Jeremiah 1 (BOLCB)

1 Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. 2 MUKAMA Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, 3 ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. 4 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti, 5 “Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.” 6 Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, MUKAMA Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” 7 Naye MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. 8 Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 9 Awo MUKAMA Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.” 12 Awo MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.” 13 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.” 14 Awo MUKAMA Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera MUKAMA Katonda.Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabakamu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,balizinda bbugwe waakyo yennaera bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda. 16 Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,era ne basinza ebibajje bye beekoleran’emikono gyabwe. 17 “Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18 Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19 Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera MUKAMA Katonda.

In Other Versions

Jeremiah 1 in the ANGEFD

Jeremiah 1 in the ANTPNG2D

Jeremiah 1 in the AS21

Jeremiah 1 in the BAGH

Jeremiah 1 in the BBPNG

Jeremiah 1 in the BBT1E

Jeremiah 1 in the BDS

Jeremiah 1 in the BEV

Jeremiah 1 in the BHAD

Jeremiah 1 in the BIB

Jeremiah 1 in the BLPT

Jeremiah 1 in the BNT

Jeremiah 1 in the BNTABOOT

Jeremiah 1 in the BNTLV

Jeremiah 1 in the BOATCB

Jeremiah 1 in the BOATCB2

Jeremiah 1 in the BOBCV

Jeremiah 1 in the BOCNT

Jeremiah 1 in the BOECS

Jeremiah 1 in the BOGWICC

Jeremiah 1 in the BOHCB

Jeremiah 1 in the BOHCV

Jeremiah 1 in the BOHLNT

Jeremiah 1 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 1 in the BOICB

Jeremiah 1 in the BOILNTAP

Jeremiah 1 in the BOITCV

Jeremiah 1 in the BOKCV

Jeremiah 1 in the BOKCV2

Jeremiah 1 in the BOKHWOG

Jeremiah 1 in the BOKSSV

Jeremiah 1 in the BOLCB2

Jeremiah 1 in the BOMCV

Jeremiah 1 in the BONAV

Jeremiah 1 in the BONCB

Jeremiah 1 in the BONLT

Jeremiah 1 in the BONUT2

Jeremiah 1 in the BOPLNT

Jeremiah 1 in the BOSCB

Jeremiah 1 in the BOSNC

Jeremiah 1 in the BOTLNT

Jeremiah 1 in the BOVCB

Jeremiah 1 in the BOYCB

Jeremiah 1 in the BPBB

Jeremiah 1 in the BPH

Jeremiah 1 in the BSB

Jeremiah 1 in the CCB

Jeremiah 1 in the CUV

Jeremiah 1 in the CUVS

Jeremiah 1 in the DBT

Jeremiah 1 in the DGDNT

Jeremiah 1 in the DHNT

Jeremiah 1 in the DNT

Jeremiah 1 in the ELBE

Jeremiah 1 in the EMTV

Jeremiah 1 in the ESV

Jeremiah 1 in the FBV

Jeremiah 1 in the FEB

Jeremiah 1 in the GGMNT

Jeremiah 1 in the GNT

Jeremiah 1 in the HARY

Jeremiah 1 in the HNT

Jeremiah 1 in the IRVA

Jeremiah 1 in the IRVB

Jeremiah 1 in the IRVG

Jeremiah 1 in the IRVH

Jeremiah 1 in the IRVK

Jeremiah 1 in the IRVM

Jeremiah 1 in the IRVM2

Jeremiah 1 in the IRVO

Jeremiah 1 in the IRVP

Jeremiah 1 in the IRVT

Jeremiah 1 in the IRVT2

Jeremiah 1 in the IRVU

Jeremiah 1 in the ISVN

Jeremiah 1 in the JSNT

Jeremiah 1 in the KAPI

Jeremiah 1 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 1 in the KBV

Jeremiah 1 in the KJV

Jeremiah 1 in the KNFD

Jeremiah 1 in the LBA

Jeremiah 1 in the LBLA

Jeremiah 1 in the LNT

Jeremiah 1 in the LSV

Jeremiah 1 in the MAAL

Jeremiah 1 in the MBV

Jeremiah 1 in the MBV2

Jeremiah 1 in the MHNT

Jeremiah 1 in the MKNFD

Jeremiah 1 in the MNG

Jeremiah 1 in the MNT

Jeremiah 1 in the MNT2

Jeremiah 1 in the MRS1T

Jeremiah 1 in the NAA

Jeremiah 1 in the NASB

Jeremiah 1 in the NBLA

Jeremiah 1 in the NBS

Jeremiah 1 in the NBVTP

Jeremiah 1 in the NET2

Jeremiah 1 in the NIV11

Jeremiah 1 in the NNT

Jeremiah 1 in the NNT2

Jeremiah 1 in the NNT3

Jeremiah 1 in the PDDPT

Jeremiah 1 in the PFNT

Jeremiah 1 in the RMNT

Jeremiah 1 in the SBIAS

Jeremiah 1 in the SBIBS

Jeremiah 1 in the SBIBS2

Jeremiah 1 in the SBICS

Jeremiah 1 in the SBIDS

Jeremiah 1 in the SBIGS

Jeremiah 1 in the SBIHS

Jeremiah 1 in the SBIIS

Jeremiah 1 in the SBIIS2

Jeremiah 1 in the SBIIS3

Jeremiah 1 in the SBIKS

Jeremiah 1 in the SBIKS2

Jeremiah 1 in the SBIMS

Jeremiah 1 in the SBIOS

Jeremiah 1 in the SBIPS

Jeremiah 1 in the SBISS

Jeremiah 1 in the SBITS

Jeremiah 1 in the SBITS2

Jeremiah 1 in the SBITS3

Jeremiah 1 in the SBITS4

Jeremiah 1 in the SBIUS

Jeremiah 1 in the SBIVS

Jeremiah 1 in the SBT

Jeremiah 1 in the SBT1E

Jeremiah 1 in the SCHL

Jeremiah 1 in the SNT

Jeremiah 1 in the SUSU

Jeremiah 1 in the SUSU2

Jeremiah 1 in the SYNO

Jeremiah 1 in the TBIAOTANT

Jeremiah 1 in the TBT1E

Jeremiah 1 in the TBT1E2

Jeremiah 1 in the TFTIP

Jeremiah 1 in the TFTU

Jeremiah 1 in the TGNTATF3T

Jeremiah 1 in the THAI

Jeremiah 1 in the TNFD

Jeremiah 1 in the TNT

Jeremiah 1 in the TNTIK

Jeremiah 1 in the TNTIL

Jeremiah 1 in the TNTIN

Jeremiah 1 in the TNTIP

Jeremiah 1 in the TNTIZ

Jeremiah 1 in the TOMA

Jeremiah 1 in the TTENT

Jeremiah 1 in the UBG

Jeremiah 1 in the UGV

Jeremiah 1 in the UGV2

Jeremiah 1 in the UGV3

Jeremiah 1 in the VBL

Jeremiah 1 in the VDCC

Jeremiah 1 in the YALU

Jeremiah 1 in the YAPE

Jeremiah 1 in the YBVTP

Jeremiah 1 in the ZBP