Haggai 2 (BOLCB)
1 Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 2 “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, 3 ‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? 4 Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera MUKAMA; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera MUKAMA, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 5 ‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’ 6 “Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. 7 Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 8 ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera MUKAMA ow’eggye. 9 ‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye.” 10 Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya MUKAMA ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 11 “Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba. 12 Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.” 13 Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.” 14 Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera MUKAMA. 15 “ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya MUKAMA. 16 Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. 17 Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera MUKAMA. 18 Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya MUKAMA. Mwebuuze nti, 19 Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala.“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ” 20 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 21 “Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 22 Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe. 23 “ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye.”
In Other Versions
Haggai 2 in the ANGEFD
Haggai 2 in the ANTPNG2D
Haggai 2 in the AS21
Haggai 2 in the BAGH
Haggai 2 in the BBPNG
Haggai 2 in the BBT1E
Haggai 2 in the BDS
Haggai 2 in the BEV
Haggai 2 in the BHAD
Haggai 2 in the BIB
Haggai 2 in the BLPT
Haggai 2 in the BNT
Haggai 2 in the BNTABOOT
Haggai 2 in the BNTLV
Haggai 2 in the BOATCB
Haggai 2 in the BOATCB2
Haggai 2 in the BOBCV
Haggai 2 in the BOCNT
Haggai 2 in the BOECS
Haggai 2 in the BOGWICC
Haggai 2 in the BOHCB
Haggai 2 in the BOHCV
Haggai 2 in the BOHLNT
Haggai 2 in the BOHNTLTAL
Haggai 2 in the BOICB
Haggai 2 in the BOILNTAP
Haggai 2 in the BOITCV
Haggai 2 in the BOKCV
Haggai 2 in the BOKCV2
Haggai 2 in the BOKHWOG
Haggai 2 in the BOKSSV
Haggai 2 in the BOLCB2
Haggai 2 in the BOMCV
Haggai 2 in the BONAV
Haggai 2 in the BONCB
Haggai 2 in the BONLT
Haggai 2 in the BONUT2
Haggai 2 in the BOPLNT
Haggai 2 in the BOSCB
Haggai 2 in the BOSNC
Haggai 2 in the BOTLNT
Haggai 2 in the BOVCB
Haggai 2 in the BOYCB
Haggai 2 in the BPBB
Haggai 2 in the BPH
Haggai 2 in the BSB
Haggai 2 in the CCB
Haggai 2 in the CUV
Haggai 2 in the CUVS
Haggai 2 in the DBT
Haggai 2 in the DGDNT
Haggai 2 in the DHNT
Haggai 2 in the DNT
Haggai 2 in the ELBE
Haggai 2 in the EMTV
Haggai 2 in the ESV
Haggai 2 in the FBV
Haggai 2 in the FEB
Haggai 2 in the GGMNT
Haggai 2 in the GNT
Haggai 2 in the HARY
Haggai 2 in the HNT
Haggai 2 in the IRVA
Haggai 2 in the IRVB
Haggai 2 in the IRVG
Haggai 2 in the IRVH
Haggai 2 in the IRVK
Haggai 2 in the IRVM
Haggai 2 in the IRVM2
Haggai 2 in the IRVO
Haggai 2 in the IRVP
Haggai 2 in the IRVT
Haggai 2 in the IRVT2
Haggai 2 in the IRVU
Haggai 2 in the ISVN
Haggai 2 in the JSNT
Haggai 2 in the KAPI
Haggai 2 in the KBT1ETNIK
Haggai 2 in the KBV
Haggai 2 in the KJV
Haggai 2 in the KNFD
Haggai 2 in the LBA
Haggai 2 in the LBLA
Haggai 2 in the LNT
Haggai 2 in the LSV
Haggai 2 in the MAAL
Haggai 2 in the MBV
Haggai 2 in the MBV2
Haggai 2 in the MHNT
Haggai 2 in the MKNFD
Haggai 2 in the MNG
Haggai 2 in the MNT
Haggai 2 in the MNT2
Haggai 2 in the MRS1T
Haggai 2 in the NAA
Haggai 2 in the NASB
Haggai 2 in the NBLA
Haggai 2 in the NBS
Haggai 2 in the NBVTP
Haggai 2 in the NET2
Haggai 2 in the NIV11
Haggai 2 in the NNT
Haggai 2 in the NNT2
Haggai 2 in the NNT3
Haggai 2 in the PDDPT
Haggai 2 in the PFNT
Haggai 2 in the RMNT
Haggai 2 in the SBIAS
Haggai 2 in the SBIBS
Haggai 2 in the SBIBS2
Haggai 2 in the SBICS
Haggai 2 in the SBIDS
Haggai 2 in the SBIGS
Haggai 2 in the SBIHS
Haggai 2 in the SBIIS
Haggai 2 in the SBIIS2
Haggai 2 in the SBIIS3
Haggai 2 in the SBIKS
Haggai 2 in the SBIKS2
Haggai 2 in the SBIMS
Haggai 2 in the SBIOS
Haggai 2 in the SBIPS
Haggai 2 in the SBISS
Haggai 2 in the SBITS
Haggai 2 in the SBITS2
Haggai 2 in the SBITS3
Haggai 2 in the SBITS4
Haggai 2 in the SBIUS
Haggai 2 in the SBIVS
Haggai 2 in the SBT
Haggai 2 in the SBT1E
Haggai 2 in the SCHL
Haggai 2 in the SNT
Haggai 2 in the SUSU
Haggai 2 in the SUSU2
Haggai 2 in the SYNO
Haggai 2 in the TBIAOTANT
Haggai 2 in the TBT1E
Haggai 2 in the TBT1E2
Haggai 2 in the TFTIP
Haggai 2 in the TFTU
Haggai 2 in the TGNTATF3T
Haggai 2 in the THAI
Haggai 2 in the TNFD
Haggai 2 in the TNT
Haggai 2 in the TNTIK
Haggai 2 in the TNTIL
Haggai 2 in the TNTIN
Haggai 2 in the TNTIP
Haggai 2 in the TNTIZ
Haggai 2 in the TOMA
Haggai 2 in the TTENT
Haggai 2 in the UBG
Haggai 2 in the UGV
Haggai 2 in the UGV2
Haggai 2 in the UGV3
Haggai 2 in the VBL
Haggai 2 in the VDCC
Haggai 2 in the YALU
Haggai 2 in the YAPE
Haggai 2 in the YBVTP
Haggai 2 in the ZBP