

Genesis 36 in the BOICB

Genesis 36 in the BOILNTAP

Genesis 36 in the BOITCV

Genesis 36 in the BOKCV

Genesis 36 in the BOKCV2

Genesis 36 in the BOKHWOG

Genesis 36 in the BOKSSV

Genesis 36 in the BOLCB2

Genesis 36 in the BOMCV

Genesis 36 in the BONAV

Genesis 36 in the BONCB

Genesis 36 in the BONLT

Genesis 36 in the BONUT2

Genesis 36 in the BOPLNT

Genesis 36 in the BOSCB

Genesis 36 in the BOSNC

Genesis 36 in the BOTLNT

Genesis 36 in the BOVCB

Genesis 36 in the BOYCB

Genesis 36 in the BPBB

Genesis 36 in the BPH

Genesis 36 in the BSB

Genesis 36 in the CCB

Genesis 36 in the CUV

Genesis 36 in the CUVS

Genesis 36 in the DBT

Genesis 36 in the DGDNT

Genesis 36 in the DHNT

Genesis 36 in the DNT

Genesis 36 in the ELBE

Genesis 36 in the EMTV

Genesis 36 in the ESV

Genesis 36 in the FBV

Genesis 36 in the FEB

Genesis 36 in the GGMNT

Genesis 36 in the GNT

Genesis 36 in the HARY

Genesis 36 in the HNT

Genesis 36 in the IRVA

Genesis 36 in the IRVB

Genesis 36 in the IRVG

Genesis 36 in the IRVH

Genesis 36 in the IRVK

Genesis 36 in the IRVM

Genesis 36 in the IRVM2

Genesis 36 in the IRVO

Genesis 36 in the IRVP

Genesis 36 in the IRVT

Genesis 36 in the IRVT2

Genesis 36 in the IRVU

Genesis 36 in the ISVN

Genesis 36 in the JSNT

Genesis 36 in the KAPI

Genesis 36 in the KBT1ETNIK

Genesis 36 in the KBV

Genesis 36 in the KJV

Genesis 36 in the KNFD

Genesis 36 in the LBA

Genesis 36 in the LBLA

Genesis 36 in the LNT

Genesis 36 in the LSV

Genesis 36 in the MAAL

Genesis 36 in the MBV

Genesis 36 in the MBV2

Genesis 36 in the MHNT

Genesis 36 in the MKNFD

Genesis 36 in the MNG

Genesis 36 in the MNT

Genesis 36 in the MNT2

Genesis 36 in the MRS1T

Genesis 36 in the NAA

Genesis 36 in the NASB

Genesis 36 in the NBLA

Genesis 36 in the NBS

Genesis 36 in the NBVTP

Genesis 36 in the NET2

Genesis 36 in the NIV11

Genesis 36 in the NNT

Genesis 36 in the NNT2

Genesis 36 in the NNT3

Genesis 36 in the PDDPT

Genesis 36 in the PFNT

Genesis 36 in the RMNT

Genesis 36 in the SBIAS

Genesis 36 in the SBIBS

Genesis 36 in the SBIBS2

Genesis 36 in the SBICS

Genesis 36 in the SBIDS

Genesis 36 in the SBIGS

Genesis 36 in the SBIHS

Genesis 36 in the SBIIS

Genesis 36 in the SBIIS2

Genesis 36 in the SBIIS3

Genesis 36 in the SBIKS

Genesis 36 in the SBIKS2

Genesis 36 in the SBIMS

Genesis 36 in the SBIOS

Genesis 36 in the SBIPS

Genesis 36 in the SBISS

Genesis 36 in the SBITS

Genesis 36 in the SBITS2

Genesis 36 in the SBITS3

Genesis 36 in the SBITS4

Genesis 36 in the SBIUS

Genesis 36 in the SBIVS

Genesis 36 in the SBT

Genesis 36 in the SBT1E

Genesis 36 in the SCHL

Genesis 36 in the SNT

Genesis 36 in the SUSU

Genesis 36 in the SUSU2

Genesis 36 in the SYNO

Genesis 36 in the TBIAOTANT

Genesis 36 in the TBT1E

Genesis 36 in the TBT1E2

Genesis 36 in the TFTIP

Genesis 36 in the TFTU

Genesis 36 in the TGNTATF3T

Genesis 36 in the THAI

Genesis 36 in the TNFD

Genesis 36 in the TNT

Genesis 36 in the TNTIK

Genesis 36 in the TNTIL

Genesis 36 in the TNTIN

Genesis 36 in the TNTIP

Genesis 36 in the TNTIZ

Genesis 36 in the TOMA

Genesis 36 in the TTENT

Genesis 36 in the UBG

Genesis 36 in the UGV

Genesis 36 in the UGV2

Genesis 36 in the UGV3

Genesis 36 in the VBL

Genesis 36 in the VDCC

Genesis 36 in the YALU

Genesis 36 in the YAPE

Genesis 36 in the YBVTP

Genesis 36 in the ZBP