Genesis 45 (BOLCB)
1 Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. 2 Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira. 3 Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge. 4 Awo Yusufu n’agamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gy’ali. N’abagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri. 5 Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu. 6 Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula. 7 Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo. 8 “Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri. 9 Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa; 10 ojja kubeera mu Goseni, olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina; 11 eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’ 12 “Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe. 13 Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.” 14 Awo Yusufu n’agwa Benyamini mu kifuba n’akaaba ne Benyamini n’akaabira ku kibegabega kye. 15 N’agwa baganda be mu kifuba, n’akaabira buli omu ku bo; n’oluvannyuma baganda be ne boogera naye. 16 Ebigambo eby’okujja kwa baganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be. 17 Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani, 18 munone kitammwe n’abantu bammwe n’ebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi y’e Misiri, nammwe mulirya obulungi obw’ensi.’ 19 “Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi y’e Misiri olw’abaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe. 20 Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.” 21 Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo; Yusufu n’abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira n’abawa n’entanda ey’omu kkubo. 22 Buli omu ku bo n’amuwa ebyambalo eby’okukyusa, naye ye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n’ebyambalo eby’okuwanyisa emigogo etaano. 23 Kitaawe n’amuweereza endogoyi kkumi ezeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri n’endogoyi enkazi kkumi ezeetisse emmere, emigaati n’entanda ya kitaawe bw’aliba ajja. 24 Awo n’asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n’abagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.” 25 Bwe batyo ne bambuka okuva mu Misiri ne batuuka mu nsi ya Kanani eri kitaabwe Yakobo. 26 Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era y’afuga ensi y’e Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo n’awunga n’atasobola kubakkiriza. 27 Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala n’addamu omwoyo; 28 n’agamba nti, “Mmatidde, omwana wange Yusufu akyali mulamu. Nzija kugenda mulabe nga sinnafa.”
In Other Versions
Genesis 45 in the ANGEFD
Genesis 45 in the ANTPNG2D
Genesis 45 in the AS21
Genesis 45 in the BAGH
Genesis 45 in the BBPNG
Genesis 45 in the BBT1E
Genesis 45 in the BDS
Genesis 45 in the BEV
Genesis 45 in the BHAD
Genesis 45 in the BIB
Genesis 45 in the BLPT
Genesis 45 in the BNT
Genesis 45 in the BNTABOOT
Genesis 45 in the BNTLV
Genesis 45 in the BOATCB
Genesis 45 in the BOATCB2
Genesis 45 in the BOBCV
Genesis 45 in the BOCNT
Genesis 45 in the BOECS
Genesis 45 in the BOGWICC
Genesis 45 in the BOHCB
Genesis 45 in the BOHCV
Genesis 45 in the BOHLNT
Genesis 45 in the BOHNTLTAL
Genesis 45 in the BOICB
Genesis 45 in the BOILNTAP
Genesis 45 in the BOITCV
Genesis 45 in the BOKCV
Genesis 45 in the BOKCV2
Genesis 45 in the BOKHWOG
Genesis 45 in the BOKSSV
Genesis 45 in the BOLCB2
Genesis 45 in the BOMCV
Genesis 45 in the BONAV
Genesis 45 in the BONCB
Genesis 45 in the BONLT
Genesis 45 in the BONUT2
Genesis 45 in the BOPLNT
Genesis 45 in the BOSCB
Genesis 45 in the BOSNC
Genesis 45 in the BOTLNT
Genesis 45 in the BOVCB
Genesis 45 in the BOYCB
Genesis 45 in the BPBB
Genesis 45 in the BPH
Genesis 45 in the BSB
Genesis 45 in the CCB
Genesis 45 in the CUV
Genesis 45 in the CUVS
Genesis 45 in the DBT
Genesis 45 in the DGDNT
Genesis 45 in the DHNT
Genesis 45 in the DNT
Genesis 45 in the ELBE
Genesis 45 in the EMTV
Genesis 45 in the ESV
Genesis 45 in the FBV
Genesis 45 in the FEB
Genesis 45 in the GGMNT
Genesis 45 in the GNT
Genesis 45 in the HARY
Genesis 45 in the HNT
Genesis 45 in the IRVA
Genesis 45 in the IRVB
Genesis 45 in the IRVG
Genesis 45 in the IRVH
Genesis 45 in the IRVK
Genesis 45 in the IRVM
Genesis 45 in the IRVM2
Genesis 45 in the IRVO
Genesis 45 in the IRVP
Genesis 45 in the IRVT
Genesis 45 in the IRVT2
Genesis 45 in the IRVU
Genesis 45 in the ISVN
Genesis 45 in the JSNT
Genesis 45 in the KAPI
Genesis 45 in the KBT1ETNIK
Genesis 45 in the KBV
Genesis 45 in the KJV
Genesis 45 in the KNFD
Genesis 45 in the LBA
Genesis 45 in the LBLA
Genesis 45 in the LNT
Genesis 45 in the LSV
Genesis 45 in the MAAL
Genesis 45 in the MBV
Genesis 45 in the MBV2
Genesis 45 in the MHNT
Genesis 45 in the MKNFD
Genesis 45 in the MNG
Genesis 45 in the MNT
Genesis 45 in the MNT2
Genesis 45 in the MRS1T
Genesis 45 in the NAA
Genesis 45 in the NASB
Genesis 45 in the NBLA
Genesis 45 in the NBS
Genesis 45 in the NBVTP
Genesis 45 in the NET2
Genesis 45 in the NIV11
Genesis 45 in the NNT
Genesis 45 in the NNT2
Genesis 45 in the NNT3
Genesis 45 in the PDDPT
Genesis 45 in the PFNT
Genesis 45 in the RMNT
Genesis 45 in the SBIAS
Genesis 45 in the SBIBS
Genesis 45 in the SBIBS2
Genesis 45 in the SBICS
Genesis 45 in the SBIDS
Genesis 45 in the SBIGS
Genesis 45 in the SBIHS
Genesis 45 in the SBIIS
Genesis 45 in the SBIIS2
Genesis 45 in the SBIIS3
Genesis 45 in the SBIKS
Genesis 45 in the SBIKS2
Genesis 45 in the SBIMS
Genesis 45 in the SBIOS
Genesis 45 in the SBIPS
Genesis 45 in the SBISS
Genesis 45 in the SBITS
Genesis 45 in the SBITS2
Genesis 45 in the SBITS3
Genesis 45 in the SBITS4
Genesis 45 in the SBIUS
Genesis 45 in the SBIVS
Genesis 45 in the SBT
Genesis 45 in the SBT1E
Genesis 45 in the SCHL
Genesis 45 in the SNT
Genesis 45 in the SUSU
Genesis 45 in the SUSU2
Genesis 45 in the SYNO
Genesis 45 in the TBIAOTANT
Genesis 45 in the TBT1E
Genesis 45 in the TBT1E2
Genesis 45 in the TFTIP
Genesis 45 in the TFTU
Genesis 45 in the TGNTATF3T
Genesis 45 in the THAI
Genesis 45 in the TNFD
Genesis 45 in the TNT
Genesis 45 in the TNTIK
Genesis 45 in the TNTIL
Genesis 45 in the TNTIN
Genesis 45 in the TNTIP
Genesis 45 in the TNTIZ
Genesis 45 in the TOMA
Genesis 45 in the TTENT
Genesis 45 in the UBG
Genesis 45 in the UGV
Genesis 45 in the UGV2
Genesis 45 in the UGV3
Genesis 45 in the VBL
Genesis 45 in the VDCC
Genesis 45 in the YALU
Genesis 45 in the YAPE
Genesis 45 in the YBVTP
Genesis 45 in the ZBP