Isaiah 41 (BOLCB)
1 “Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,amawanga gaddemu amaanyi.Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu. 2 “Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,obusaale bwe ne bubafuula ebisasiroebitwalibwa empewo? 3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makuboebigere bye gye by’ali bitayitanga. 4 Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantuokuva ku lubereberye?Nze MUKAMA ow’olubereberyeera ow’enkomerero, nze wuuyo.” 5 Ebizinga by’alaba ne bitya;n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka. 6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;“Guma omwoyo!” 7 Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,n’oyo ayooyoota n’akayondon’agumya oyo akuba ku luyijjang’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana. 8 “Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,Yakobo gwe nalonda,ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange, 9 ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensine nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’nze nakulonda so sikusuulanga: 10 Totya kubanga nze ndi wamu naawe;tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.Nnaakuwanga amaanyi.Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” 11 “Laba, abo bonna abakukambuwaliddebalikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasane baggwaawo. 12 Olibanoonya abo abaakukijjanyanganaye n’otobalaba.Abo abaakulwanyisangabaliggwaamu ensa. 13 Kubanga nze MUKAMA Katonda woakukwata ku mukono ogwa ddyo,nze nkugamba nti,Totya nze nzija kukuyamba. 14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyitotya, ggwe Isirayiri,kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera MUKAMA Omununuzi wo,Omutukuvu wa Isirayiri. 15 “Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,ekyogi eky’amannyo amangi.Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,obusozi ne mubufuula ebisusunku. 16 Oliziwewa empewo n’ezifuumula,embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.Era naawe olisanyukira mu MUKAMA,era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.” 17 “Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzine baganoonya naye ne gababula,ate nga ennimi zaabwe zikaze,nze MUKAMA ndibawulira,nze Katonda wa Isirayiri siribaleka. 18 Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,era n’ensulo wakati mu biwonvu.Olukoola ndirufuula ennyanja,n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi. 19 Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,omumwanyi n’omuzeyituuni,ate nsimbe mu ddunguenfugo n’omuyovu awamu ne namukago. 20 Abantu balyoke balabe bamanye,balowoozeera batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa MUKAMA gwe gukoze kino,nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.” 21 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda gye muli mmwe nti,“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo. 22 “Baleete bakatonda bwabwebatubuulire ebigenda okubaawo.Batubuulire n’ebyaliwo emabega,tusobole okubimanya,n’okubirowoozaakon’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja. 23 Mutubuulire ebigenda okubaawotulyoke tumanye nga muli bakatonda.Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibitulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima. 24 Laba, temuliiko bwe muline bye mukola tebigasa.Abo ababasinza bennyamiza. 25 Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,abeera mu buvanjuba.Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,abe ng’omubumbi asamba ebbumba. 26 Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’Tewali n’omu yakyogerako,tewali n’omu yakimanyaera tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli. 27 Nasooka okubuulira Sayuuniera ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi. 28 Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,tewali n’omu addamu bwe mbuuza. 29 Laba, bonna temuli nsa!Bye bakola byonna tebigasa.Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”