James 3 (BOLCB)

1 Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. 2 Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna. 3 Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. 4 Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. 5 N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. 6 Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira. 7 Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, 8 naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo. 9 Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10 Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11 Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 12 Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera. 13 Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna. 17 Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

In Other Versions

James 3 in the ANGEFD

James 3 in the ANTPNG2D

James 3 in the AS21

James 3 in the BAGH

James 3 in the BBPNG

James 3 in the BBT1E

James 3 in the BDS

James 3 in the BEV

James 3 in the BHAD

James 3 in the BIB

James 3 in the BLPT

James 3 in the BNT

James 3 in the BNTABOOT

James 3 in the BNTLV

James 3 in the BOATCB

James 3 in the BOATCB2

James 3 in the BOBCV

James 3 in the BOCNT

James 3 in the BOECS

James 3 in the BOGWICC

James 3 in the BOHCB

James 3 in the BOHCV

James 3 in the BOHLNT

James 3 in the BOHNTLTAL

James 3 in the BOICB

James 3 in the BOILNTAP

James 3 in the BOITCV

James 3 in the BOKCV

James 3 in the BOKCV2

James 3 in the BOKHWOG

James 3 in the BOKSSV

James 3 in the BOLCB2

James 3 in the BOMCV

James 3 in the BONAV

James 3 in the BONCB

James 3 in the BONLT

James 3 in the BONUT2

James 3 in the BOPLNT

James 3 in the BOSCB

James 3 in the BOSNC

James 3 in the BOTLNT

James 3 in the BOVCB

James 3 in the BOYCB

James 3 in the BPBB

James 3 in the BPH

James 3 in the BSB

James 3 in the CCB

James 3 in the CUV

James 3 in the CUVS

James 3 in the DBT

James 3 in the DGDNT

James 3 in the DHNT

James 3 in the DNT

James 3 in the ELBE

James 3 in the EMTV

James 3 in the ESV

James 3 in the FBV

James 3 in the FEB

James 3 in the GGMNT

James 3 in the GNT

James 3 in the HARY

James 3 in the HNT

James 3 in the IRVA

James 3 in the IRVB

James 3 in the IRVG

James 3 in the IRVH

James 3 in the IRVK

James 3 in the IRVM

James 3 in the IRVM2

James 3 in the IRVO

James 3 in the IRVP

James 3 in the IRVT

James 3 in the IRVT2

James 3 in the IRVU

James 3 in the ISVN

James 3 in the JSNT

James 3 in the KAPI

James 3 in the KBT1ETNIK

James 3 in the KBV

James 3 in the KJV

James 3 in the KNFD

James 3 in the LBA

James 3 in the LBLA

James 3 in the LNT

James 3 in the LSV

James 3 in the MAAL

James 3 in the MBV

James 3 in the MBV2

James 3 in the MHNT

James 3 in the MKNFD

James 3 in the MNG

James 3 in the MNT

James 3 in the MNT2

James 3 in the MRS1T

James 3 in the NAA

James 3 in the NASB

James 3 in the NBLA

James 3 in the NBS

James 3 in the NBVTP

James 3 in the NET2

James 3 in the NIV11

James 3 in the NNT

James 3 in the NNT2

James 3 in the NNT3

James 3 in the PDDPT

James 3 in the PFNT

James 3 in the RMNT

James 3 in the SBIAS

James 3 in the SBIBS

James 3 in the SBIBS2

James 3 in the SBICS

James 3 in the SBIDS

James 3 in the SBIGS

James 3 in the SBIHS

James 3 in the SBIIS

James 3 in the SBIIS2

James 3 in the SBIIS3

James 3 in the SBIKS

James 3 in the SBIKS2

James 3 in the SBIMS

James 3 in the SBIOS

James 3 in the SBIPS

James 3 in the SBISS

James 3 in the SBITS

James 3 in the SBITS2

James 3 in the SBITS3

James 3 in the SBITS4

James 3 in the SBIUS

James 3 in the SBIVS

James 3 in the SBT

James 3 in the SBT1E

James 3 in the SCHL

James 3 in the SNT

James 3 in the SUSU

James 3 in the SUSU2

James 3 in the SYNO

James 3 in the TBIAOTANT

James 3 in the TBT1E

James 3 in the TBT1E2

James 3 in the TFTIP

James 3 in the TFTU

James 3 in the TGNTATF3T

James 3 in the THAI

James 3 in the TNFD

James 3 in the TNT

James 3 in the TNTIK

James 3 in the TNTIL

James 3 in the TNTIN

James 3 in the TNTIP

James 3 in the TNTIZ

James 3 in the TOMA

James 3 in the TTENT

James 3 in the UBG

James 3 in the UGV

James 3 in the UGV2

James 3 in the UGV3

James 3 in the VBL

James 3 in the VDCC

James 3 in the YALU

James 3 in the YAPE

James 3 in the YBVTP

James 3 in the ZBP