James 5 (BOLCB)
1 Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. 2 Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 3 Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. 4 Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. 5 Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. 6 Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako. 7 Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. 8 Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. 9 Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi. 10 Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11 Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira. 12 Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga. 13 Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza. 14 Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. 15 Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. 16 Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo. 17 Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18 Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera. 19 Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo, 20 omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.
In Other Versions
James 5 in the ANGEFD
James 5 in the ANTPNG2D
James 5 in the AS21
James 5 in the BAGH
James 5 in the BBPNG
James 5 in the BBT1E
James 5 in the BDS
James 5 in the BEV
James 5 in the BHAD
James 5 in the BIB
James 5 in the BLPT
James 5 in the BNT
James 5 in the BNTABOOT
James 5 in the BNTLV
James 5 in the BOATCB
James 5 in the BOATCB2
James 5 in the BOBCV
James 5 in the BOCNT
James 5 in the BOECS
James 5 in the BOGWICC
James 5 in the BOHCB
James 5 in the BOHCV
James 5 in the BOHLNT
James 5 in the BOHNTLTAL
James 5 in the BOICB
James 5 in the BOILNTAP
James 5 in the BOITCV
James 5 in the BOKCV
James 5 in the BOKCV2
James 5 in the BOKHWOG
James 5 in the BOKSSV
James 5 in the BOLCB2
James 5 in the BOMCV
James 5 in the BONAV
James 5 in the BONCB
James 5 in the BONLT
James 5 in the BONUT2
James 5 in the BOPLNT
James 5 in the BOSCB
James 5 in the BOSNC
James 5 in the BOTLNT
James 5 in the BOVCB
James 5 in the BOYCB
James 5 in the BPBB
James 5 in the BPH
James 5 in the BSB
James 5 in the CCB
James 5 in the CUV
James 5 in the CUVS
James 5 in the DBT
James 5 in the DGDNT
James 5 in the DHNT
James 5 in the DNT
James 5 in the ELBE
James 5 in the EMTV
James 5 in the ESV
James 5 in the FBV
James 5 in the FEB
James 5 in the GGMNT
James 5 in the GNT
James 5 in the HARY
James 5 in the HNT
James 5 in the IRVA
James 5 in the IRVB
James 5 in the IRVG
James 5 in the IRVH
James 5 in the IRVK
James 5 in the IRVM
James 5 in the IRVM2
James 5 in the IRVO
James 5 in the IRVP
James 5 in the IRVT
James 5 in the IRVT2
James 5 in the IRVU
James 5 in the ISVN
James 5 in the JSNT
James 5 in the KAPI
James 5 in the KBT1ETNIK
James 5 in the KBV
James 5 in the KJV
James 5 in the KNFD
James 5 in the LBA
James 5 in the LBLA
James 5 in the LNT
James 5 in the LSV
James 5 in the MAAL
James 5 in the MBV
James 5 in the MBV2
James 5 in the MHNT
James 5 in the MKNFD
James 5 in the MNG
James 5 in the MNT
James 5 in the MNT2
James 5 in the MRS1T
James 5 in the NAA
James 5 in the NASB
James 5 in the NBLA
James 5 in the NBS
James 5 in the NBVTP
James 5 in the NET2
James 5 in the NIV11
James 5 in the NNT
James 5 in the NNT2
James 5 in the NNT3
James 5 in the PDDPT
James 5 in the PFNT
James 5 in the RMNT
James 5 in the SBIAS
James 5 in the SBIBS
James 5 in the SBIBS2
James 5 in the SBICS
James 5 in the SBIDS
James 5 in the SBIGS
James 5 in the SBIHS
James 5 in the SBIIS
James 5 in the SBIIS2
James 5 in the SBIIS3
James 5 in the SBIKS
James 5 in the SBIKS2
James 5 in the SBIMS
James 5 in the SBIOS
James 5 in the SBIPS
James 5 in the SBISS
James 5 in the SBITS
James 5 in the SBITS2
James 5 in the SBITS3
James 5 in the SBITS4
James 5 in the SBIUS
James 5 in the SBIVS
James 5 in the SBT
James 5 in the SBT1E
James 5 in the SCHL
James 5 in the SNT
James 5 in the SUSU
James 5 in the SUSU2
James 5 in the SYNO
James 5 in the TBIAOTANT
James 5 in the TBT1E
James 5 in the TBT1E2
James 5 in the TFTIP
James 5 in the TFTU
James 5 in the TGNTATF3T
James 5 in the THAI
James 5 in the TNFD
James 5 in the TNT
James 5 in the TNTIK
James 5 in the TNTIL
James 5 in the TNTIN
James 5 in the TNTIP
James 5 in the TNTIZ
James 5 in the TOMA
James 5 in the TTENT
James 5 in the UBG
James 5 in the UGV
James 5 in the UGV2
James 5 in the UGV3
James 5 in the VBL
James 5 in the VDCC
James 5 in the YALU
James 5 in the YAPE
James 5 in the YBVTP
James 5 in the ZBP