Genesis 40 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. 2 Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, 3 n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. 4 Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera. 5 Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. 6 Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. 7 N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?” 8 Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.” 9 Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10 Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11 Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.” 12 Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13 mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we. 14 Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera. 15 Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.” 16 Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu. 17 Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.” 18 Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 19 bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.” 20 Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi. 21 Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo, 22 kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe. 23 Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.

In Other Versions

Genesis 40 in the ANGEFD

Genesis 40 in the ANTPNG2D

Genesis 40 in the AS21

Genesis 40 in the BAGH

Genesis 40 in the BBPNG

Genesis 40 in the BBT1E

Genesis 40 in the BDS

Genesis 40 in the BEV

Genesis 40 in the BHAD

Genesis 40 in the BIB

Genesis 40 in the BLPT

Genesis 40 in the BNT

Genesis 40 in the BNTABOOT

Genesis 40 in the BNTLV

Genesis 40 in the BOATCB

Genesis 40 in the BOATCB2

Genesis 40 in the BOBCV

Genesis 40 in the BOCNT

Genesis 40 in the BOECS

Genesis 40 in the BOGWICC

Genesis 40 in the BOHCB

Genesis 40 in the BOHCV

Genesis 40 in the BOHLNT

Genesis 40 in the BOHNTLTAL

Genesis 40 in the BOICB

Genesis 40 in the BOILNTAP

Genesis 40 in the BOITCV

Genesis 40 in the BOKCV

Genesis 40 in the BOKCV2

Genesis 40 in the BOKHWOG

Genesis 40 in the BOKSSV

Genesis 40 in the BOLCB2

Genesis 40 in the BOMCV

Genesis 40 in the BONAV

Genesis 40 in the BONCB

Genesis 40 in the BONLT

Genesis 40 in the BONUT2

Genesis 40 in the BOPLNT

Genesis 40 in the BOSCB

Genesis 40 in the BOSNC

Genesis 40 in the BOTLNT

Genesis 40 in the BOVCB

Genesis 40 in the BOYCB

Genesis 40 in the BPBB

Genesis 40 in the BPH

Genesis 40 in the BSB

Genesis 40 in the CCB

Genesis 40 in the CUV

Genesis 40 in the CUVS

Genesis 40 in the DBT

Genesis 40 in the DGDNT

Genesis 40 in the DHNT

Genesis 40 in the DNT

Genesis 40 in the ELBE

Genesis 40 in the EMTV

Genesis 40 in the ESV

Genesis 40 in the FBV

Genesis 40 in the FEB

Genesis 40 in the GGMNT

Genesis 40 in the GNT

Genesis 40 in the HARY

Genesis 40 in the HNT

Genesis 40 in the IRVA

Genesis 40 in the IRVB

Genesis 40 in the IRVG

Genesis 40 in the IRVH

Genesis 40 in the IRVK

Genesis 40 in the IRVM

Genesis 40 in the IRVM2

Genesis 40 in the IRVO

Genesis 40 in the IRVP

Genesis 40 in the IRVT

Genesis 40 in the IRVT2

Genesis 40 in the IRVU

Genesis 40 in the ISVN

Genesis 40 in the JSNT

Genesis 40 in the KAPI

Genesis 40 in the KBT1ETNIK

Genesis 40 in the KBV

Genesis 40 in the KJV

Genesis 40 in the KNFD

Genesis 40 in the LBA

Genesis 40 in the LBLA

Genesis 40 in the LNT

Genesis 40 in the LSV

Genesis 40 in the MAAL

Genesis 40 in the MBV

Genesis 40 in the MBV2

Genesis 40 in the MHNT

Genesis 40 in the MKNFD

Genesis 40 in the MNG

Genesis 40 in the MNT

Genesis 40 in the MNT2

Genesis 40 in the MRS1T

Genesis 40 in the NAA

Genesis 40 in the NASB

Genesis 40 in the NBLA

Genesis 40 in the NBS

Genesis 40 in the NBVTP

Genesis 40 in the NET2

Genesis 40 in the NIV11

Genesis 40 in the NNT

Genesis 40 in the NNT2

Genesis 40 in the NNT3

Genesis 40 in the PDDPT

Genesis 40 in the PFNT

Genesis 40 in the RMNT

Genesis 40 in the SBIAS

Genesis 40 in the SBIBS

Genesis 40 in the SBIBS2

Genesis 40 in the SBICS

Genesis 40 in the SBIDS

Genesis 40 in the SBIGS

Genesis 40 in the SBIHS

Genesis 40 in the SBIIS

Genesis 40 in the SBIIS2

Genesis 40 in the SBIIS3

Genesis 40 in the SBIKS

Genesis 40 in the SBIKS2

Genesis 40 in the SBIMS

Genesis 40 in the SBIOS

Genesis 40 in the SBIPS

Genesis 40 in the SBISS

Genesis 40 in the SBITS

Genesis 40 in the SBITS2

Genesis 40 in the SBITS3

Genesis 40 in the SBITS4

Genesis 40 in the SBIUS

Genesis 40 in the SBIVS

Genesis 40 in the SBT

Genesis 40 in the SBT1E

Genesis 40 in the SCHL

Genesis 40 in the SNT

Genesis 40 in the SUSU

Genesis 40 in the SUSU2

Genesis 40 in the SYNO

Genesis 40 in the TBIAOTANT

Genesis 40 in the TBT1E

Genesis 40 in the TBT1E2

Genesis 40 in the TFTIP

Genesis 40 in the TFTU

Genesis 40 in the TGNTATF3T

Genesis 40 in the THAI

Genesis 40 in the TNFD

Genesis 40 in the TNT

Genesis 40 in the TNTIK

Genesis 40 in the TNTIL

Genesis 40 in the TNTIN

Genesis 40 in the TNTIP

Genesis 40 in the TNTIZ

Genesis 40 in the TOMA

Genesis 40 in the TTENT

Genesis 40 in the UBG

Genesis 40 in the UGV

Genesis 40 in the UGV2

Genesis 40 in the UGV3

Genesis 40 in the VBL

Genesis 40 in the VDCC

Genesis 40 in the YALU

Genesis 40 in the YAPE

Genesis 40 in the YBVTP

Genesis 40 in the ZBP