Genesis 49 (BOLCB)
1 Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja. 2 Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,muwulirize Isirayiri kitammwe. 3 Lewubeeni ggwe mubereberye wange,amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu. 4 Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,mu nnyumba yange, n’okyonoona. 5 Simyoni ne Leevi baaluganda,ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi. 6 Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa. 7 Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.Ndibaawula mu Yakobo,ndibasaasaanya mu Isirayiri. 8 Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga. 9 Yuda, mwana w’empologoma.Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.Yakutama, yabwama ng’empologoma.Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga? 10 Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,okutuusa Siiro lw’alijja;era oyo amawanga gonnagwe ganaawuliranga. 11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu. 12 Amaaso ge galimyuka wayini,n’amannyo ge galitukula okusinga amata. 13 Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;anaabanga mwalo gw’amaato,ensalo ze ziriba ku Sidoni. 14 Isakaali ndogoyi ya maanyi,ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga; 15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;nga n’ensi esanyusa;n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze. 16 Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu beng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri. 17 Ddaani anaaba musota mu kkubo,essalambwa ku kkubo,eriruma ebisinziiro by’embalaasi,omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo. 18 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi MUKAMA. 19 Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,naye ye, alibafubutukira emabega. 20 Aseri emmere ye eneebanga ngimu,era anaagemuliranga kabaka ebyokulya. 21 Nafutaali mpeewo ya ddembe,avaamu ebigambo ebirungi. 22 Yusufu lye ttabi eribala ennyo,ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;abaana be babuna bbugwe. 23 Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,baamulasa ne bamulumya nnyo; 24 naye omutego gwe ne gunywera,n’emikono gye ne gitasagaasagana.Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri, 25 olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,omukisa oguva waggulu mu ggulu,omukisa ogwa wansi mu buziba,omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere. 26 Omukisa gwa kitaawogusinga omukisa gwa bajjajjange,gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be. 27 Benyamini musege ogunyaga,mu makya alya omuyiggo,mu kawungeezi n’agaba omunyago. 28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira. 29 Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.” 33 Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.